Skip to content
The Believer's Library

Biblica® Open Luganda Contemporary Bible 2014

Daniel 11 OLCB

Show OLCB only
Verse × ×
1 And I, in the first year of Darius the Mede, stood up to support and strengthen him. Mu mwaka ogw’olubereberye ogw’obufuzi bwa Daliyo Omumeedi, nayimirira okumugumya era n’okumunyweza.
2 Now I'll tell you the truth: look, three more kings will rise in Persia, then a fourth far richer than all. Strengthened by his wealth, he will stir up everyone against Greece's kingdom. “Kaakano nnaakutegeeza eby’amazima: Bakabaka basatu abalala balifuga mu Buperusi, n’owookuna aliba mugagga nnyo okusinga bali bonna; era bw’alimala okwenyweza olw’obugagga bwe, alikubiriza bonna okujeemera obwakabaka obwa Buyonaani.
3 Then a mighty king will arise, who will rule with great dominion and do as he pleases. N’oluvannyuma walirabika kabaka ow’amaanyi, alifuga n’obuyinza bungi n’akola nga bw’ayagala.
4 Once he rises, his kingdom will break apart and split toward the four winds of heaven—not to his descendants, nor with the power he held, for his kingdom will be uprooted and given to others besides them. N’oluvannyuma obwakabaka bwe bulisasika ne bugabanyizibwa eri embuyaga ennya ez’omu ggulu. Ezzadde lye teriribugabana, era n’obwakabaka obwo tebuliba na buyinza bwe yalina kubanga obwakabaka bwe bulisigulwa ne buweebwa abalala.
5 The king of the south will grow strong; one of his commanders will grow stronger than him and rule—his dominion will be vast. “Kabaka ow’obukiikaddyo aliba w’amaanyi, naye omu ku bakungu be aliba w’amaanyi okumusinga era alifuga obwakabaka bwe n’amaanyi mangi.
6 After some years they will ally: the daughter of the king of the south will come to the king of the north to make an agreement. But she won't keep her strength, nor will he or his arm stand. She will be handed over—with her escort, her father, and her supporter—in those times. Bwe waliyitawo emyaka, balyegatta wamu n’omuwala wa kabaka ow’obukiikaddyo, aligenda eri kabaka ow’obukiikakkono okumwegattako, naye talisigaza buyinza bwe so ne kabaka newaakubadde ezzadde lye tebaliwangaala. Mu biro ebyo aliweebwayo ye n’abo baayita nabo mu lubiri, awamu ne kitaawe, era n’oyo eyamuwagira.
7 A shoot from her roots will rise in his place, attack the army, enter the north king's fortress, act against them, and prevail. “Ow’omu lulyo lwe, yaalitwala ekifo kye; alirumba eggye lya kabaka ow’obukiikakkono n’ayingira mu lubiri lwe, era alibalwanyisa n’abawangula.
8 He will take their gods captive to Egypt, with their metal images and precious silver and gold vessels; for years he will stay away from the king of the north. Aliddira bakatonda baabwe n’ebifaananyi byabwe ebisaanuuse n’ebintu byabwe eby’omuwendo ebya ffeeza n’ebya zaabu n’abitwala e Misiri, era alimala ebbanga nga tazzeeyo kulumba kabaka w’obukiikakkono.
9 The king of the north will invade the king of the south's realm, then return home. Kabaka w’obukiikakkono alirumba amatwale ga kabaka w’obukiikaddyo naye oluvannyuma aliwalirizibwa okuddayo mu nsi ye.
10 His sons will arm for war, gather a vast army that keeps coming, overflows, sweeps through, then renews war to his stronghold. Batabani be balyeteekateeka ne bakuŋŋaanya eggye eddene era balisaanyaawo ensi eyo ng’amazzi aganjaala n’amaanyi, era balituuka ku lubiri lwe.
11 The southern king, enraged, will march out to fight the northern king, who musters a vast army; but the army is given into the southern king's hand. “Mu busungu obungi, kabaka w’obukiikaddyo alirumba kabaka w’obukiikakkono ow’eggye eddene, n’amuwangula.
