Skip to content
The Believer's Library

Biblica® Open Luganda Contemporary Bible 2014

Hosea 2 OLCB

Show OLCB only
Verse × ×
1 Say to your brothers, "My People," and to your sisters, "Shown Mercy." “Mwogere ku baganda bammwe nti, ‘bantu bange,’ mwogere ne ku bannyinammwe nti, ‘baagalwa bange.’ ”
2 Plead with your mother, plead—for she is not my wife, and I am not her husband—that she put away her whoring from her face and her unfaithfulness from between her breasts, Munenye nnyammwe, mumunenye, kubanga si mukazi wange, so nange siri bba. Aggyewo obukaba obuli mu maaso ge, n’obwenzi obuva wakati w’amabeere ge;
3 or I will strip her bare and leave her as naked as the day she was born; I will make her like a wilderness, turn her into a parched land, and let her die of thirst. nneme okumwambulira ddala ne mmulekeraawo nga bwe yali ku lunaku kwe yazaalibwa; ne mmufuula ng’eddungu, ne mmulekawo ng’ensi enkalu eteriiko ky’egasa, ne mmussa ennyonta.
4 I will show her children no compassion, for they are the children of whoring. Sirilaga kwagala kwange eri abaana be, kubanga baana ba bwenzi.
5 Their mother has prostituted herself; she who carried them acted in shame. She said, "I will chase after my lovers, who give me my bread and my water, my wool and my flax, my oil and my drink." Nnyabwe yakola obwenzi, n’abazaalira mu buwemu. Yayogera nti, “Ndigenda eri baganzi bange abampa emmere n’amazzi, n’ebimbugumya n’ebyokwambala, n’amafuta n’ekyokunywa.”
6 Therefore I am about to block her path with thorns; I will wall her in so she cannot find her paths. Kyendiva nziba ekkubo lye n’amaggwa, ne mmuzimbako bbugwe okumwetooloola, aleme okulaba ekkubo wayitira.
7 She will chase her lovers but not catch them; she will look for them but not find them. Then she will say, "I will go back to my first husband, for it was better for me then than now." Aligezaako okugoberera baganzi be abakwate, naye talibatuukako, alibanoonya naye talibalaba. Oluvannyuma alyogera nti, “Naagenda eri bba wange eyasooka, kubanga mu biro ebyo nabanga bulungi okusinga bwe ndi kaakano.”
8 She has not realized that it was I who gave her the grain, the new wine, and the oil, I who lavished silver and gold on her—which they spent on Baal. Tajjukira nga nze namuwanga eŋŋaano, ne wayini n’amafuta, era eyamuwa effeeza ne zaabu bye baakozesanga okuweerezanga Baali.
9 Therefore I will take back my grain when it ripens and my new wine in its season; I will reclaim my wool and my flax, given to cover her nakedness. “Kyendiva neddiza emmere yange ey’empeke ng’eyengedde, ne wayini wange ng’atuuse; era nzija kumuggyako ebyambalo byange eby’ebbugumu n’ebyambalo byange ebya bulijjo, bye yayambalanga.
10 Now I will expose her shame before the eyes of her lovers, and no one will rescue her from my hand. Era kyenaava nyanika obukaba bwe mu maaso ga baganzi be, so tewaliba amuwonya mu mukono gwange.
11 I will put an end to all her rejoicing—her festivals, her New Moons, her Sabbaths, all her appointed festivals. Ndikomya ebinyumu bye byonna, n’embaga ze eza buli mwaka, n’embaga ze ez’emyezi egyakaboneka, ne ssabbiiti ze, n’enkuŋŋaana ze zonna entukuvu.
12 I will lay waste her vines and fig trees, of which she said, "These are my wages that my lovers gave me." I will turn them into a thicket, and the wild animals will devour them. Ndizikiriza emizabbibu gye n’emitiini gye, gye yayogerako nti, ‘Guno gwe musaala baganzi bange gwe bansasula.’ Ndibizisa, era n’ensolo ez’omu nsiko ziribyonoona.
