Skip to content
The Believer's Library

Biblica® Open Luganda Contemporary Bible 2014

Proverbs 2 OLCB

Show OLCB only
Verse × ×
1 My son, if you receive my words and store up my commandments within you, Mwana wange, bw’onookwatanga ebigambo byange, n’otereka ebiragiro byange mu bulamu bwo,
2 making your ear attentive to wisdom and turning your heart toward understanding; era n’ossaayo omwoyo eri amagezi, era n’ossa omutima gwo eri okutegeera,
3 yes, if you call out for insight and raise your voice for understanding, ddala ddala singa oyaayaanira okumanya era n’oyimusa eddoboozi lyo osabe okutegeera,
4 if you seek it like silver and search for it as for hidden treasure, bw’onooganoonyanga nga ffeeza, era n’oganoonyanga ng’ekyobugagga ekyakwekebwa,
5 then you will understand the fear of our Father and find the knowledge of our Father. awo w’olitegeerera okutya Mukama, era n’ovumbula okumanya Katonda.
6 For our Father gives wisdom; from his mouth come knowledge and understanding. Kubanga Mukama awa amagezi; era mu kamwa ke muvaamu okumanya n’okutegeera.
7 He stores up sound wisdom for the upright; he is a shield to those who walk in integrity, Mukama aterekera abatuukirivu amagezi amalungi, era aba ngabo y’abo abatambulira mu bugolokofu.
8 guarding the paths of justice and watching over the way of his faithful ones. Abatambuliza mu makubo ag’obwenkanya, era bw’atyo Mukama akuuma ekkubo ly’abatukuvu be.
9 Then you will understand righteousness and justice and fairness—every good path. Olwo lw’olitegeera obutuukirivu, amazima n’obwenkanya; weewaawo buli kkubo eddungi.
10 For wisdom will enter your heart, and knowledge will be pleasant to your soul; Kubanga amagezi galiyingira mu mutima gwo, n’okumanya kulisanyusa omwoyo gwo.
11 discretion will watch over you, and understanding will guard you, Okwesalirawo obulungi kunaakulabiriranga n’okutegeera kunaakukuumanga:
12 rescuing you from the way of evil, from men who speak twisted things, Amagezi ganaakuwonyanga ekkubo ly’omubi, n’abantu aboogera eby’obugwagwa,
13 who abandon the paths of uprightness to walk in the ways of darkness, abaleka amakubo ag’obutuukirivu ne batambulira mu makubo ag’ekizikiza,
14 who delight in doing evil and rejoice in the perversity of evil, abasanyukira okukola ebikolwa ebibi, abanyumirwa eby’obusirusiru,
15 whose paths are crooked, and who are devious in their ways. abantu abo be b’amakubo amakyamu, era abakujjukujju mu ngeri zaabwe.
16 Wisdom will rescue you also from the forbidden woman, from the stranger with her smooth words, Amagezi Mukama g’awa ge gokka agajja okukuwonya ekkubo ly’omukazi omwenzi, n’okukuwonya ebigambo bye ebisendasenda,
17 who forsakes the companion of her youth and forgets the covenant of her Father. eyaleka bba ow’omu buvubuka bwe era eyeerabira endagaano gye yakola mu maaso ga Katonda we.
18 For her house sinks down to death, and her paths to the dead. Kubanga ennyumba ye ekka mu kufa, n’amakubo ge galaga eri abafu.
19 None who go to her return, nor do they reach the paths of life. Tewali n’omu agenda ewuwe adda wadde okufunirayo amakubo g’obulamu.
20 So you will walk in the way of the good and keep to the paths of the righteous. Kale tambuliranga mu kkubo ly’abo abatya Katonda era onywerere mu makubo g’abatuukirivu.
21 For the upright will live in the land, and those of integrity will remain in it; Kubanga abatuukirivu balituula mu nsi, era abo abagolokofu baligisigalamu.
22 but the wicked will be cut off from the land, and the treacherous will be torn away from it. Naye abakozi b’ebibi balifiirwa ebirungi eby’ensi, n’abatali beesigwa balizikirizibwa.
FHB

Scripture from Father’s Heart Bible™. © 2026 Spirit Media Publishing, the imprint of Spirit Media Inc. All rights reserved. In Divine Voice™ Color, the words spoken by our Father show in blue, the words of the Son in red, and the words of the Spirit in purple.

OLCB

Biblica® Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya ekwatiddwa ku katambi™ Obwannannyini© 1984, 1986, 1993, 2014 bwa Biblica, Inc. Biblica® Open Luganda Contemporary Bible™ Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc. “Biblica” Linnya ery’obwannannyini eryawandiisibwa Biblica mu Amerika era nga balina n’ekkakkalabozo, Inc. Bwaweebwa olukusa okulikozesa. “Biblica” is a trademark registered in the United States Patent and Trademark Office by Biblica, Inc. Used with permission.
Biblica® Open Luganda Contemporary Bible 2014 · Creative Commons - Attribution-ShareAlike [CC BY-SA]