12 When the crowd is carried off, his heart grows proud; he strikes down tens of thousands, yet fails. Kabaka w’obukiikaddyo bw’alimala okuwangula eggye eryo eddene, n’aliwamba, alyegulumiza n’atta bangi ku bo, naye taliwangaala.
13 The king of the north will again raise a horde bigger than before, then after years come with a great army and vast supplies. Bwe waliyitawo ebbanga kabaka w’obukiikakkono alikuŋŋaanya n’afuna eggye eddene okusinga ery’olubereberye, n’oluvannyuma lw’emyaka emingi, alirumba n’eggye lye ng’alina ebyokulwanyisa ebiwera.
14 In those times many will rise against the king of the south; violent men of your people will lift themselves up to fulfill the vision, but fail. “Mu biro ebyo bangi balijeemera kabaka w’obukiikaddyo; era n’abasajja ab’effujjo ab’omu ggwanga lyo balitandika okujeema, naye baliremwa, ebigambo bye wayolesebwa bituukirire.
15 The king of the north will come, raise a siege ramp, and take a fortified city; the south's forces will not stand, nor its elite troops—no strength remains to stand. Awo kabaka w’obukiikakkono alijja n’akola ebifunvu era aliwamba ekibuga ekiriko bbugwe. Eggye ery’omu bukiikaddyo teririsobola kumulwanyisa, newaakubadde abaserikale baabwe abatendeke abakugu ennyo okumusobola.
16 His invader does as he pleases; none can stand before him. He will stand in the splendid land, destruction in his hand. Oyo alibalumba, alikola nga bw’ayagala so tewaliba n’omu alimuziyiza; era alyenyweza mu nsi ennungi, yonna n’ebeera mu buyinza bwe.
17 He will set out to enter with his kingdom's full strength, and make terms with him; he will give him a daughter of women to ruin it, but it will not stand or benefit him. Alijja n’ekitiibwa eky’obwakabaka bwe kyonna ng’amaliridde okukola endagaano ne kabaka w’obukiikaddyo. Alimuwa muwala we okumufumbirwa awambe obwakabaka, naye enteekateeka ye terituukirira newaakubadde okumuyamba.
18 Then he'll turn to the coastlands and take many, but a commander will end his arrogance, turning it back on him. N’oluvannyuma alikyuka n’alumba ensi ey’oku mabbali g’ennyanja n’agiwamba; naye walibaawo omuduumizi alikomya okujooga kwe, n’amwesasuza.
19 Then he will turn his face toward the fortresses of his own land, stumble, fall, and be found no more. Oluvannyuma lw’ebyo alikyuka okwagala okuddayo mu mbiri ez’omu nsi ye, naye alyesittalira mu kkubo n’agwa, n’ataddayo kulabika.
20 In his place will rise one who sends a tax collector for the glory of the kingdom; within a few days he'll be broken—not in anger, not in battle. “Alimusikira, aliweereza omusolooza w’omusolo alituukiriza eby’obwakabaka, naye mu nnaku ntono alizikirizibwa, si mu lutalo newaakubadde mu busungu.
21 A despised man will rise in his place, denied royal honor. He'll come in a time of ease and seize the kingdom through flattery. “Alidda mu kifo ky’oyo, aliba musajja mubi nnyo naye nga taweereddwa buyinza buva eri kabaka. Alirumba obwakabaka abantu nga batudde ntende, n’abuwamba ng’akozesa enkwe.
22 Armies will be swept away before him and broken, and the prince of the covenant as well. Oluvannyuma lw’ebyo eggye ery’amaanyi liriwangulwa ne lizikirizibwa mu maaso ge; n’omulangira ow’endagaano naye alizikirizibwa.
23 Once allied with him, he will act dishonestly and grow strong with only a few people. Awo bw’alimala okukola endagaano naye, alibeefuulira, n’aba w’amaanyi ng’ayambibwako abantu batono.