13 I will hold her accountable for the days she burned offerings to the Baals, when she decked herself with rings and jewelry and chased after her lovers—but me she forgot, declares our Father. Ndimubonereza olw’ennaku ze yayotereza obubaane eri Babaali, ne yeeyambaza empeta n’ebintu eby’omuwendo ennyo, n’agenda eri baganzi be, naye nze n’aneerabira,” bw’ayogera Mukama.
14 "Therefore, look, I am going to win her back: I will lead her into the wilderness and speak tenderly to her heart. Kale kyendiva musendasenda, ne mmutwala mu ddungu, ne njogera naye n’eggonjebwa.
15 There I will give her back her vineyards and make the Valley of Achor a doorway of hope. There she will respond as in the days of her youth, as on the day she came up out of Egypt." Era eyo ndimuddiza ennimiro ze ez’emizabbibu, ne nfuula Ekiwonvu kya Akoli oluggi olw’essuubi. Alimpuliriza nga bwe yampulirizanga mu nnaku ez’obuvubuka bwe, era nga mu biro bye yaviira mu nsi ya Misiri.
16 On that day, declares our Father, you will call me "my husband," and no longer will you call me "my Baal." “Ku lunaku olwo,” bw’ayogera Mukama, “olimpita nti, ‘mwami wange;’ toliddayo nate kumpita, ‘Mukama wange.’ ”
17 I will remove the names of the Baals from her mouth; never again will they be invoked by name. Ndiggya amannya ga Babaali mu kamwa ke, so taliddayo nate okwasanguza amannya gaabwe.
18 On that day I will make a covenant for them with the wild animals, the birds of the sky, and the creatures that move along the ground; I will banish bow and sword and war from the land, so that all may lie down in safety. Ku lunaku olwo ndibakolera endagaano n’ensolo ez’omu nsiko n’ennyonyi ez’omu bbanga, n’ebyewalula ku ttaka, era ndiggyawo obusaale, n’ekitala, n’entalo mu nsi, bonna ne batuula mirembe.
19 I will betroth you to me forever; I will betroth you to me in righteousness and justice, in covenant love and compassion. Era ndikwogereza ennaku zonna, ndikwogereza mu butuukirivu, ne mu mazima, ne mu kwagala ne mu kusaasira.
20 I will betroth you to me in faithfulness, and you will know your Father. Ndikwogereza mu bwesigwa, era olimanya Mukama.
21 On that day I will respond, declares our Father—I will respond to the heavens, and they will respond to the earth; “Ku lunaku olwo, ndyanukula eggulu, nalyo ne lyanukula ensi;
22 and the earth will respond to the grain, the new wine, and the oil, and they will respond to Jezreel. ensi erimeramu emmere ey’empeke, ne wayini n’amafuta, nabyo ne bifunibwa Yezuleeri,” bw’ayogera Mukama.
23 I will plant her for myself in the land. I will show mercy to "No Mercy," and I will say to "Not My People," "You are my children"; and they will say, "You are my Father." “Ndimwesimbira mu nsi, ndisaasira oyo eyayitibwanga nti, atasaasirwa, era ndigamba abataali bantu bange nti, ‘Bantu bange,’ era nabo balyogera nti, ‘Ggwe Katonda wange.’ ”
FHB

Scripture from Father’s Heart Bible™. © 2026 Spirit Media Publishing, the imprint of Spirit Media Inc. All rights reserved. In Divine Voice™ Color, the words spoken by our Father show in blue, the words of the Son in red, and the words of the Spirit in purple.

OLCB

Biblica® Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya ekwatiddwa ku katambi™ Obwannannyini© 1984, 1986, 1993, 2014 bwa Biblica, Inc. Biblica® Open Luganda Contemporary Bible™ Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc. “Biblica” Linnya ery’obwannannyini eryawandiisibwa Biblica mu Amerika era nga balina n’ekkakkalabozo, Inc. Bwaweebwa olukusa okulikozesa. “Biblica” is a trademark registered in the United States Patent and Trademark Office by Biblica, Inc. Used with permission.
Biblica® Open Luganda Contemporary Bible 2014 · Creative Commons - Attribution-ShareAlike [CC BY-SA]