Skip to content
The Believer's Library

Biblica® Open Luganda Contemporary Bible 2014

Isaiah 17 OLCB

Show OLCB only
Verse × ×
1 An oracle about Damascus. Look—Damascus will no longer be a city; it becomes a heap of ruins. “Laba Ddamasiko tekikyali kibuga, kifuuse matongo.
2 The cities of Aroer are abandoned; they will be left for the flocks, which will lie down with no one to frighten them. Ebibuga bya Aloweri babidduseemu: birirekerwa ensolo mwe zinaagalamiranga nga tewali azikanga.
3 The fortress will vanish from Ephraim, and the kingdom from Damascus; and the remnant of Aram will be like the glory of the children of Israel, declares the Father of heaven's armies. Ekigo eky’amaanyi kirisaanyizibwawo mu Efulayimu, n’obwakabaka mu Ddamasiko bulimalibwawo; naye abalisigalawo mu Busuuli, baliba n’ekitiibwa ng’eky’abaana ba Isirayiri,” bw’ayogera Mukama Katonda ow’Eggye.
4 In that day the glory of Jacob will be brought low, and the fat of his body will waste away. “Awo olulituuka ku lunaku luli, ekitiibwa kya Yakobo kirikendeera; era akoggere ddala.
5 It will be as when a harvester gathers the standing grain and harvests the heads of grain with his arm; it will be as when someone gleans the grain in the Valley of Rephaim. Ne kiba ng’omukunguzi bw’akuŋŋaanya eŋŋaano, n’omukono gwe ne gukungula empeke; weewaawo kiriba ng’omuntu bw’alonda ebinywa by’eŋŋaano mu Kiwonvu kya Lefayimu.
6 Yet a few will be left, as when an olive tree is beaten: two or three ripe olives at the very top, four or five on the fruitful branches, declares the Father of Israel. Naye mulisigalamu ebinywa ebirondererwa ng’omuzeyituuni bwe gubeera nga gukubiddwa, ne guleka ebibala bibiri oba bisatu waggulu ku busongezo, bina oba bitaano ku busongezo bw’omuti omugimu,” bw’ayogera Mukama, Katonda wa Isirayiri.
7 In that day people will look to their Maker, and their eyes will turn to the Holy One of Israel—our Father. Ku lunaku luli abantu balirowooza ku Mutonzi waabwe, n’amaaso gaabwe galikyukira Omutukuvu wa Isirayiri.
8 They will not look to the altars, the work of their hands, and they will not gaze at what their own fingers have made—the Asherah poles and the incense altars. So tebalirowooza ku byoto bya balubaale baabwe, emirimu gy’emikono gyabwe, be beekolera, oba empagi za katonda wa Baasera oba ebyoto kwe bootereza obubaane.
9 In that day their strong cities will be like the abandoned places of the woods and hilltops, which were deserted when the children of Israel came; and it will be a desolation. Mu biro ebyo ebibuga byabwe eby’amaanyi Abayisirayiri bye baabalesa, biriba ng’ebifo ebyameramu ebisaka ne kalandalugo. Byonna birisigala matongo.
10 For you have forgotten the Father of your salvation, and you have not remembered the Rock of your refuge. Therefore, though you plant pleasant gardens and set out cuttings from a foreign vine, Weerabidde Katonda Omulokozi wo, so tojjukidde Lwazi lwa maanyi go; kyova osimbamu ebisimbe eby’okukusanyusa n’osigamu omuzabbibu oguvudde ebweru.
11 and though on the day you plant them they begin to sprout, and by morning your planting is in blossom, yet the harvest will vanish in a day of grief and incurable pain. Wadde obisimba bulungi nnyo ne bimera ku lunaku lw’obisimbye, era ne bimerusa ensigo ku makya kwennyini kwe bisimbiddwa, tolibaako ky’okungula wabula obulumi obutawonyezeka n’ennaku ey’ekitalo.
12 Ah, the uproar of many peoples—they roar like the roaring of the seas! The rumbling of nations—they rumble like the rumbling of mighty waters! Woowe oluyoogaano olw’amawanga amangi, bawuluguma ng’okuwuluguma kw’ennyanja esiikuuse! Okuwuluguma kw’abantu, bawuluguma ng’amazzi agayiika n’amaanyi amangi!
13 The nations rumble like the rumbling of many waters, but our Father will rebuke them, and they will flee far away, driven before the wind like chaff on the hills, like whirling dust before the storm. Wadde amawanga galiwuuma n’okuwulikika ne gawulikika ng’amazzi agayiika n’amaanyi amangi, Mukama bw’aligagoba, galibulawo mbagirawo. Galiba ng’ebisusunku bwe bitwalibwa empewo; era ng’enfuufu ekunta nga yeetooloola, enkuba ng’eneetera okutonnya.
14 At evening, sudden terror! Before morning, they are gone. This is the portion of those who plunder us, the lot of those who loot us. Entiisa ey’amaanyi eribagwako akawungeezi. Buliba tebunnakya ng’abalabe bonna tewakyali. Guno gwe mugabo gw’abo abatunyaga, era y’empeera y’abo abatunyagako ebyaffe.
FHB

Scripture from Father’s Heart Bible™. © 2026 Spirit Media Publishing, the imprint of Spirit Media Inc. All rights reserved. In Divine Voice™ Color, the words spoken by our Father show in blue, the words of the Son in red, and the words of the Spirit in purple.

OLCB

Biblica® Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya ekwatiddwa ku katambi™ Obwannannyini© 1984, 1986, 1993, 2014 bwa Biblica, Inc. Biblica® Open Luganda Contemporary Bible™ Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc. “Biblica” Linnya ery’obwannannyini eryawandiisibwa Biblica mu Amerika era nga balina n’ekkakkalabozo, Inc. Bwaweebwa olukusa okulikozesa. “Biblica” is a trademark registered in the United States Patent and Trademark Office by Biblica, Inc. Used with permission.
Biblica® Open Luganda Contemporary Bible 2014 · Creative Commons - Attribution-ShareAlike [CC BY-SA]