Skip to content
The Believer's Library

Biblica® Open Luganda Contemporary Bible 2014

Isaiah 16 OLCB

Show OLCB only
Verse × ×
1 Send the lambs to the ruler of the land, from Sela by way of the wilderness, to the mountain of the daughter of Zion. “Muweereze abaana b’endiga eri oyo afuga ensi, okuva e Seera, ng’oyita mu ddungu, okutuuka ku lusozi lwa Muwala wa Sayuuni.
2 Like fluttering birds, like a scattered nest, so are the daughters of Moab at the fords of the Arnon. Ng’ennyonyi ezabulwako ekisu n’ezisaasaana nga zidda eno n’eri, bwe batyo bwe baliba abawala ba Mowaabu awasomokerwa Alunooni.
3 Give counsel; grant justice; make your shade like night at the height of noon. Hide the outcasts; do not betray the fugitive. “Tuwe ku magezi, tubuulire, tukole tutya? Mutusiikirize mubeere ng’ekittuluze wakati mu ttuntu, Abajja bagobebwa mubakweke, abajja badaaga temubalyamu lukwe.
4 Let my outcasts dwell among you, Moab; be a shelter to them from the destroyer. When the oppressor is no more, and destruction has ceased, and the tramplers have vanished from the land, Muleke aba Mowaabu abajja bagobebwa babeere nammwe. Mubataakirize oyo ayagala okubamalawo.” Omujoozi bw’aweddewo, n’okubetentebwa ne kuggwaawo; omulumbaganyi aliggwaawo mu nsi.
5 then a throne will be established in covenant love, and on it will sit in faithfulness, in the tent of David, one who judges and seeks justice and is swift to do righteousness. Entebe ey’obwakabaka eryoke etekebwewo mu kwagala, era ku yo kutuuleko omufuzi ow’omu nnyumba ya Dawudi alamula mu bwesigwa era anoonya obwenkanya era ayanguwa okukola eby’obutuukirivu.
6 We have heard of Moab's pride—how very proud he is—of his arrogance, his pride, and his fury; his boasting is empty. Tuwulidde amalala ga Mowaabu, nga bw’ajjudde okwemanya, n’amalala ge n’okuvuma; naye okwemanya kwe tekugasa.
7 Therefore let Moab wail for Moab; let everyone wail. Mourn, utterly stricken, for the raisin cakes of Kir-hareseth. Noolwekyo leka Mowaabu akaabe, leka buli muntu akaabire ku Mowaabu. Mukungubage, musaalirwe obugaati bw’emizabbibu egy’e Kirukalesesi.
8 For the fields of Heshbon wither, and the vine of Sibmah; the rulers of the nations have struck down its choice branches, which reached as far as Jazer and strayed into the wilderness; its shoots spread out and crossed over the sea. Ennimiro ez’e Kesuboni zikaze, n’emizabbibu gy’e Sibuma giweddewo. Abafuzi b’amawanga batemeddewo ddala emiti gyabwe egyasinganga obulungi, egyabunanga ne gituuka e Yazeri nga giggukira mu ddungu n’emitunsi nga gibuna nga gituukira ddala mu nnyanja.
9 Therefore I weep with the weeping of Jazer for the vine of Sibmah; I drench you with my tears, Heshbon and Elealeh, for over your summer fruit and your harvest the battle shout has fallen. Noolwekyo kyenva nkaaba amaziga nga Yazeri bw’akaaba olw’omuzabbibu ogw’e Sibuma. Nakufukirira nkutobye n’amaziga gange, ggwe Kesuboni ne Ereyale: kubanga essanyu ery’ebibala byo n’ebyokukungula byo lizikiziddwa.
10 Joy and gladness are taken away from the fruitful field, and in the vineyards no songs are sung, no cheers are raised. No one treads out wine in the presses; I have put an end to the shouting. Ennimiro engimu ziweddemu essanyu n’okweyagala; ne mu nnimiro z’emizabbibu temuliba ayimba wadde aleekaana; mu masogolero temulibaamu musogozi asogoleramu nvinnyo; okuleekaana kw’omusogozi ng’asogola kukomye.
11 Therefore my heart moans like a lyre for Moab, my inmost being for Kir-heres. Omutima gwange kyeguva gukaabira Mowaabu mu ddoboozi ng’ery’ennanga, emmeeme yange munda n’ekaabira Kirukeresi.
12 And when Moab presents himself, when he wears himself out on the high place and comes to his sanctuary to pray, he will not prevail. Awo Mowaabu bw’alyeyanjula, mu bifo ebigulumivu, alyekooya yekka; bw’aligenda okusamira, tekirimuyamba.
13 This is the word that our Father spoke concerning Moab in the past. Ekyo kye kigambo Mukama kye yayogera ku Mowaabu mu biro eby’edda.
14 But now our Father has spoken: "In three years, like the years of a hired worker, the glory of Moab will be scorned, in spite of all his great numbers; and the remnant will be very few and feeble." Naye kaakano Mukama Katonda agamba nti, “Mu myaka esatu, ng’omukozi gwe bapangisizza bwe yandigibaze, ekitiibwa kya Mowaabu kijja kuba nga kifuuse ekivume ekinyoomebwa, newaakubadde ng’alina ekibiina ekinene; era walisigalawo abantu batono ate nga banafu ddala.”
FHB

Scripture from Father’s Heart Bible™. © 2026 Spirit Media Publishing, the imprint of Spirit Media Inc. All rights reserved. In Divine Voice™ Color, the words spoken by our Father show in blue, the words of the Son in red, and the words of the Spirit in purple.

OLCB

Biblica® Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya ekwatiddwa ku katambi™ Obwannannyini© 1984, 1986, 1993, 2014 bwa Biblica, Inc. Biblica® Open Luganda Contemporary Bible™ Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc. “Biblica” Linnya ery’obwannannyini eryawandiisibwa Biblica mu Amerika era nga balina n’ekkakkalabozo, Inc. Bwaweebwa olukusa okulikozesa. “Biblica” is a trademark registered in the United States Patent and Trademark Office by Biblica, Inc. Used with permission.
Biblica® Open Luganda Contemporary Bible 2014 · Creative Commons - Attribution-ShareAlike [CC BY-SA]