Skip to content
The Believer's Library

Biblica® Open Luganda Contemporary Bible 2014

Hebrews 8 OLCB

Show OLCB only
Verse × ×
1 The point of this: we have such a high priest, who sat down at the right hand of the throne of the Majesty in heaven. Ekigambo ekikulu ekiri mu bye twogedde kye kino nti, Tulina Kabona Asinga Obukulu, atudde ku mukono ogwa ddyo, ogw’entebe ya Katonda ey’obwakabaka mu ggulu,
2 A minister of the holy places and the true tabernacle, set up by the Father, not man. omuweereza w’ebitukuvu, era ow’eweema ey’Okukuŋŋaanirangamu ey’amazima, etaazimbibwa bantu wabula Mukama.
3 Every high priest is appointed to offer gifts and sacrifices; so this one too must have something to offer. Kubanga Kabona Asinga Obukulu yenna alondebwa olw’omulimu ogw’okuwaayo ebirabo ne ssaddaaka, bwe kityo n’oyo kyamugwanira okuba n’ekintu ky’awaayo.
4 If he were on earth, he wouldn't even be a priest, since others offer the gifts under the law. Singa yali ku nsi, teyandibadde kabona kubanga waliwo bakabona abawaayo ebirabo ng’amateeka bwe galagira.
5 They serve a copy and shadow of heavenly things, as Moses was warned when about to complete the tabernacle: "See," he said, "make everything according to the pattern shown you on the mountain." Kye bakola kifaananako bufaananyi era kisiikirize ky’ebyo ebikolebwa mu ggulu. Musa kyeyava alabulwa, bwe yali ng’anaatera okumaliriza weema, Mukama n’amugamba nti, “Bw’oba ng’ozimba, goberera entegeka yonna eyakulagirwa ku lusozi.”
6 But now Jesus has obtained a superior ministry, since the covenant he mediates is better, established on better promises. Naye kaakano omulimu Yesu gwe yaweebwa, gusinga nnyo ogwa bali obukulu, kubanga n’endagaano gy’alimu ng’omutabaganya y’esinga obulungi, n’ebisuubizo kw’enyweredde, bye bisinga obulungi.
7 For if that first covenant had been faultless, there would have been no need for a second. Singa endagaano eyasooka teyaliiko kyakunenyezebwa, tewandibaddewo kyetaagisa yaakubiri.
8 For finding fault with them, he says: "Look, the days are coming, declares our Father, when I will make a new covenant with the house of Israel and with the house of Judah. Kubanga bw’abanenya ayogera nti, “Laba ennaku zijja,” bw’ayogera Mukama, “ndiragaana endagaano empya n’ennyumba ya Isirayiri, awamu n’ennyumba ya Yuda.
9 Not like the covenant I made with their fathers on the day I took them by the hand to lead them out of the land of Egypt. For they did not remain in my covenant, and so I disregarded them, declares our Father. Endagaano eno empya terifaanana n’eri gye nalagaana ne bajjajjaabwe lwe nabakwata ku mukono okubaggya mu nsi y’e Misiri. Olw’okubanga tebaagoberera ndagaano yange, nange ssaabassaako mwoyo,” bw’ayogera Mukama.
10 For this is the covenant I will make with the house of Israel after those days, declares our Father I will put my laws into their minds and write them on their hearts, and I will be their Father, and they will be my children. “Eno y’endagaano gye ndiragaana n’ennyumba ya Isirayiri, oluvannyuma lw’ennaku ezo, bw’ayogera Mukama. Ndissa amateeka gange mu birowoozo byabwe era ndiwandiika amateeka gange ku mitima gyabwe, nange nnaabeeranga Katonda waabwe, nabo banaabeeranga bantu bange.
11 And no longer will each one teach his neighbor and each one his brother, saying, "Know our Father," for they will all know me, from the least of them to the greatest. Era tewaliba nate muntu ayigiriza munne oba muliraanwa we, oba muganda we ng’agamba nti, ‘Manya Mukama,’ Kubanga okuva ku muto okutuuka ku mukulu bonna balimmanya.
12 For I will be merciful toward their wrongdoing, and I will remember their sins no more." Era ndibasaasira, n’ebibi byabwe siribijjukira nate.”
13 Speaking of a new covenant, he has made the first outdated. What's outdated and aging is nearing its end. Katonda bw’ayogera ku ndagaano empya, olwo ng’andibizza ey’edda; n’eyo gy’adibizza n’okukaddiwa n’ekaddiwa, eriggwaawo.
FHB

Scripture from Father’s Heart Bible™. © 2026 Spirit Media Publishing, the imprint of Spirit Media Inc. All rights reserved. In Divine Voice™ Color, the words spoken by our Father show in blue, the words of the Son in red, and the words of the Spirit in purple.

OLCB

Biblica® Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya ekwatiddwa ku katambi™ Obwannannyini© 1984, 1986, 1993, 2014 bwa Biblica, Inc. Biblica® Open Luganda Contemporary Bible™ Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc. “Biblica” Linnya ery’obwannannyini eryawandiisibwa Biblica mu Amerika era nga balina n’ekkakkalabozo, Inc. Bwaweebwa olukusa okulikozesa. “Biblica” is a trademark registered in the United States Patent and Trademark Office by Biblica, Inc. Used with permission.
Biblica® Open Luganda Contemporary Bible 2014 · Creative Commons - Attribution-ShareAlike [CC BY-SA]