Skip to content
The Believer's Library

Biblica® Open Luganda Contemporary Bible 2014

Hebrews 2 OLCB

Show OLCB only
Verse × ×
1 So we must pay closer attention to what we've heard, or we may drift away. Kyekivudde kitusaanira okussaayo ennyo omwoyo ku bintu bye twawulira, si kulwa nga tuwaba ne tubivaako.
2 For if the word spoken through angels held firm, and every wrongdoing and disobedience got just payment, Obanga ekigambo ekyayogerwa bamalayika kyakola, na buli eyayonoona era n’ajeemera ekigambo ekyo, yaweebwa ekibonerezo ekimusaanira,
3 how will we escape if we neglect so great a salvation? First announced by the Lord, it was confirmed to us by those who heard him, ffe tuliwona tutya bwe tuliragajjalira obulokozi obukulu obwenkana awo? Obulokozi obwo bwasooka okwogerwa Mukama waffe, ne bulyoka bukakasibwa abo abaabuwulira.
4 while our Father also testified with them through signs, wonders, various miracles, and distributions of the Holy Spirit, according to his will. Katonda yakikakasiza mu bubonero ne mu by’ekitalo ne mu byamagero abitali bimu, era ne mu birabo ebya Mwoyo Mutukuvu bye yagaba nga bwe yayagala.
5 For it was not to angels that our Father subjected the coming world we're speaking of. Ensi empya gye twogerako si yakufugibwa bamalayika.
6 Someone has testified somewhere, "What is man, that you are mindful of him, or the son of man, that you care for him? Waliwo mu byawandiikibwa, omuntu we yagambira Katonda nti, “Omuntu kye ki ggwe okumujjukira? Oba Omwana w’Omuntu ye ani ggwe okumussaako omwoyo?
7 You made him for a little while lower than the angels; you crowned him with glory and honor, Wamussa obuteenkana nga bamalayika, okumala akaseera katono, wamutikkira engule ey’ekitiibwa n’ettendo,
8 putting everything in subjection under his feet." Now in subjecting everything to him, our Father left nothing outside his control. At present, however, we do not yet see everything subjected to Christ. n’oteeka ebintu byonna wansi w’ebigere bye.” Katonda atadde buli kintu wansi we. Kyokka kaakano tetulaba bintu byonna nga biteekeddwa wansi we.
9 But we see Jesus, made lower than the angels for a little while, now crowned with glory and honor because he suffered death, so that by our Father's grace he might taste death for everyone. Naye tulaba Yesu eyassibwa wansi wa bamalayika okumala akaseera akatono. Olw’ekisa kya Katonda, yabonaabona n’afa, alyoke alege ku kufa ku lwa buli muntu, n’atikkirwa engule ey’ekitiibwa n’ettendo.
10 It was fitting that our Father, for whom and through whom all things exist, should perfect the pioneer of their salvation through suffering, bringing many sons to glory. Katonda oyo eyatonderwa ebintu byonna, era mu oyo Yesu Kristo ebintu byonna mwe byatonderwa, eyalondebwa okuleeta abaana abangi mu kitiibwa. Era kyasaanira Yesu okubonyaabonyezebwa, ng’omukulembeze omutuukirivu, okubaleetera obulokozi.
11 The one who makes holy and those made holy all come from one Father. That's why he isn't ashamed to call them brothers and sisters, Oyo atukuza era n’abo abatukuzibwa bava mu omu bonna. Noolwekyo takwatibwa nsonyi kubayita baganda be.
12 saying, "I will proclaim your name to my brothers and sisters; I will sing your praise amid the assembly." Agamba nti, “Nditegeeza baganda bange erinnya lyo, era nnaakuyimbiranga ennyimba wakati mu kkuŋŋaaniro.”
13 And again, "I will trust in him." And again, "Here am I, and the children our Father gave me." Era awalala agamba nti, “Nze nnaamwesiganga oyo.” Ate ne yeeyongera n’agamba nti, “Laba nze n’abaana Katonda be yampa.”
14 Since the children share flesh and blood, he too shared them, so that through death he might destroy the one holding the power of death—the devil, Olw’okubanga abaana balina omubiri n’omusaayi, naye yalina omubiri n’omusaayi, alyoke azikirize oyo alina amaanyi ag’okufa, ye Setaani.
15 and free all those who, through fear of death, were enslaved their whole lives. Yakikola alyoke awe eddembe abo bonna abaali bamaze obulamu bwabwe bwonna mu buddu olw’entiisa y’okufa.
16 For surely it is not angels he helps, but the descendants of Abraham. Kubanga eky’amazima kiri nti tayamba bamalayika, ayamba zzadde lya Ibulayimu.
17 So he had to become like his brothers and sisters in every way, to be a merciful and faithful high priest serving our Father, clearing away the people's sins. Kyekyava kimugwanira mu byonna okufaananyizibwa baganda be, alyoke abeerenga Kabona Asinga Obukulu asaasira era omwesigwa mu kuweereza Katonda. Ekyo yakikola alyoke atangirire ebibi by’abantu.
18 Since he himself suffered when tempted, he can help those being tempted. Yabonaabona, ye yennyini ng’akemebwa, alyoke ayambe abo abakemebwa.
FHB

Scripture from Father’s Heart Bible™. © 2026 Spirit Media Publishing, the imprint of Spirit Media Inc. All rights reserved. In Divine Voice™ Color, the words spoken by our Father show in blue, the words of the Son in red, and the words of the Spirit in purple.

OLCB

Biblica® Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya ekwatiddwa ku katambi™ Obwannannyini© 1984, 1986, 1993, 2014 bwa Biblica, Inc. Biblica® Open Luganda Contemporary Bible™ Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc. “Biblica” Linnya ery’obwannannyini eryawandiisibwa Biblica mu Amerika era nga balina n’ekkakkalabozo, Inc. Bwaweebwa olukusa okulikozesa. “Biblica” is a trademark registered in the United States Patent and Trademark Office by Biblica, Inc. Used with permission.
Biblica® Open Luganda Contemporary Bible 2014 · Creative Commons - Attribution-ShareAlike [CC BY-SA]