Skip to content
The Believer's Library

Biblica® Open Luganda Contemporary Bible 2014

Job 3 OLCB

Show OLCB only
Verse × ×
1 After this Job opened his mouth and cursed the day of his birth. Oluvannyuma lw’ebyo, Yobu n’ayasamya akamwa ke n’akolimira olunaku kwe yazaalirwa.
2 He said: N’agamba nti,
3 "Let the day I was born perish, and the night that said, 'A boy is conceived.' “Olunaku kwe nazaalirwa luzikirire, n’ekiro lwe kyalangirirwa nti omwana mulenzi.
4 That day—let it be darkness! May God above not seek it, nor let light shine upon it. Olunaku olwo lubuutikirwe ekizikiza, omusana guleme okulwakako, Katonda aleme okulufaako.
5 Let darkness and deep shadow claim it; let a cloud settle over it; let the blackness of the day terrify it. Ekizikiza n’ekisiikirize eky’okufa birujjule, ekire kirutuuleko, ekizikiza kikankanye ekitangaala kyalwo.
6 That night—let thick darkness seize it; let it not rejoice among the days of the year, nor be counted among the months. Ekizikiza ekikutte be zigizigi kirunyage, luleme okubalirwa awamu n’ennaku eziri mu mwaka, wadde okuyingizibwa mu ezo eziri mu mwezi.
7 Yes, let that night be barren; let no joyful cry come into it. Yee, lubeere lugumba, waleme okuba eddoboozi lyonna ery’essanyu eririwulirwako.
8 Let those who curse days curse it—those ready to rouse Leviathan. Abo abakolimira ennyanja n’ennaku balukolimire, n’abo abamanyi okuzuukusa agasolo galukwata mu nnyanja, balukolimire.
9 Let the stars of its dawn be dark; let it hope for light and find none, and never see the first rays of morning, Emmunyeenye ez’omu matulutulu gaalwo zibe ekizikiza, lulindirire ekitangaala kirubulwe, luleme okulaba ebikowe by’oku nkya.
10 because it did not shut the doors of my mother's womb, nor hide trouble from my eyes. Kubanga terwaggala nzigi za lubuto lwa mmange, nneme okulaba obuyinike.
11 Why did I not die at birth, come from the womb and breathe my last? “Lwaki saafa nga nzalibwa, oba ne nfa nga nva mu lubuto lwa mmange?
12 Why were there knees to receive me, or breasts for me to nurse? Lwaki amaviivi ganzikiriza okugatuulako era n’amabeere okugayonka?
13 For now I would be lying down in quiet; I would be asleep and at rest, Kaakano nandibadde ngalamidde nga neesirikidde, nandibadde neebase nga neewummulidde,
14 with kings and counselors of the earth who built ruins for themselves, wamu ne bakabaka n’abakungu ab’ensi, abezimbira embiri kaakano amatongo,
15 or with princes who had gold, who filled their houses with silver. oba n’abalangira abaalina zaabu, abajjuzanga ffeeza mu nnyumba zaabwe.
16 Or why was I not a buried stillborn child, like infants who never saw the light? Oba lwaki saaziikibwa ng’omwana azaaliddwa ng’afudde, atalabye ku kitangaala?
17 There the wicked cease from raging, and there the weary are at rest. Eyo ababi gye batatawaanyizibwa, era n’abakooye gye bawummulira.
18 Together the captives are at ease; they no longer hear the slave driver's voice. Abasibe gye bawummulira awamu, gye batawulirira kiragiro ky’oyo abaduumira.
19 The small and the great are there alike, and the slave is free from his master. Abakopi n’abakungu gye babeera; abaddu gye batatuntuzibwa bakama baabwe.
20 Why is light given to one in misery, and life to the bitter in soul, “Lwaki omuyinike aweebwa ekitangaala, ne kimulisiza oyo alumwa mu mwoyo,
21 who long for death that does not come, and dig for it more than for hidden treasure, era lwaki yeegomba okufa naye ne kutajja, n’akunoonya okusinga obugagga obuziikiddwa,
22 who leap for joy and are glad when they find the grave? abajaguza ekisukkiridde, ne basanyuka ng’atuuse ku ntaana?
23 Why is light given to a man whose way is hidden, whom God has hedged in? Lwaki okuwa ekitangaala oyo, atayinza kulaba kkubo, Katonda gw’akomedde?
24 For my sighing comes before my bread, and my groans pour out like water. Kubanga nkaaba mu kifo ky’okulya, n’okusinda kwange kufukumuka ng’amazzi.
25 For the thing I dreaded has come upon me, and what I feared has overtaken me. Ekintu kye nantiiranga ddala era kye nakyawa kye kyantukako.
26 I have no ease, no quiet, no rest—only turmoil." Siwummudde wadde okusiriikirira wadde okuba n’emirembe, wabula buzibu bwereere bwe bunzijidde.”
FHB

Scripture from Father’s Heart Bible™. © 2026 Spirit Media Publishing, the imprint of Spirit Media Inc. All rights reserved. In Divine Voice™ Color, the words spoken by our Father show in blue, the words of the Son in red, and the words of the Spirit in purple.

OLCB

Biblica® Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya ekwatiddwa ku katambi™ Obwannannyini© 1984, 1986, 1993, 2014 bwa Biblica, Inc. Biblica® Open Luganda Contemporary Bible™ Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc. “Biblica” Linnya ery’obwannannyini eryawandiisibwa Biblica mu Amerika era nga balina n’ekkakkalabozo, Inc. Bwaweebwa olukusa okulikozesa. “Biblica” is a trademark registered in the United States Patent and Trademark Office by Biblica, Inc. Used with permission.
Biblica® Open Luganda Contemporary Bible 2014 · Creative Commons - Attribution-ShareAlike [CC BY-SA]