Skip to content
The Believer's Library

Biblica® Open Luganda Contemporary Bible 2014

Hebrews 7 OLCB

Show OLCB only
Verse × ×
1 This Melchizedek, king of Salem, priest of the Most High, our Father, met Abraham returning from defeating the kings and blessed him. Merukizeddeeki yali kabaka w’e Ssaalemi, era yali kabona wa Katonda Ali Waggulu Ennyo. Ibulayimu bwe yali ng’ava mu lutalo mwe yattira bakabaka, Merukizeddeeki n’amusisinkana, n’amusabira omukisa.
2 Abraham gave him a tenth of everything. His name means, first, king of righteousness, then also king of Salem—meaning king of peace. Ne Ibulayimu n’awa Merukizeddeeki ekitundu eky’ekkumi ekya byonna bye yanyaga. Okusooka erinnya Merukizeddeeki litegeeza nti Kabaka ow’Obutuukirivu. Ate era litegeeza kabaka w’e Ssaalemi ekitegeeza nti ye kabaka ow’emirembe.
3 Without father, without mother, without genealogy, no beginning of days or end of life, but like the Son of our Father, he remains a priest forever. Merukizeddeeki taliiko kitaawe oba nnyina. Ennaku ze teziriiko ntandikwa wadde enkomerero, era n’obulamu bwe tebukoma. Asigala kabona emirembe gyonna, ng’Omwana wa Katonda.
4 Consider how great this man was: Abraham the patriarch gave him a tenth of the plunder. Kale mulabe Merukizeddeeki oyo nga bwe yali omukulu! Ibulayimu jjajjaffe yamuwa ekimu eky’ekkumi ekya byonna bye yanyaga.
5 Those descendants of Levi who become priests are commanded by the law to collect the tenth from the people—their own brothers—though they too descend from Abraham. N’abo abazzukulu ba Leevi abaaweebwa obwakabona, balagirwa okusoloozanga ekimu eky’ekkumi ng’etteeka bwe ligamba, newaakubadde nga baava mu ntumbwe za Ibulayimu, kwe kugamba nti nabo baganda baabwe.
6 But he, though not descended from them, took a tenth from Abraham and blessed the one who held the promises. Naye oyo ataabalibwa mu kika kyabwe, yafuna ekimu eky’ekkumi okuva eri Ibulayimu, Merukizeddeeki n’asabira omukisa oyo eyalina ebyasuubizibwa.
7 It is beyond all dispute that the lesser is blessed by the greater. Tewali kubuusabuusa omukulu y’asabira omuto omukisa.
8 In one case, tithes are received by mortal men; in the other, by one testified to be alive. Mu ngeri emu, ekimu eky’ekkumi kiweebwa eri abantu abafa, naye mu ngeri endala, kiweebwa eri oyo akakasibwa nga mulamu.
9 One might even say Levi, who receives the tenth, paid it through Abraham, Noolwekyo ka tugambe nti okuyita mu Ibulayimu, ne Leevi aweebwa ekimu eky’ekkumi, naye yawaayo ekimu eky’ekkumi.
10 for he was still in his ancestor's body when Melchizedek met Abraham. Yali akyali mu ntumbwe za jjajjaawe, Merukizeddeeki bwe yamusisinkana.
11 If the Levitical priesthood brought perfection—the people received the law under it—why was another priest needed, one in Melchizedek's order, not called after Aaron's order? Kale singa okutuukirira kwaliwo lwa bwakabona obw’Ekileevi, kubanga abantu baaweebwa amateeka nga gasinzira ku bwo, kiki ekyetaaza kabona omulala okuva mu lubu lwa Merukizeddeeki, mu kifo ky’okuva mu lubu lwa Alooni?
12 For when the priesthood changes, the law must change as well. Kubanga bwe wabaawo okukyusibwa mu bwakababona, era kiba kyetaagisa n’okukyusa mu mateeka.
13 For he of whom these things are said belonged to another tribe, from which no one has ever served at the altar. Oyo ayogerwako ebigambo ebyo wa kika kirala omutaavanga muntu eyali aweerezaako ku Kyoto.
14 Clearly our Lord descended from Judah; Moses said nothing about priests from that tribe. Kubanga kimanyiddwa nga Mukama waffe yava mu Yuda ekika Musa ky’ataayogerako bigambo bya bwakabona.
15 And this becomes even more evident when another priest arises in the likeness of Melchizedek, Era kitegeerekeka nga wazeewo Kabona omulala mu kifaananyi kya Merukizeddeeki,
