Skip to content
The Believer's Library

Biblica® Open Luganda Contemporary Bible 2014

Isaiah 20 OLCB

Show OLCB only
Verse × ×
1 The year the commander-in-chief came to Ashdod, sent by Sargon king of Assyria, he fought Ashdod and captured it. Mu mwaka Talutani omuduumizi w’oku ntikko mwe yajjira mu Asudodi ng’atumiddwa Salugoni kabaka we Bwasuli n’alwana ne Asudodi n’akiwamba;
2 At that time our Father said through Isaiah son of Amoz, "Loosen the sackcloth from your waist and take the sandals off your feet." He did so, walking stripped and barefoot. mu kiseera ekyo Mukama Katonda n’ayogera ne Isaaya mutabani wa Amozi nti, “Genda osumulule ebibukutu mu kiwato kyo era oyambulemu engatto mu bigere byo.” N’akola bw’atyo n’atambula engatto ng’aziggyemu.
3 Then our Father said, "Just as my servant Isaiah has walked stripped and barefoot three years, as a sign and omen against Egypt and Cush, Mukama Katonda n’ayogera nti, “Ng’omuddu wange Isaaya bwe yatambula obwereere emyaka esatu nga tayambadde ngoye wadde engatto okuba akabonero n’ekyewuunyo ku Misiri ne ku Kuusi;
4 so Assyria's king will drive off Egypt's captives and Cush's exiles, young and old, naked, barefoot, buttocks bared—exposing Egypt's shame. bw’atyo kabaka w’e Bwasuli bw’aliwambira ddala Abamisiri, aliwaŋŋangusa Abakuusi, abato n’abakulu nga bali bwereere nga tebalina na ngatto, amakugunyu gaabwe nga tegabikiddwako, Misiri ekwatibwe ensonyi.
5 Then they will be shattered and ashamed because of Cush their hope and Egypt their boast. Era balitya bakwatibwe ensonyi olwa Kuusi essuubi lyabwe, n’olwa Misiri ekitiibwa kyabwe.
6 On that day, this coastland's people will say, 'See what came of our hope, where we fled for help, to be rescued from the king of Assyria! How can we escape?'" Ku olwo abantu abatuula ku lubalama lw’ennyanja baligamba nti, ‘Mulabe ekigudde ku bantu be tubadde twesiga okutukuuma, gye twadda tuwonyezebwe nga tudduka kabaka w’e Bwasuli! Kaakano ffe tunaawonyezebwa tutya?’ ”
FHB

Scripture from Father’s Heart Bible™. © 2026 Spirit Media Publishing, the imprint of Spirit Media Inc. All rights reserved. In Divine Voice™ Color, the words spoken by our Father show in blue, the words of the Son in red, and the words of the Spirit in purple.

OLCB

Biblica® Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya ekwatiddwa ku katambi™ Obwannannyini© 1984, 1986, 1993, 2014 bwa Biblica, Inc. Biblica® Open Luganda Contemporary Bible™ Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc. “Biblica” Linnya ery’obwannannyini eryawandiisibwa Biblica mu Amerika era nga balina n’ekkakkalabozo, Inc. Bwaweebwa olukusa okulikozesa. “Biblica” is a trademark registered in the United States Patent and Trademark Office by Biblica, Inc. Used with permission.
Biblica® Open Luganda Contemporary Bible 2014 · Creative Commons - Attribution-ShareAlike [CC BY-SA]