Skip to content
The Believer's Library

Biblica® Open Luganda Contemporary Bible 2014

Hebrews 3 OLCB

Show OLCB only
Verse × ×
1 So, holy brothers sharing a heavenly call, consider Jesus, the apostle and high priest we confess. Kale abooluganda abatukuvu, Katonda b’ayise, mulowoozenga ku Yesu, Omutume Omukulu era Kabona Asinga Obukulu, gwe twatula.
2 He was faithful to the one who appointed him, as Moses also was in all our Father's house. Yali mwesigwa eri oyo eyamulonda, era nga Musa bwe yali omwesigwa mu nnyumba ya Katonda yonna.
3 Jesus deserves far more glory than Moses, as a house's builder deserves more honor than the house itself. Kubanga ng’omuzimbi bw’aweebwa ekitiibwa okusinga ennyumba gy’azimbye, bw’atyo Yesu wa kitiibwa okusinga Musa.
4 For every house is built by someone, but the builder of all things is our Father. Kubanga buli nnyumba wabaawo agizimba, naye Katonda ye y’azimba buli kintu.
5 Moses was faithful in all our Father's house, a servant testifying to what would be spoken later. Musa yali muweereza mwesigwa mu nnyumba ya Katonda yonna, eyayogera eby’obunnabbi ku bintu ebyali bigenda okwogerwa mu biro eby’omu maaso.
6 But Christ, as son, is faithful over his house. And we are his house—if we hold firm the confidence and hope we boast in. Naye ate Kristo ye Mwana omwesigwa, akulira ennyumba ya Katonda; ate ffe tuli nnyumba y’oyo bwe tunywera ne tuba bavumu ne twenyumiririza mu ssuubi lye tunywezezza.
7 So, as the Holy Spirit says: "Today, if you hear his voice, Noolwekyo nga Mwoyo Mutukuvu bw’agamba nti, “Leero bwe munaawulira eddoboozi lye,
8 do not harden your hearts as you did in the rebellion, on the day of testing in the wilderness, temukakanyaza mitima gyammwe, nga bali bwe baajeema, ku lunaku lwe bagezesaako Katonda mu ddungu.
9 where your ancestors put me to the test and saw my works for forty years. Bajjajjammwe bangezesa, ne balaba bye nakola mu myaka amakumi ana.
10 That is why I was angry with that generation, and I said, 'Their hearts are always going astray, and they have not known my ways.' Kyennava nsunguwalira omulembe ogwo, ne njogera nti bulijjo baba bakyamu mu mitima gyabwe, era tebamanyi makubo gange.
11 So I swore in my anger, 'They will never enter my rest.'" Kyennava ndayira nga nsunguwadde nti, ‘Tebaliyingira mu kiwummulo kyange.’ ”
12 Brothers, watch that none of you has an evil, unbelieving heart that deserts the living Father. Mwekuume abooluganda, omutima omubi ogw’obutakkiriza gulemenga kuba mu muntu yenna ku mmwe, ne gubaggya ku Katonda omulamu.
13 But encourage each other daily, while it is called "today," so none of you becomes hardened by sin's deceit. Mubuuliraganenga mwekka na mwekka bulijjo ng’ekiseera kikyaliwo, waleme okubaawo n’omu ku mmwe akakanyazibwa obulimba bw’ekibi.
14 For we have become sharers in Christ, if we truly keep our first confidence firm to the end. Olw’okubanga tussa kimu mu Kristo, tunywereze ddala obwesige bwaffe bwe twatandika nabwo, era tubunywereze ddala okutuusa ku nkomerero.
15 As it is said: "Today, if you hear his voice, do not harden your hearts as when you rebelled." Kyogerwako nti, “Leero bwe munaawulira eddoboozi lye temukakanyaza mitima gyammwe nga bwe mwakola bwe mwajeema.”
16 Who heard and rebelled? Wasn't it all who left Egypt through Moses? Be baani abaawulira, naye ne bajeema? Si abo bonna abaava mu Misiri ne Musa?
17 With whom was he angry forty years? Was it not with those who sinned, whose bodies fell in the wilderness? Era baani be yanyiigira okumala emyaka amakumi ana? Si abo abaayonoona ne bafiira mu ddungu?
18 Who did he swear would never enter his rest, except those who disobeyed? Era baani abo Katonda be yalayirira obutayingira mu kiwummulo kye? Si abo abataagonda?
19 So we see they couldn't enter because of lack of faith. Era tulaba nga baalemwa okuyingira olw’obutakkiriza bwabwe.
FHB

Scripture from Father’s Heart Bible™. © 2026 Spirit Media Publishing, the imprint of Spirit Media Inc. All rights reserved. In Divine Voice™ Color, the words spoken by our Father show in blue, the words of the Son in red, and the words of the Spirit in purple.

OLCB

Biblica® Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya ekwatiddwa ku katambi™ Obwannannyini© 1984, 1986, 1993, 2014 bwa Biblica, Inc. Biblica® Open Luganda Contemporary Bible™ Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc. “Biblica” Linnya ery’obwannannyini eryawandiisibwa Biblica mu Amerika era nga balina n’ekkakkalabozo, Inc. Bwaweebwa olukusa okulikozesa. “Biblica” is a trademark registered in the United States Patent and Trademark Office by Biblica, Inc. Used with permission.
Biblica® Open Luganda Contemporary Bible 2014 · Creative Commons - Attribution-ShareAlike [CC BY-SA]