Skip to content
The Believer's Library

Biblica® Open Luganda Contemporary Bible 2014

Proverbs 2 OLCB

Side by side with the Father's Heart Bible™

Empeera y’Okunoonya Amagezi

1Mwana wange, bw’onookwatanga ebigambo byange,n’otereka ebiragiro byange mu bulamu bwo,

2era n’ossaayo omwoyo eri amagezi,era n’ossa omutima gwo eri okutegeera,

3ddala ddala singa oyaayaanira okumanyaera n’oyimusa eddoboozi lyo osabe okutegeera,

4bw’onooganoonyanga nga ffeeza,era n’oganoonyanga ng’ekyobugagga ekyakwekebwa,

5awo w’olitegeerera okutya Mukama,era n’ovumbula okumanya Katonda.

6Kubanga Mukama awa amagezi;era mu kamwa ke muvaamu okumanya n’okutegeera.

7Mukama aterekera abatuukirivu amagezi amalungi,era aba ngabo y’abo abatambulira mu bugolokofu.

8Abatambuliza mu makubo ag’obwenkanya,era bw’atyo Mukama akuuma ekkubo ly’abatukuvu be.

9Olwo lw’olitegeera obutuukirivu, amazima n’obwenkanya;weewaawo buli kkubo eddungi.

10Kubanga amagezi galiyingira mu mutima gwo,n’okumanya kulisanyusa omwoyo gwo.

11Okwesalirawo obulungi kunaakulabirirangan’okutegeera kunaakukuumanga:

12Amagezi ganaakuwonyanga ekkubo ly’omubi,n’abantu aboogera eby’obugwagwa,

13abaleka amakubo ag’obutuukirivune batambulira mu makubo ag’ekizikiza,

14abasanyukira okukola ebikolwa ebibi,abanyumirwa eby’obusirusiru,

15abantu abo be b’amakubo amakyamu,era abakujjukujju mu ngeri zaabwe.

16Amagezi Mukama g’awa ge gokka agajja okukuwonya ekkubo ly’omukazi omwenzi,n’okukuwonya ebigambo bye ebisendasenda,

17eyaleka bba ow’omu buvubuka bweera eyeerabira endagaano gye yakola mu maaso ga Katonda we.

18Kubanga ennyumba ye ekka mu kufa,n’amakubo ge galaga eri abafu.

19Tewali n’omu agenda ewuwe addawadde okufunirayo amakubo g’obulamu.

20Kale tambuliranga mu kkubo ly’abo abatya Katondaera onywerere mu makubo g’abatuukirivu.

21Kubanga abatuukirivu balituula mu nsi,era abo abagolokofu baligisigalamu.

22Naye abakozi b’ebibi balifiirwa ebirungi eby’ensi,n’abatali beesigwa balizikirizibwa.

Biblica® Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya ekwatiddwa ku katambi™ Obwannannyini© 1984, 1986, 1993, 2014 bwa Biblica, Inc. Biblica® Open Luganda Contemporary Bible™ Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc. “Biblica” Linnya ery’obwannannyini eryawandiisibwa Biblica mu Amerika era nga balina n’ekkakkalabozo, Inc. Bwaweebwa olukusa okulikozesa. “Biblica” is a trademark registered in the United States Patent and Trademark Office by Biblica, Inc. Used with permission.
Biblica® Open Luganda Contemporary Bible 2014 · Creative Commons - Attribution-ShareAlike [CC BY-SA]