24 In a time of security, he will enter the province's richest regions and do what neither his fathers nor their fathers did—scattering plunder, spoil, and goods among them, devising schemes against fortresses, but only for a time. Mu biro eby’emirembe, alirumba amasaza amagagga, nga tebamwetegekedde, n’akola bajjajjaabe bye bataakolanga newaakubadde bajjajja ba bajjajjaabe. Aligabula abagoberezi be, ebinyage n’obugagga, ne yeekobaana okuwamba embiri, naye ekyo kirimala akaseera katono.
25 He will rouse his strength and courage against the king of the south with a great army. The king of the south will fight with a very great, mighty army—but won't stand, for plots will be devised against him. “Alikuŋŋaanya eggye ddene mu maanyi ge n’obuvumu bwe n’alumba kabaka w’obukiikaddyo. Kabaka w’obukiikaddyo alyerwanako n’eggye eddene era ery’amaanyi ennyo; naye talimuyinza olw’enkwe ze baamusalira.
26 Those who eat his food will break him; his army is swept away, and many fall slain. N’abo abanaagabana ku bugagga bwa kabaka baligezaako okumuzikiriza, era eggye lye lirisaanawo, bangi ku bo ne bafiira mu lutalo.
27 Both kings' hearts bent on evil will speak lies at one table, but it will fail—the end awaits its appointed time. Bakabaka bombi abaamalirira okukola eby’ekyejo mu mitima gyabwe, balituula ku mmeeza emu, ne bakuusagana naye tewalibaawo kya mazima kiteesebwa kubanga enkomerero erituuka mu biro ebyalagirwa.
28 He returns to his land with great wealth, heart against the holy covenant; he acts, then returns to his land. Kabaka w’obukiikakkono aliddayo mu nsi ye n’obugagga bungi, n’omutima gwe gulikyawa endagaano entukuvu. Era alikola kye yateekateeka mu mutima gwe n’oluvannyuma n’addayo mu nsi ye.
29 At the appointed time he will return and head south, but this time won't match the earlier or the latter. “Mu bbanga eryagerebwa, alirumba obukiikaddyo nate, naye ku luno tekiriba nga bwe kyali mu biro eby’olubereberye.
30 For ships of Kittim will come against him; he loses heart, turns back, rages against the holy covenant, and acts. He returns and favors those who abandon the holy covenant. Emmeeri ez’e Kittimu zirimulwanyisa era aliggwaamu amaanyi, n’oluvannyuma alikyuka okuddayo n’asunguwalira endagaano entukuvu. Bw’aliddayo alikolagana n’abo abakyawa endagaano entukuvu.
31 His forces will rise, defile the sanctuary fortress, end the daily sacrifice, and set up the abomination that causes desolation. “Amaggye ge galigolokoka okugwagwawaza awatukuvu wa yeekaalu era aliggyawo ekiweebwayo ekyokebwa ekya buli lunaku. N’oluvannyuma balissaawo eby’emizizo ebireeta ennaku n’okubonaabona.
32 He will corrupt those who violate the covenant with flattery, but people who know their Father will stand firm and act. Alisendasenda abo abaajeemera endagaano, naye abantu abamanyi Katonda waabwe baliyimirira ne bamuwakanya n’amaanyi.
33 The wise among the people will teach many, but will fall for a time by sword, flame, captivity, and plunder. “Ab’amagezi baliwabula bangi, newaakubadde nga balittibwa, n’abalala ne bookebwa omuliro, n’abalala ne bawambibwa, n’abalala ne banyagibwa okumala akaseera katono.
34 When they fall, they will receive a little help, and many will join them with flattery. Bwe baligwa baliyambibwako akatono era bangi abatali ba mazima balibasendasenda ne babeegattako.
35 Some of the wise will stumble, to be refined, purified, and cleansed until the end time, for it still awaits the set time. Abamu ku b’amagezi balyesittala, balyoke balongoosebwe, batukuzibwe, baleme kuba na bbala mu kiseera eky’enkomerero, kubanga ebiro ebyo byategekebwa era birituukirira.
