Skip to content
The Believer's Library

Biblica® Open Luganda Contemporary Bible 2014

Zephaniah 2 OLCB

Side by side with the Father's Heart Bible™

Abalabe ba Isirayiri Basalirwa Omusango

1Mukuŋŋaane, weewaawo, mukuŋŋaane,mmwe eggwanga eritalina nsonyi,

2ekiseera ekyategekebwa nga tekinnatuuka,olunaku ne luba ng’ebisusunku ebifuumulibwa,obusungu bwa Mukama nga tebunnabatuukako,ng’olunaku olw’obusungu bwa Mukama terunnabatuukako.

3Munoonye Mukama, mmwe mwenna abawombeefu ab’omu nsi,abakola by’alagira;munoonye obutuukirivu n’obuwombeefu;mpozzi mulikwekebwaku lunaku olw’obusungu bwe.

Obubaka eri Abafirisuuti

4Gaza kirirekebwawo,ne Asukulooni kiriba matongo:abantu ba Asudodi baligobebwamu mu ttuntu,ne Ekuloni kirisimbulibwa.

5Zibasanze mmwe ababeera ku lubalama lw’ennyanja,eggwanga ery’Abakeresi!Ekigambo kya Mukama kikwolekedde,ggwe Kanani, ensi ey’Abafirisuuti.Ndikuzikirizaso tewaliba asigalawo.

6Olubalama lw’ennyanja ab’Akeresi gye babeeraluliba malundiro g’abasumba n’ebisulo by’endiga.

7Olubalama lw’ennyanja luliba lwa kitundu ky’ennyumba ya Yuda ekyasigalawoera we banaalundiranga,ne mu nnyumba za Asukuloonimwe banaagalamiranga akawungeezi.Mukama Katonda waabwe alibalabirira,n’akomyawo obugagga bwabwe.

Obubaka eri Abamowaabu n’Abamoni

8Mpulidde okuvuma kwa Mowaabun’okusekerera kw’Abamonikwe bavumye abantu bangene batiisatiisa ensi yaabwe.

9Kale nga bwe ndi omulamu,bw’ayogera Mukama Ayinzabyonna, Katonda wa Isirayiri,ddala Mowaabu aliba nga Sodomu,n’abaana ba Amoni nga Ggomola,ekifo emyennyango kye gyemala, n’ebirombe by’omunnyo,amatongo agolubeerera. Balinyagibwa abantu bange abaliba basigaddewo,n’ekitundu ky’eggwanga lyange ekifisseewo kiritwala ensi yaabwe.

10Eno y’eriba empeera yaabwe olw’amalala gaabwe,kubanga bavumye ne banyooma abantu ba Mukama Ayinzabyonna.

11Mukama aliba wa ntiisa gye balibw’alizikiriza bakatonda bonna ab’ensi.Amawanga gonna ag’oku mbalama zonna galimusinza,buli muntu ng’asinziira mu nsi ye.

Obubaka eri Abaesiyopiya

12Nammwe Abaesiyopiya, mulittibwa n’ekitala kyange.

Obubaka eri Obwasuli

13Aligololera omukono gwe ku bukiikakkonon’azikiriza Obwasuli;n’afuula Nineeve amatongoera ekikalu ng’eddungu.

14Ente n’endiga zinaagalamiranga wakati mu kyo,n’ensolo zonna eza buli kika:ekiwuugulu era ne nnamunnungubanaasulanga ku mpagi zaakyo.Amaloboozi gaabyo ganaawulikikanga mu madirisa;kafakalimbo ajjudde mu miryango,n’emikiikiro egy’emivule giryelulwa.

15Kino kye kibuga ekya kyetwala,ekyayogeranga mu mutima gwakyo nti,Nze we ndi, tewali mulala wabula nze:nga kifuuse bifulukwa,ekifo ensolo ez’omu nsiko we zigalamira!Buli muntu akiyitako aneesoozangan’akinyoomoola.

Biblica® Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya ekwatiddwa ku katambi™ Obwannannyini© 1984, 1986, 1993, 2014 bwa Biblica, Inc. Biblica® Open Luganda Contemporary Bible™ Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc. “Biblica” Linnya ery’obwannannyini eryawandiisibwa Biblica mu Amerika era nga balina n’ekkakkalabozo, Inc. Bwaweebwa olukusa okulikozesa. “Biblica” is a trademark registered in the United States Patent and Trademark Office by Biblica, Inc. Used with permission.
Biblica® Open Luganda Contemporary Bible 2014 · Creative Commons - Attribution-ShareAlike [CC BY-SA]