Skip to content
The Believer's Library

Biblica® Open Luganda Contemporary Bible 2014

Hosea 1 OLCB

Show OLCB only
Verse × ×
1 The word of our Father that came to Hosea son of Beeri, in the days of Judah's kings Uzziah, Jotham, Ahaz, and Hezekiah, and in the days of Israel's king Jeroboam son of Joash. Buno bwe bubaka bwa Mukama bwe yawa Koseya mutabani wa Beeri mu mulembe gwa Uzziya, n’ogwa Yosamu, n’ogwa Akazi n’ogwa Keezeekiya, nga be bakabaka ba Yuda, ne mu mulembe gwa Yerobowaamu mutabani wa Yowaasi, nga ye kabaka wa Isirayiri.
2 When our Father first spoke through Hosea, our Father said, "Go, take a wife of prostitution and have children of prostitution, for the land has completely abandoned me, turning to prostitution instead of following me." Awo Mukama bwe yasooka okwogera eri Koseya, yamulagira nti, “Ggenda owase omukazi malaaya, omuzaalemu abaana, era banaayitibwanga abaana aboobwamalaaya, kubanga ensi eyitirizza okukola ekibi eky’obwenzi, n’eva ku Mukama.”
3 He went and took Gomer daughter of Diblaim; she conceived and bore a son. Awo n’awasa Gomeri muwala wa Dibulayimu, n’aba olubuto, n’amuzaalira omwana wabulenzi.
4 And our Father said to him, "Name him Jezreel, for soon I will punish the house of Jehu for the blood of Jezreel, and end the kingdom of the house of Israel. Mukama n’agamba Koseya nti, “Mmutuume erinnya Yezuleeri, kubanga nnaatera okubonereza ennyumba ya Yeeku, olw’okuyiwa omusaayi gw’abantu ab’e Yezuleeri, era ndimalawo obwakabaka bwa Isirayiri.
5 And on that day I will break the bow of Israel in the Valley of Jezreel." Ku lunaku olwo omutego gwa Isirayiri ndigumenyera mu Kiwonvu kya Yezuleeri.”
6 She conceived again and bore a daughter. And our Father said to him, "Name her Lo-Ruhamah, for I will no longer show compassion to the house of Israel, nor forgive them at all. Gomeri n’aba olubuto olulala, n’azaala omwana wabuwala. Mukama n’agamba Koseya nti, “Mmutuume erinnya Lolukama, kubanga ennyumba ya Isirayiri ndiba sikyagyagala, si kulwa nga mbasonyiwa.
7 But I will have mercy on the house of Judah and save them as their Father—I will not save them by bow, sword, or battle, by horses or horsemen." Naye ab’ennyumba ya Yuda ndibaagala, era ndibalokola, si na kasaale, newaakubadde ekitala, newaakubadde entalo, newaakubadde embalaasi newaakubadde abeebagala embalaasi, wabula nze kennyini Mukama Katonda waabwe nze ndibaagala era ne mbalokola.”
8 When she had weaned Lo-Ruhamah, she became pregnant and gave birth to a son. Awo Gomeri bwe yamala okuggya Lolukama ku mabeere, n’aba olubuto olulala n’azaala omwana wabulenzi.
9 And our Father said, "Name him Lo-Ammi, for you are not my people, and I will not be your Father." Mukama n’ayogera nti, “Mmutuume erinnya Lowami, kubanga temukyali bantu bange, nange sikyali Katonda wammwe.
10 The children of Israel will be as countless as the sand of the sea, beyond measure or count. Where they were told, "You are not my people," they will be told, "Children of the living Father." “Naye ekiseera kirituuka abantu ba Isirayiri ne baba bangi ng’omusenyu ogw’oku nnyanja, ogutayinzika kupimibwa newaakubadde okubalibwa olw’obungi bwagwo. Mu kifo ky’okuyitibwa abatali bantu bange, baliyitibwa, baana ba Katonda omulamu.
11 Judah's children and the children of Israel will gather together, appoint one head, and go up from the land, for great will be the day of Jezreel. Abantu ba Yuda baliddamu okwegatta n’abantu ba Isirayiri ne beerondamu omukulembeze, ne bava mu buwaŋŋanguse, era olunaku lwa Yezuleeri luliba lukulu.”
FHB

Scripture from Father’s Heart Bible™. © 2026 Spirit Media Publishing, the imprint of Spirit Media Inc. All rights reserved. In Divine Voice™ Color, the words spoken by our Father show in blue, the words of the Son in red, and the words of the Spirit in purple.

OLCB

Biblica® Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya ekwatiddwa ku katambi™ Obwannannyini© 1984, 1986, 1993, 2014 bwa Biblica, Inc. Biblica® Open Luganda Contemporary Bible™ Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc. “Biblica” Linnya ery’obwannannyini eryawandiisibwa Biblica mu Amerika era nga balina n’ekkakkalabozo, Inc. Bwaweebwa olukusa okulikozesa. “Biblica” is a trademark registered in the United States Patent and Trademark Office by Biblica, Inc. Used with permission.
Biblica® Open Luganda Contemporary Bible 2014 · Creative Commons - Attribution-ShareAlike [CC BY-SA]