Skip to content
The Believer's Library

Biblica® Open Luganda Contemporary Bible 2014

Hebrews 5 OLCB

Show OLCB only
Verse × ×
1 Every high priest taken from among men is appointed for men in matters relating to our Father, to offer gifts and sacrifices for sins. Buli Kabona Asinga Obukulu alondebwa mu bantu n’ateekebwawo okuweereza Katonda ku lwabwe, alyoke awengayo ebirabo n’essaddaaka olw’ebibi byabwe.
2 He can deal gently with the ignorant and straying, since he himself also is subject to weakness. Asobola okukwata empola abantu abatamanyi era n’abo abakyama, kubanga naye yennyini muntu eyeetooloddwa obunafu.
3 Because of this weakness, he must offer sacrifices for sins—for the people as much as for himself. Olw’obunafu obwo, kimugwanira okuwangayo ssaddaaka ku lulwe yennyini ne ku lw’abantu.
4 No one takes this honor for himself, but only when called by our Father, as Aaron was. Tewali muntu yenna ayinza okwefuula kabona wabula ng’ayitiddwa Katonda okukola omulimu, nga bwe yayita Alooni.
5 So also Christ did not glorify himself to become high priest, but the one who said to him: "You are my Son; today I have fathered you." Ne Kristo bw’atyo teyeegulumiza yekka, okufuuka Kabona Asinga Obukulu. Katonda yamwogerako nti, “Ggwe oli Mwana wange, leero nkuzadde ggwe.”
6 Just as he also says elsewhere, "You are a priest forever, after the order of Melchizedek." Era n’awalala agamba nti, “Ggwe walondebwa okuba Kabona emirembe n’emirembe, ng’olubu lwa Merukizeddeeki bwe luli.”
7 During his earthly life, Jesus offered prayers and pleas—with loud cries and tears—to the one able to save him from death, and was heard for his godly fear. Mu kiseera Yesu kye yabeerera ku nsi mu mubiri ogw’obuntu, yasaba ne yeegayirira oyo ayinza okumulokola mu kufa nga bw’akaaba amaziga mu ddoboozi ery’omwanguka. Yesu yasinza Katonda mu mazima, Katonda n’awulira okusaba kwe.
8 Although he was a Son, he learned obedience from what he suffered. Newaakubadde yali Mwana wa Katonda, yayiga okumugondera ne bwe kwamutuusanga mu kubonaabona.
9 And having been made perfect, he became the source of eternal salvation to all who obey him, Era bwe yamala okutuukirizibwa, n’afuuka obulokozi obutaggwaawo eri abo bonna abagondera Katonda.
10 having been appointed by our Father as a high priest after the order of Melchizedek. Katonda yamuyita okuba Kabona Asinga Obukulu ng’olubu lwa Merukizeddeeki bwe luli.
11 We have much to say about this, hard to explain, since your hearing has grown dull. Waliwo bingi bye twandiyagadde okumwogerako, naye ate nga kizibu okubinyonnyola, kubanga temuyiga mangu.
12 For though you should be teachers by now, you need someone to teach you the basics of our Father's word again. You've come to need milk, not solid food. Newaakubadde nga kaakano mwandibadde musobola okuyigiriza abalala, kyetaaga okuddamu okubayigiriza, ebintu ebya bulijjo eby’amazima ebikwata ku kigambo kya Katonda. Mwetaaga mata so si mmere enkalubo ey’abakulu.
13 Everyone living on milk lacks skill in the word of righteousness, since he's an infant. Kubanga omuntu bw’aba ng’akyanywa mata, aba akyali mwana muto. Aba tannategeera kigambo kikwata ku by’obutuukirivu.
14 But solid food is for the mature, whose senses are trained by practice to distinguish good from evil. Naye emmere enkalubo ya bakulu, abeeyigirizza okwawulanga ekirungi n’ekibi.
FHB

Scripture from Father’s Heart Bible™. © 2026 Spirit Media Publishing, the imprint of Spirit Media Inc. All rights reserved. In Divine Voice™ Color, the words spoken by our Father show in blue, the words of the Son in red, and the words of the Spirit in purple.

OLCB

Biblica® Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya ekwatiddwa ku katambi™ Obwannannyini© 1984, 1986, 1993, 2014 bwa Biblica, Inc. Biblica® Open Luganda Contemporary Bible™ Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc. “Biblica” Linnya ery’obwannannyini eryawandiisibwa Biblica mu Amerika era nga balina n’ekkakkalabozo, Inc. Bwaweebwa olukusa okulikozesa. “Biblica” is a trademark registered in the United States Patent and Trademark Office by Biblica, Inc. Used with permission.
Biblica® Open Luganda Contemporary Bible 2014 · Creative Commons - Attribution-ShareAlike [CC BY-SA]