Skip to content
The Believer's Library

Biblica® Open Luganda Contemporary Bible 2014

Hebrews 1 OLCB

Show OLCB only
Verse × ×
1 Long ago, in many times and many ways, our Heavenly Father spoke to our ancestors through the prophets. Edda, Katonda yayogeranga ne bajjajjaffe mu ngeri nnyingi ez’enjawulo ng’ayita mu bannabbi;
2 But in these final days he spoke to us by his Son, whom he appointed heir of all things and through whom he made the universe. naye mu nnaku zino ez’oluvannyuma yayogera naffe ng’ayita mu Mwana, gwe yalonda okuba omusika wa byonna, era mu oyo mwe yatondera ensi n’ebintu byonna ebirimu.
3 The Son is the brightness of our Father's glory, the exact image of his being, sustaining all things by his powerful word. After purifying sins, he sat down at the right hand of the Majesty on high. Amasamasa n’ekitiibwa kya Katonda, era ky’ekifaananyi kye ddala bw’ali, era abeezaawo buli kintu olw’ekigambo kye eky’amaanyi. Bwe yamala okukola ekikolwa eky’okututukuza okuva mu bibi, n’atuula ku mukono ogwa ddyo ogwa Katonda mu Bwakabaka obw’omu ggulu.
4 He became as much greater than angels as his inherited name is greater than theirs. Bw’atyo n’asinga bamalayika, nga kyeragira ku linnya lye okuba ery’ekitiibwa okusinga amannya gaabwe.
5 For to which of the angels did our Father ever say, "You are my Son; today I have become your Father"? Or again, "I will be his Father, and he will be my Son"? Kubanga ani ku bamalayika gwe yali ayogeddeko nti, “Ggwe oli Mwana wange, Leero nkuzadde?” Era nate nti, “Nze nnaabeeranga Kitaawe gy’ali naye anaabeeranga Mwana wange gye ndi?”
6 And again, when he brings the firstborn into the world, he says, "Let all my angels worship him. Era nate bw’aleeta Omwana we omubereberye mu nsi, agamba nti, “Bamalayika ba Katonda bonna bamusinzenga.”
7 Of the angels he says, "He makes his angels winds, and his servants flames of fire." Era ayogera ku bamalayika nti, “Afuula bamalayika be ng’empewo, n’afuula n’abaweereza be ng’ennimi z’omuliro.”
8 But about the Son he says, "Your throne, O God, is forever and ever, and the scepter of righteousness is the scepter of your kingdom. Naye ku Mwana ayogera nti, “Entebe yo ey’Obwakabaka, Ayi Katonda, ya lubeerera emirembe n’emirembe; obutuukirivu, gwe muggo ogw’obwakabaka bwo.
9 You have loved righteousness and hated wickedness; therefore our Father, your Father, has anointed you with the oil of gladness above your companions." Wayagala obutuukirivu n’okyawa obujeemu. Katonda, era Katonda wo kyeyava akufukako amafuta ag’omuzeeyituuni agaleeta essanyu okusinga banno.”
10 And, "In the beginning, Lord, you laid the foundations of the earth, and the heavens are the work of your hands. Ayongera n’agamba nti, “Mukama ku lubereberye wassaawo omusingi gw’ensi, era n’eggulu mirimu gwa mukono gwo.
11 They will perish, but you remain; they will all wear out like a garment. Ebyo biriggwaawo, naye ggwe olibeerera emirembe gyonna, era byonna birikaddiwa ng’ekyambalo bwe kikaddiwa.
12 You will roll them up like a robe; like a garment they will be changed. But you are the same, and your years will never end." Era olibizingako ng’ekooti bwe zingibwako, era birikyusibwa ng’ekyambalo bwe kikyusibwa. Naye ggwe oba bumu, so n’emyaka gyo tegirikoma.”
13 But to which of the angels did our Father ever say, "Sit at my right hand until I make your enemies a footstool for your feet"?" Ani ku bamalayika gwe yali agambye nti, “Tuula wano ku mukono gwange ogwa ddyo, okutuusa lwe ndifufuggaza abalabe bo, ne bafuuka entebe y’ebigere byo”?
14 Aren't all angels ministering spirits, sent to serve those about to inherit salvation? Bamalayika bonna, myoyo egitumibwa okuweereza abo abagenda okusikira obulokozi.
FHB

Scripture from Father’s Heart Bible™. © 2026 Spirit Media Publishing, the imprint of Spirit Media Inc. All rights reserved. In Divine Voice™ Color, the words spoken by our Father show in blue, the words of the Son in red, and the words of the Spirit in purple.

OLCB

Biblica® Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya ekwatiddwa ku katambi™ Obwannannyini© 1984, 1986, 1993, 2014 bwa Biblica, Inc. Biblica® Open Luganda Contemporary Bible™ Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc. “Biblica” Linnya ery’obwannannyini eryawandiisibwa Biblica mu Amerika era nga balina n’ekkakkalabozo, Inc. Bwaweebwa olukusa okulikozesa. “Biblica” is a trademark registered in the United States Patent and Trademark Office by Biblica, Inc. Used with permission.
Biblica® Open Luganda Contemporary Bible 2014 · Creative Commons - Attribution-ShareAlike [CC BY-SA]