36 The king will do as he pleases, lifting and enlarging himself above every god, speaking shocking things against our Father. He will flourish until the wrath is spent, since what is decreed will happen. “Kabaka alikola nga bw’ayagala. Alyenyumiriza ne yeegulumiza okusinga katonda yenna, era alyogera ebitawulikikangako ku Katonda wa bakatonda. Aliba mugagga okutuusa ebiro eby’obusungu lwe birituukirira, kubanga ekyasalibwawo kiteekwa okutuukirira.
37 He will disregard his fathers' gods, women's desired one, and every god—he will set himself above them all. Talissa kitiibwa mu bakatonda ba jjajjaabe newaakubadde oyo abakazi gwe beegomba, so talissa kitiibwa mu katonda yenna, naye alyegulumiza okusinga bonna.
38 Instead he'll honor a god of fortresses, unknown to his fathers, with gold, silver, precious stones, and costly gifts. Mu kifo ky’abo, alissa ekitiibwa mu katonda w’embiri, katonda ataamanyibwa bajjajjaabe gwalitonera zaabu ne ffeeza, n’amayinja ag’omuwendo n’ebirabo eby’omuwendo omungi.
39 With a foreign god he attacks the strongest fortresses. He greatly honors those who acknowledge him, gives them rule over many, and divides land for a price. Alirumba embiri ez’amaanyi ennyo ng’ayambibwako katonda omugwira, era abo abalissa ekimu naye, alibawa ekitiibwa kinene, n’abawa n’okufuga abantu bangi, n’ensi n’agigabanyaamu olw’amagoba.
40 At the end time, the king of the south will engage him, and the king of the north will storm against him with chariots, horsemen, and many ships. He will invade the lands, overflow, and pass through. “Mu biro eby’enkomerero kabaka w’obukiikaddyo alimulumba, naye kabaka w’obukiikakkono alifubutuka n’ajja okumusisinkana ng’alina amagaali n’abeebagala embalaasi, n’emmeeri nnyingi, era alirumba ensi nnyingi n’aziyitamu ng’embuyaga.
41 He enters the beautiful land; many fall, but Edom, Moab, and Ammon's chief sons escape his hand. Alirumba Ensi Ennungi n’awamba n’amawanga mangi, naye Edomu ne Mowaabu n’abakulembeze ba Amoni balimuwona.
42 He will stretch out his hand against the lands, and the land of Egypt will not escape. Okufuga kwe kulyeyongera mu mawanga mangi, ne Misiri nga mw’omutwalidde.
43 He will rule gold and silver treasures, and all Egypt's riches, with Libyans and Cushites at his heels. Alifuga amawanika aga zaabu ne ffeeza, n’eby’obugagga byonna ebya Misiri, n’afuula Abalibiya n’Abaesiyopiya okuba abaddu be.
44 But news from the east and north will terrify him, and he'll set out in great rage to destroy and annihilate many. Naye amawulire agaliva mu buvanjuba ne mu bukiikakkono galimukanga, olwo n’alyoka agolokoka mu busungu obungi ennyo okugenda okuzikiriza n’okumalawo bangi ku bo.
45 He will pitch his palace tents between the seas and the beautiful holy mountain, then come to his end with no helper. Alisimba eweema ze ez’olubiri wakati w’ennyanja n’olusozi olulungi era olutukuvu; era naye alikoma so tewaliba amuyamba.
FHB

Scripture from Father’s Heart Bible™. © 2026 Spirit Media Publishing, the imprint of Spirit Media Inc. All rights reserved. In Divine Voice™ Color, the words spoken by our Father show in blue, the words of the Son in red, and the words of the Spirit in purple.

OLCB

Biblica® Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya ekwatiddwa ku katambi™ Obwannannyini© 1984, 1986, 1993, 2014 bwa Biblica, Inc. Biblica® Open Luganda Contemporary Bible™ Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc. “Biblica” Linnya ery’obwannannyini eryawandiisibwa Biblica mu Amerika era nga balina n’ekkakkalabozo, Inc. Bwaweebwa olukusa okulikozesa. “Biblica” is a trademark registered in the United States Patent and Trademark Office by Biblica, Inc. Used with permission.
Biblica® Open Luganda Contemporary Bible 2014 · Creative Commons - Attribution-ShareAlike [CC BY-SA]