16 who has become a priest not by a law of physical descent but by the power of an indestructible life. atassibwawo ng’amateeka ag’ebiragiro eby’omubiri bwe gali, wabula ng’amaanyi bwe gali ag’obulamu obutaggwaawo.
17 For it is testified about him, "You are a priest forever, in the order of Melchizedek." Kubanga Kristo ayogerwako nti, “Oli kabona okutuusa emirembe gyonna ng’olubu lwa Merukizeddeeki bwe luli.”
18 On the one hand, a former commandment is set aside because of its weakness and uselessness. Ekiragiro ekyasooka kijjululwa olw’obunafu n’olw’obutagasa bwakyo,
19 The law perfected nothing; but a better hope is introduced, through which we draw near to our Father. kubanga amateeka tegaliiko kye gatuukiriza, wabula essubi erisinga obulungi, mwe tuyita okusemberera Katonda.
20 This was not without an oath, for the others became priests without an oath, Era kino tekyakolebwa watali kirayiro. Waliwo abaafuulibwa bakabona awatali kirayiro,
21 but he became a priest with an oath, by the one who said to him: "Our Father has sworn and will not change his mind, 'You are a priest forever.'" naye ye yafuulibwa kabona mu kirayiro, ng’ayita mu oyo amwogerako nti, “Mukama yalayira era tagenda kwejjusa: ‘Oli kabona emirembe gyonna.’ ”
22 To that same degree, Jesus has become the guarantor of a better covenant. Yesu kyeyava afuuka omuyima w’endagaano esinga obulungi.
23 The former priests were many, because death prevented them from continuing in office, Bangi abaafuulibwa bakabona kubanga baafanga ne basikirwa.
24 but he holds his priesthood permanently, because he continues forever. Naye olwokubanga Yesu abeerera emirembe gyonna, alina obwakabona obutakyukakyuka.
25 So he can fully save those who come to our Father through him, since he always lives to plead their case. Era kyava ayinza okulokolera ddala abajja eri Katonda ku bubwe, kubanga abeera mulamu ennaku zonna okubawolereza.
26 Such a high priest suited us: holy, blameless, unstained, separated from sinners, raised above the heavens. Noolwekyo Kabona Asinga Obukulu afaanana bw’atyo ye yatusaanira, omutukuvu, ataliiko musango, wadde ebbala, eyayawulibwa okuva ku abo abalina ebibi, era eyagulumizibwa okusinga eggulu,
27 Unlike those high priests, he doesn't need to offer sacrifices daily—first for his own sins, then for the people's—since he did this once for all, offering himself. ataliiko kye yeetaaga ekya buli lunaku, nga bakabona abakulu abalala, okusooka okuwangayo ssaddaaka olw’ebibi bye ye, n’oluvannyuma olw’ebyo eby’abantu abalala. Ekyo yakikola omulundi gumu, bwe yeewaayo yennyini.
28 The law appoints weak men as high priests, but the oath's word, coming after the law, appoints the Son, made perfect forever. Amateeka gaalondanga abantu okuba Bakabona Abasinga Obukulu n’obunafu bwabwe, naye ekigambo eky’ekirayiro, ekyaddirira amateeka, kironda Omwana eyatuukirira okutuusa emirembe gyonna.
FHB

Scripture from Father’s Heart Bible™. © 2026 Spirit Media Publishing, the imprint of Spirit Media Inc. All rights reserved. In Divine Voice™ Color, the words spoken by our Father show in blue, the words of the Son in red, and the words of the Spirit in purple.

OLCB

Biblica® Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya ekwatiddwa ku katambi™ Obwannannyini© 1984, 1986, 1993, 2014 bwa Biblica, Inc. Biblica® Open Luganda Contemporary Bible™ Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc. “Biblica” Linnya ery’obwannannyini eryawandiisibwa Biblica mu Amerika era nga balina n’ekkakkalabozo, Inc. Bwaweebwa olukusa okulikozesa. “Biblica” is a trademark registered in the United States Patent and Trademark Office by Biblica, Inc. Used with permission.
Biblica® Open Luganda Contemporary Bible 2014 · Creative Commons - Attribution-ShareAlike [CC BY-SA]