Side by side with the Father's Heart Bible™ Obunnabbi Obukwata ku Misiri ne Kuusi
1Mu mwaka Talutani omuduumizi w’oku ntikko mwe yajjira mu Asudodi ng’atumiddwa Salugoni kabaka we Bwasuli n’alwana ne Asudodi n’akiwamba; 2mu kiseera ekyo Mukama Katonda n’ayogera ne Isaaya mutabani wa Amozi nti, “Genda osumulule ebibukutu mu kiwato kyo era oyambulemu engatto mu bigere byo.” N’akola bw’atyo n’atambula engatto ng’aziggyemu.
3Mukama Katonda n’ayogera nti, “Ng’omuddu wange Isaaya bwe yatambula obwereere emyaka esatu nga tayambadde ngoye wadde engatto okuba akabonero n’ekyewuunyo ku Misiri ne ku Kuusi; 4bw’atyo kabaka w’e Bwasuli bw’aliwambira ddala Abamisiri, aliwaŋŋangusa Abakuusi, abato n’abakulu nga bali bwereere nga tebalina na ngatto, amakugunyu gaabwe nga tegabikiddwako, Misiri ekwatibwe ensonyi. 5Era balitya bakwatibwe ensonyi olwa Kuusi essuubi lyabwe, n’olwa Misiri ekitiibwa kyabwe. 6Ku olwo abantu abatuula ku lubalama lw’ennyanja baligamba nti, ‘Mulabe ekigudde ku bantu be tubadde twesiga okutukuuma, gye twadda tuwonyezebwe nga tudduka kabaka w’e Bwasuli! Kaakano ffe tunaawonyezebwa tutya?’ ”
Read Isaiah 20 in the Father's Heart Bible™ Divine Voice™ Color. In Divine Voice™ Color, the words spoken by our Father show in blue, the words of the Son in red, and the words of the Spirit in purple.
Biblica® Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya ekwatiddwa ku katambi™
Obwannannyini© 1984, 1986, 1993, 2014 bwa Biblica, Inc.
Biblica® Open Luganda Contemporary Bible™
Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.
“Biblica” Linnya ery’obwannannyini eryawandiisibwa Biblica mu Amerika era nga balina n’ekkakkalabozo, Inc. Bwaweebwa olukusa okulikozesa.
“Biblica” is a trademark registered in the United States Patent and Trademark Office by Biblica, Inc. Used with permission.
Biblica® Open Luganda Contemporary Bible 2014 · Creative Commons - Attribution-ShareAlike [CC BY-SA]
Read offline
Save OLCB on this device and read it with no connection. Downloads stay in this browser or app only.