Skip to content
The Believer's Library

Biblica® Open Luganda Contemporary Bible 2014

Proverbs 1 OLCB

Show OLCB only
Verse × ×
1 The proverbs of Solomon, son of David, king of Israel: Engero za Sulemaani, mutabani wa Dawudi, kabaka wa Isirayiri.
2 To know wisdom and instruction, to understand words of insight, Yaziwandiika okuyigiriza abantu okuba n’amagezi n’okuyiga, era n’okutegeera ebigambo eby’obulabufu; eby’obulamu eby’amagezi n’empisa.
3 to receive instruction in wise conduct, in righteousness, justice, and fairness, Sulemaani yayagala abantu okuba n’empisa, n’obulamu obw’amagezi, okukolanga ebituufu, n’okubeera abenkanya n’okugobereranga ensonga;
4 to give prudence to the simple, knowledge and discretion to the young, okuyigiriza amagezi abatalina bumanyirivu, n’abavubuka okufuna okumanya n’okutegeera.
5 let the wise also hear and increase in learning, and let the one who understands gain guidance, N’abantu ab’amagezi nabo bwe bawulira beeyongere okuyiga n’abategeevu beeyongere okubangulwa.
6 to understand a proverb and a parable, the words of the wise and their riddles. Era engero zino zaawandiikibwa okutegeera engero, enjogera n’ebikokyo.
7 The fear of our Father is the beginning of knowledge; fools despise wisdom and instruction. Kale mu kutya Mukama amagezi mwe gasookera, naye abasirusiru banyooma amagezi n’okulagirirwa.
8 Listen, my son, to your father's instruction, and don't turn away from your mother's teaching, Mwana wange ossangayo omwoyo eri ebiragiro bya kitaawo, era tolekanga kukuutira kwa maama wo;
9 for they are a graceful garland for your head and pendants for your neck. bijja kuba ngule eneeweesanga omutwe gwo ekitiibwa, n’emikuufu mu bulago bwo.
10 My son, if sinners entice you, do not give in. Mwana wange abakozi b’ebibi bwe bakusendasendanga, tokkirizanga.
11 If they say, "Come with us, let us lie in wait for blood, let us ambush the innocent without cause; Bwe bakugambanga nti, “Tugende ffenna twesanyuse, tunyage, tubbe n’okutta; tokkirizanga;
12 like the grave let us swallow them alive, and whole, like those who go down to the pit; ng’entaana bw’emira abantu, naffe tubamire tutyo nga bakyali balamu, era nga balamba, ng’abagenda mu bunnya obuwanvu;
13 we will find all kinds of precious goods, we will fill our houses with plunder; nga twefunira eby’obugagga bye tutakoleredde, ne tujjuza amayumba gaffe obugagga obubbe;
14 throw in your lot with us; we will all share one purse," ng’ababi batuyita tubeegatteko, tugabane kyenkanyi ebibbe n’ebinyage.”
15 my son, do not walk in the way with them; hold back your foot from their paths, Mwana wange totambuliranga wamu nabo, era ekigere kyo kiziyize okukwatanga ekkubo lyabwe:
16 for their feet run to evil, and they hurry to shed blood. Kubanga ebigere byabwe bidduka bunnambiro okukola ebibi, era kibanguyira okuyiwa omusaayi.
17 For a net spread out before any bird's eyes catches nothing; Nga kuba kumala biseera okutega omutego, ng’ekinyonyi ky’oyagala okukwata kikulaba,
18 but these lie in wait for their own blood; they ambush their own lives. naye abantu ng’abo baba beetega bokka, baba beetega omutego ogunaabakwasa bo bennyini.
19 Such are the ways of everyone greedy for unjust gain; it takes away the life of its possessors. Bwe lityo bwe libeera ekkubo lya buli muntu anoonya okugaggawalira mu bukyamu. Obugagga obw’engeri eyo busaanyaawo obulamu bw’abo ababufuna.
20 Wisdom cries aloud in the street; in the open squares she lifts her voice. Amagezi galeekaanira waggulu mu nguudo; gayimusa amaloboozi gaago, mu bifo ebigazi eby’omu bibuga.
21 At the head of the noisy streets she calls out; at the entrance of the city gates she speaks: Ne galeekaanira waggulu, mu kifo enguudo ennene we zisisinkanira, era gasinzira mu miryango gy’ekibuga ne googera:
22 "How long, simple ones, will you love being simple? How long will mockers delight in their mocking and fools hate knowledge? Mulituusa ddi mmwe ab’amagezi amatono obutayagala kweyongera kuyiga by’amagezi, nammwe ab’amalala okunyoomanga eby’amagezi n’abasirusiru okukyawanga okumanya?
23 If you respond to my correction, I, Wisdom, will pour out my spirit on you; I will make my words known to you. Kale singa muwuliriza okunenya kwange, laba, ndifuka omutima gwange n’ebirowoozo byange mu mmwe.
24 Because I have called and you refused, I stretched out my hand and no one paid attention, Kubanga na bayita ne mugaana okuwuliriza, ne ngolola omukono ne wataba n’omu afaayo,
25 and you ignored all my counsel and rejected all my correction, era ne mutafaayo ku magezi ge nabawa, era ne mugaana okubuulirira kwange kwonna,
26 I also will laugh at your calamity; I will mock when terror overtakes you, kale nange ndibasekerera nga muli mu nnaku, era mbakudaalire ng’entiisa ebagwiridde.
27 when terror overtakes you like a storm and your calamity comes like a whirlwind, when distress and anguish come upon you. Entiisa bw’eribajjira ng’omuyaga omungi, ennaku n’okubonaabona, okulumwa n’obubalagaze,
28 Then they will call on me, but I will not answer; they will seek me earnestly but will not find me, kale balinkoowoola, naye siriyitaba; balinnoonya obutaweera naye ne batandaba.
29 because they hated knowledge and did not choose the fear of our Father, Kubanga baakyawa okuyigirizibwa, n’okumanya, era ne bamalirira obutatya Mukama.
30 they rejected my counsel and despised all my correction. Ne bagaana okuwuliriza amagezi gange; ne banyooma okunenya kwange kwonna.
31 So they will eat the fruit of their own way and have their fill of their own schemes. Kyebaliva balya ebibala eby’ekkubo lyabwe ebbi, era ne bajjula ebibala eby’enkwe zaabwe.
32 For the waywardness of the simple will kill them, and the complacency of fools will destroy them; Obusirusiru bulitta ab’amagezi amatono n’obutafaayo bulizikiriza abasirusiru,
33 but whoever listens to me will dwell secure and be at ease, without dread of disaster." naye buli ampuliriza anaabeeranga mirembe, ng’agumye nga talina kutya kwonna.
FHB

Scripture from Father’s Heart Bible™. © 2026 Spirit Media Publishing, the imprint of Spirit Media Inc. All rights reserved. In Divine Voice™ Color, the words spoken by our Father show in blue, the words of the Son in red, and the words of the Spirit in purple.

OLCB

Biblica® Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya ekwatiddwa ku katambi™ Obwannannyini© 1984, 1986, 1993, 2014 bwa Biblica, Inc. Biblica® Open Luganda Contemporary Bible™ Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc. “Biblica” Linnya ery’obwannannyini eryawandiisibwa Biblica mu Amerika era nga balina n’ekkakkalabozo, Inc. Bwaweebwa olukusa okulikozesa. “Biblica” is a trademark registered in the United States Patent and Trademark Office by Biblica, Inc. Used with permission.
Biblica® Open Luganda Contemporary Bible 2014 · Creative Commons - Attribution-ShareAlike [CC BY-SA]