Skip to content
The Believer's Library

Biblica® Open Luganda Contemporary Bible 2014

Isaiah 18 OLCB

Show OLCB only
Verse × ×
1 Ah, land of whirring wings, beyond the rivers of Cush, Zikusanze, ggwe ensi ey’ebiwaawaatiro ebikwakwaya, eri emitala w’emigga gya Kuusi,
2 who sends ambassadors by the sea, in vessels of papyrus across the waters. Go, swift messengers, to a nation tall and smooth-skinned, to a people feared near and far, a nation mighty and trampling down, whose land the rivers divide. etuma ababaka ne bagendera mu maato ag’ebitoogo ku nnyanja. Mugende mmwe ababaka abangu, eri abantu abawanvu ab’emibiri emiweweevu, eri abantu abatiibwa abeewala n’ab’okumpi, eggwanga ery’amaanyi eryogera olulimi olutamanyiddwa, ensi eyawulwamu emigga.
3 All you inhabitants of the world, you who dwell on the earth: when a banner is raised on the mountains, look! When a trumpet sounds, listen! Mmwe mwenna abantu abali mu nsi, mmwe ababeera ku nsi, bendera lweriwanikibwa ku nsozi, muligiraba, era ekkondeere bwe lirifuuyibwa, muliriwulira.
4 For this is what our Father said to me: I will be still, and I will look on from my dwelling place, like clear heat in the sunlight, like a cloud of dew in the heat of harvest. Kubanga bw’atyo Mukama bw’aŋŋambye nti, “Ndyesirikira ntunule nga nsinziira ewange, ng’olubugumu olutemagana mu musana, ng’ekire ky’omusulo mu lubugumu olw’omu biro eby’amakungula.”
5 For before the harvest, when the blossom is over and the bud becomes a ripening grape, our Father will cut off the shoots with pruning knives, and the spreading branches he will take away and lop off. Kubanga okukungula kuliba tekunatuuka, okumulisa nga kuwedde, n’ekimuli nga kifuuka zabbibu eyengedde, aliwawaagula obutabi n’ebiwabyo, n’amatabi agalanda aligasalira.
6 They will all be left for the birds of prey of the mountains and for the beasts of the earth. The birds of prey will summer on them, and all the beasts of the earth will winter on them. Gonna galirekerwa ennyonyi ez’oku nsozi ezirya ebiramu n’ensolo ez’ensi. Era ennyonyi ezirya ebiramu zirye okwo mu biseera by’ekyeya, n’ensolo zonna ez’omu nsiko zirye okwo mu biseera by’obunnyogovu.
7 At that time gifts will be brought to the Father of heaven's armies, from a people tall and smooth-skinned, from a people feared near and far, a nation mighty and trampling down, whose land the rivers divide—to the place of the name of the Father of heaven's armies, Mount Zion. Mu kiseera ekyo Mukama Katonda ow’Eggye balimuleetera ebirabo, ensi ey’abantu abawanvu ab’emibiri emiweweevu, abantu abatiibwa abeewala n’abookumpi, ensi ey’eryanyi, eyawulwamu emigga, ku lusozi Sayuuni ekifo ky’erinnya lya Mukama Ayinzabyonna.
FHB

Scripture from Father’s Heart Bible™. © 2026 Spirit Media Publishing, the imprint of Spirit Media Inc. All rights reserved. In Divine Voice™ Color, the words spoken by our Father show in blue, the words of the Son in red, and the words of the Spirit in purple.

OLCB

Biblica® Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya ekwatiddwa ku katambi™ Obwannannyini© 1984, 1986, 1993, 2014 bwa Biblica, Inc. Biblica® Open Luganda Contemporary Bible™ Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc. “Biblica” Linnya ery’obwannannyini eryawandiisibwa Biblica mu Amerika era nga balina n’ekkakkalabozo, Inc. Bwaweebwa olukusa okulikozesa. “Biblica” is a trademark registered in the United States Patent and Trademark Office by Biblica, Inc. Used with permission.
Biblica® Open Luganda Contemporary Bible 2014 · Creative Commons - Attribution-ShareAlike [CC BY-SA]