Skip to content
The Believer's Library

Biblica® Open Luganda Contemporary Bible 2014

Daniel 12 OLCB

Show OLCB only
Verse × ×
1 At that time Michael, the great prince guarding your people's children, will arise. There will be distress unmatched since nations began, until then. At that time your people—all listed in the book—will be rescued. “Mu biro ebyo Mikayiri omulangira omukulu akuuma abantu bo aligolokoka, ne yeeyimirira abantu bo. Waliba ekiseera eky’okubonaaboneramu ekitabangawo okuva ku kutondebwa kw’amawanga. Naye mu biro ebyo, omuntu aliba awandiikiddwa mu kitabo, alirokolebwa.
2 Many sleeping in earth's dust will wake—some to everlasting life, some to shame and everlasting contempt. Bangi ku beebase mu nfuufu ey’ensi baligolokoka, abamu eri obulamu obutaggwaawo, n’abalala eri ensonyi n’okuswazibwa okutaggwaawo.
3 The wise will shine like the sky's brightness; those who turn many to righteousness, like stars, forever and ever. Abo abalina okutegeera balyakaayakana ng’okumasamasa kw’omu bbanga; n’abo abakyusa abangi okudda eri obutuukirivu, balyakaayakana ng’emmunyeenye emirembe n’emirembe.
4 But you, Daniel, close these words and seal the book until the end time. Many will roam back and forth, and knowledge will grow. Naye ggwe Danyeri, bikka era osse envumbo ku kitabo okutuusa ekiseera eky’enkomerero lwe kirituuka. Bangi balitambula eno n’eri, era n’okumanya n’amagezi kulyeyongera.”
5 Then I, Daniel, looked and saw two others standing, one on each bank of the river. Nze Danyeri ne ndyoka ndaba, laba babiri abalala nga bayimiridde mu maaso gange, omu ku lubalama lw’omugga olumu, n’omulala ku lubalama lw’omugga olulwolekedde.
6 One asked the linen-clad man above the river's waters, "How long till these wonders end?" Omu ku bo n’agamba omusajja, eyali waggulu w’amazzi g’omugga ng’ayambadde linena nti, “Kiritwala bbanga ki ebyewuunyisa ebyo byonna okutuukirira?”
7 I heard the man dressed in linen, above the river's waters, lift his right hand and left toward heaven and swear by the One who lives forever: for a time, times, and half a time; when the shattering of the holy people's power is finished, all these things will be finished. Omusajja eyali waggulu w’amazzi g’omugga ng’ayambadde linena, n’ayimusa omukono gwe ogwa ddyo n’omukono gwe ogwa kkono eri eggulu, ne mmuwulira ng’alayira eri oyo abeera omulamu emirembe n’emirembe, ng’ayogera nti, “Waliyitawo ebbanga lya myaka esatu n’ekitundu. Era amaanyi g’abantu abatukuvu bwe galimalibwawo, ebintu ebyo byonna ne biryoka bituukirira.”
8 I heard, but didn't understand, so I said, "My lord, what is the end of these things?" Ne mpulira naye ne sitegeera. Kyennava mbuuza nti, “Mukama wange, biki ebiriva mu ebyo byonna?”
9 He said, "Go, Daniel, for the words are shut and sealed until the time of the end. N’anziramu nti, “Weetambulire makubo go, Danyeri, kubanga ebigambo bibikiddwako era n’ekitabo kissibbwako envumbo okutuusa ekiseera eky’enkomerero.
10 Many will be purified, whitened, refined; the wicked will keep doing evil. None of the wicked will understand, but the wise will understand. Bangi balitukuzibwa ne balongoosebwa obutabaako na bbala, naye abatali batuukirivu balyeyongera okukola ebibi. Ku batali batuukirivu tekuliba ategeera, naye ab’amagezi baliba n’okutegeera.
11 From the daily sacrifice's removal and the setting up of the abomination that causes desolation: 1,290 days. “N’okuva mu kiseera ekya ssaddaaka eya buli lunaku ng’eggyiddwawo n’eby’emizizo ebizikiriza nga biteekeddwawo, waliyitawo ennaku lukumi mu bibiri mu kyenda.
12 Blessed is the one who waits and reaches the 1,335 days. Alina omukisa oyo alirindirira n’atuuka ku nkomerero ey’ennaku olukumi mu bisatu mu asatu mu ttaano.
13 But you, go to the end. You will rest, then stand for your inheritance at the end of the days." “Naye ggwe tambula makubo go okutuusa enkomerero lwe lituuka. Oliwummula, ne ku nkomerero oligolokoka n’oweebwa omugabo gwo gwe wategekerwa.”
FHB

Scripture from Father’s Heart Bible™. © 2026 Spirit Media Publishing, the imprint of Spirit Media Inc. All rights reserved. In Divine Voice™ Color, the words spoken by our Father show in blue, the words of the Son in red, and the words of the Spirit in purple.

OLCB

Biblica® Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya ekwatiddwa ku katambi™ Obwannannyini© 1984, 1986, 1993, 2014 bwa Biblica, Inc. Biblica® Open Luganda Contemporary Bible™ Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc. “Biblica” Linnya ery’obwannannyini eryawandiisibwa Biblica mu Amerika era nga balina n’ekkakkalabozo, Inc. Bwaweebwa olukusa okulikozesa. “Biblica” is a trademark registered in the United States Patent and Trademark Office by Biblica, Inc. Used with permission.
Biblica® Open Luganda Contemporary Bible 2014 · Creative Commons - Attribution-ShareAlike [CC BY-SA]