Skip to content
The Believer's Library

Biblica® Open Luganda Contemporary Bible 2014

Hebrews 4 OLCB

Show OLCB only
Verse × ×
1 Since the promise to enter his rest still stands, let us be careful that none of you seems to have missed it. Noolwekyo ng’ekisuubizo eky’okuyingira mu kiwummulo kye, bwe kikyaliwo, twerinde, omuntu yenna ku mmwe aleme kulabika nga takituuseemu.
2 We too had good news preached to us, as they did. But the message heard didn't benefit them, since they didn't combine it with faith, as those who listened did. Kubanga naffe tubuuliddwa Enjiri, nga nabo bwe baagibuulirwa. Kyokka baalema okukkiriza ekigambo kye baawulira, era tebaalina kye baagasibwa.
3 We who believed enter that rest, as he said: "In my wrath I swore, they will never enter my rest." Yet his works were finished since the foundation of the world. Kubanga ffe abakkiriza, ffe tuyinza okuyingira mu kiwummulo kye, nga bwe yayogera nti, “Kyennava ndayira nga nsunguwadde nti, ‘Tebaliyingira mu kiwummulo kyange.’ ” Omulimu gwe gwaggwa ku kutondebwa kw’ensi.
4 For somewhere he says of the seventh day: "And our Father rested on the seventh day from all his works." Kubanga waliwo w’ayogerera nti, “Katonda bwe yamala okukola emirimu gye gyonna n’awummulira ku lunaku olw’omusanvu.”
5 And again in the same passage he says, "They will never enter my rest." Ayongera n’agamba nti, “Tebaliyingira mu kiwummulo kyange.”
6 Since it remains that some enter it, and those first given the good news failed to enter through their disobedience, Kyaterekerwa abamu okuyingiramu, ate ng’abo abaasooka okubuulirwa Enjiri, tebaayingira olw’obujeemu.
7 so again he sets a day, "Today," speaking through David much later, as already said: "Today, if you hear his voice, do not harden your hearts." Katonda kyeyava ateekateeka nate olunaku, n’alutuuma leero, bwe yayogerera mu Dawudi, oluvannyuma lw’ekiseera ekiwanvu nti, “Leero bwe munaawulira eddoboozi lye, Temukakanyaza mitima gyammwe.
8 For if Joshua had given them rest, our Father would not have spoken later about another day. Kubanga singa Yoswa yabatwala mu kifo eky’okuwummula, Katonda teyandiyogedde ku lunaku olulala olw’okuwummula.”
9 So then, there remains a Sabbath rest for the people of our Father. Naye Katonda atusuubizza olunaku olwa Ssabbiiti lwe tuliwummula, newaakubadde nga terunnatuuka.
10 Whoever has entered our Father's rest has also rested from his works, as our Father did from his own. Kubanga oyo ayingira mu kiwummulo kya Katonda, awummula emirimu gye nga Katonda bwe yawummula ng’amaze emirimu gye.
11 So let's strive to enter that rest, so no one falls by the same pattern of disobedience. Noolwekyo tufubenga okuyingira mu kiwummulo ekyo, omuntu yenna alemenga kugoberera ekyokulabirako ekibi eky’abajeemu.
12 For the word of our Father is alive and active, sharper than any two-edged sword, piercing to divide soul and spirit, joints and marrow, discerning the heart's thoughts and intentions. Ekigambo kya Katonda kiramu era kikola. Kisala okusinga ekitala eky’obwogi obubiri, era kiyitamu ne kituukira ddala ku mmeeme n’omwoyo, n’ennyingo n’obusomyo, era kyawula ebirowoozo n’okufumiitiriza kw’omutima.
13 No creature is hidden from his sight; all lies naked and exposed to the eyes of the one we must answer to. Katonda amanyi ebintu byonna, so tewali kitonde na kimu ekikwekeddwa amaaso ge. Alaba buli kintu, era tulyogera mazima nga tumutegeeza buli kimu.
14 So since we have a great high priest who has passed through the heavens—Jesus, Son of our Father—let's hold firmly to the faith we profess. Noolwekyo nga bwe tulina Kabona Asinga Obukulu, eyagenda mu ggulu, ye Yesu, Omwana wa Katonda, tunyweze okukkiriza kwe twayatula.
15 We have no high priest unable to sympathize with our weaknesses, but one tested in every way as we are, yet without sin. Tulina Kabona Asinga Obukulu alumirwa awamu naffe mu bunafu bwaffe, eyakemebwa mu byonna nga ffe, kyokka n’atakola kibi kyonna.
16 Let us then approach the throne of grace boldly, so we may receive mercy and find grace to help us in time of need. Kale tusembererenga entebe ya Katonda ey’obwakabaka ey’ekisa n’obuvumu, tufune okusaasirwa n’ekisa tubeerwe mu kwetaaga kwaffe.
FHB

Scripture from Father’s Heart Bible™. © 2026 Spirit Media Publishing, the imprint of Spirit Media Inc. All rights reserved. In Divine Voice™ Color, the words spoken by our Father show in blue, the words of the Son in red, and the words of the Spirit in purple.

OLCB

Biblica® Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya ekwatiddwa ku katambi™ Obwannannyini© 1984, 1986, 1993, 2014 bwa Biblica, Inc. Biblica® Open Luganda Contemporary Bible™ Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc. “Biblica” Linnya ery’obwannannyini eryawandiisibwa Biblica mu Amerika era nga balina n’ekkakkalabozo, Inc. Bwaweebwa olukusa okulikozesa. “Biblica” is a trademark registered in the United States Patent and Trademark Office by Biblica, Inc. Used with permission.
Biblica® Open Luganda Contemporary Bible 2014 · Creative Commons - Attribution-ShareAlike [CC BY-SA]