Skip to content
The Believer's Library

Biblica® Open Luganda Contemporary Bible 2014

Proverbs 3 OLCB

Show OLCB only
Verse × ×
1 My son, do not forget my teaching, but let your heart keep my commandments, Mwana wange, teweerabiranga bintu bye nakuyigiriza, era okuumanga ebiragiro byange mu mutima gwo,
2 for they will add length of days and years of life and peace to you. kubanga bijja kuwangaaza obulamu bwo ku nsi, era bikukulaakulanye.
3 Do not let covenant love and faithfulness leave you; bind them around your neck, write them on the tablet of your heart. Amazima n’ekisa tobyerabiranga; byesibe mu bulago bwo, obiwandiike ku mutima gwo.
4 So you will find favor and a good reputation with our Father and with people. Bw’otyo bw’onoofuna okuganja n’okusiimibwa eri Katonda n’eri abantu.
5 Trust in our Father with all your heart, and do not lean on your own understanding. Weesige Mukama n’omutima gwo gwonna, so teweesigamanga ku magezi go gokka.
6 In all your ways know him, and he will make your paths straight. Mukama mukulembezenga mu by’okola byonna, naye anaakuluŋŋamyanga n’owangula.
7 Do not be wise in your own eyes; fear our Father, and turn away from evil. Amagezi go tegakusigulanga, naye otyanga Mukama, era weewale okukola ebibi.
8 This will bring healing to your body and refreshment to your bones. Onoofunanga obulamu mu mubiri gwo n’amagumba go ne gadda buggya.
9 Honor our Father with your wealth and with the firstfruits of all your produce, Mukama mugulumizenga n’eby’obugagga byo; n’ebibala ebisooka eby’ebintu byo byonna eby’omu nnimiro yo,
10 then your barns will be filled with plenty, and your vats will overflow with new wine. olwo amaterekero go lwe ganajjulanga ebintu enkumu, era n’amasenero go ne gajjula ne gabooga omwenge omusu.
11 My son, do not despise the discipline of our Father or be weary of his correction, Mwana wange tonyoomanga kukangavvula kwa Mukama, n’okunenya kwe kulemenga okukukooya,
12 for our Father disciplines the one his heart loves, just as a father disciplines the son he delights in. kubanga Mukama anenya oyo gw’ayagala, nga kitaawe w’omwana bw’anenya mutabani we gwe yeenyumiririzaamu.
13 Blessed is the one who finds wisdom, and the one who gains understanding, Aweereddwa omukisa oyo afuna amagezi, omuntu oyo afuna okutegeera,
14 for the gain from her is better than gain from silver, and her profit better than gold. kubanga amagezi gasinga ffeeza era galimu amagoba okusinga zaabu.
15 She is more precious than jewels, and nothing you desire can compare with her. Amagezi ga muwendo mungi okusinga amayinja ag’omuwendo omungi: era tewali kyegombebwa kiyinza kugeraageranyizibwa nago.
16 Long life is in her right hand; in her left hand are riches and honor. Mu mukono gwago ogwa ddyo mwe muli obuwanguzi; ne mu mukono gwago ogwa kkono ne mubaamu obugagga n’ekitiibwa.
17 Her ways are pleasant, and all her paths are peace. Mu magezi mulimu essanyu, era n’amakubo gaago ga mirembe.
18 She is a tree of life to those who take hold of her; those who hold her fast are called blessed. Amagezi muti gwa bulamu eri abo abagakwata ne baganyweza; abo abagakwata ne baganyweza baliweebwa omukisa.
19 Our Father by wisdom founded the earth; by understanding he established the heavens; Amagezi, Mukama ge yakozesa okuteekawo emisingi gy’ensi; n’okutegeera kwe yakozesa okuteekawo eggulu;
20 by his knowledge the depths burst open, and the clouds drop down the dew. n’okumanya kwe, kwe yakozesa okwawula obuziba bw’ennyanja, era n’ebire ne bivaamu omusulo.
21 My son, do not lose sight of these; keep sound wisdom and discretion, Mwana wange, beeranga n’okuteesa okulungi n’okusalawo ebisaana, ebyo biremenga okukuvaako,
22 and they will be life for your soul and an adornment for your neck. binaabeeranga obulamu eri emmeeme yo, era ekyokwambala ekirungi ekinaawoomesanga obulago bwo.
23 Then you will walk on your way securely, and your foot will not stumble. Bw’otyo bw’onootambulanga nga onyweredde mu kkubo lyo, era ekigere kyo tekijjanga kwesittala.
24 If you lie down, you will not be afraid; when you lie down, your sleep will be sweet. Bw’onoogalamiranga toobenga na kutya, weewaawo bw’oneebakanga otulo tunaakuwoomeranga.
25 Do not be afraid of sudden terror, or of the ruin of the wicked when it comes, Totyanga kabenje kootomanyiridde, wadde okuzikirira okujjira abakozi b’ebibi,
26 for our Father will be your confidence and will keep your foot from being caught. Kubanga Mukama y’anaabeeranga obwesigwa bwo, era anaalabiriranga ekigere kyo ne kitakwatibwa mu mutego.
27 Do not withhold good from those who deserve it, when it is in your power to do it. Tommanga birungi abo be bisaanira bwe kibeera mu buyinza bwo okukikola.
28 Do not say to your neighbor, "Go, and come back, and tomorrow I will give it"—when you have it with you. Togambanga muliraanwa wo nti, “Genda, onodda enkya ne nkuwa,” ate nga kye yeetaaga okirina.
29 Do not plot evil against your neighbor, who lives trustingly beside you. Totegekanga kukola bulabe ku muliraanwa wo, atudde emirembe ng’akwesiga.
30 Do not quarrel with anyone for no reason, when he has done you no harm. Tovunaananga muntu n’omu awatali nsonga nga talina kabi k’akukoze.
31 Do not envy a violent man, and do not choose any of his ways, Tokwatirwanga obuggya omuntu ayigganya abalala, era tokolanga nga ye bw’akola,
32 for the devious person is detestable to our Father, but he takes the upright into his confidence. kubanga omuntu omugwagwa wa muzizo eri Mukama, naye abo abagolokofu abalinamu obwesige.
33 The curse of our Father is on the house of the wicked, but he blesses the home of the righteous. Ekikolimo kya Mukama kiri ku nnyumba y’ababi, naye awa omukisa ennyumba y’abatuukirivu.
34 Toward the mockers he is scornful, but to the humble he gives grace. Ddala ddala, Mukama anyooma abanyoomi, naye abeetoowaza abawa ekisa.
35 The wise will inherit honor, but fools get only disgrace. Ab’amagezi balisikira ekitiibwa, naye abasirusiru baliswazibwa.
FHB

Scripture from Father’s Heart Bible™. © 2026 Spirit Media Publishing, the imprint of Spirit Media Inc. All rights reserved. In Divine Voice™ Color, the words spoken by our Father show in blue, the words of the Son in red, and the words of the Spirit in purple.

OLCB

Biblica® Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya ekwatiddwa ku katambi™ Obwannannyini© 1984, 1986, 1993, 2014 bwa Biblica, Inc. Biblica® Open Luganda Contemporary Bible™ Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc. “Biblica” Linnya ery’obwannannyini eryawandiisibwa Biblica mu Amerika era nga balina n’ekkakkalabozo, Inc. Bwaweebwa olukusa okulikozesa. “Biblica” is a trademark registered in the United States Patent and Trademark Office by Biblica, Inc. Used with permission.
Biblica® Open Luganda Contemporary Bible 2014 · Creative Commons - Attribution-ShareAlike [CC BY-SA]