Skip to content
The Believer's Library

Biblica® Open Luganda Contemporary Bible 2014

Philemon 1 OLCB

Show OLCB only
Verse × ×
1 Paul, a prisoner of Christ Jesus, and Timothy our brother, to Philemon, our dear friend and co-worker, Pawulo, omusibe wa Kristo Yesu, n’owooluganda Timoseewo, tuwandiikira ggwe Firemooni, mukozi munnaffe omwagalwa,
2 and to our sister Apphia, our fellow soldier Archippus, and the church that meets in your house: ne Apofiya mwannyinaffe, ne Alukipo mulwanyi munnaffe, n’Ekkanisa yonna ekuŋŋaanira mu nnyumba yo.
3 Grace and peace to you from our Father and the Lord Jesus Christ. Ekisa n’emirembe ebiva eri Katonda Kitaffe ne Mukama waffe Yesu Kristo bibeerenga nammwe.
4 I always thank my Father as I remember you in my prayers, Bulijjo bwe mba nga nkusabira neebaza Katonda,
5 because I hear of your love and faith in the Lord Jesus and for all his holy people. kubanga buli kiseera mpulira nga bw’olina okwagala n’okukkiriza eri Mukama waffe Yesu n’eri abatukuvu bonna.
6 I pray your shared faith becomes effective as you come to understand every good thing we have in Christ. Nsaba nti nga bw’ogenda otegeeza abantu okukkiriza kwo, nabo kubanyweze mu bulamu bwabwe, nga bategeerera ddala ebirungi byonna ebiri mu ffe ku bwa Kristo.
7 Your love has brought me great joy and comfort, brother, since you've refreshed the hearts of his holy people. Nsanyuka nnyo era ne nziramu amaanyi olw’okwagala kwo, kubanga emitima gy’abatukuvu giziddwa buggya ku lulwo owooluganda.
8 Therefore, although in Christ I am bold enough to command you to do what is right, Noolwekyo newaakubadde era, nga nnina obuvumu mu Kristo, nga nandisobodde okukulagira okukola ekyo ky’osaanira okukola,
9 instead, for love's sake I appeal—I, Paul, an old man, now also a prisoner of Christ Jesus. naye okwagala kwange gy’oli kumpaliriza okukusaba obusabi, nze, Pawulo, kaakano akaddiye, era ali mu kkomera olwa Kristo Yesu;
10 I appeal to you for my child Onesimus, whose father I became while I was in chains. nkwegayirira ku bikwata ku mwana wange Onesimo gwe nayamba okukkiriza Mukama waffe nga ndi mu njegere, mu busibe,
11 He was once useless to you, but now is useful to you and me. Onesimo oyo, gye buvuddeko ataali wa mugaso gy’oli, naye kaakano nga wa mugaso nnyo gye tuli ffembi,
12 I am sending him back to you—and in doing so I am sending my very heart. gwe naaweereza gy’oli nga n’omutima gwange gujjirako,
13 I wanted to keep him with me, to serve me on your behalf while I'm in chains for the gospel. oyo gwe nandyagadde okwesigaliza, ampeereze nga ndi mu busibe olw’enjiri, mu kifo kyo mwe wandibadde onnyambira,
14 But I wanted to do nothing without your consent, so your good deed would not be forced, but voluntary. naye ne saagala kukikola nga tonzikirizza. Saagala okole eky’ekisa olwokubanga oteekwa, wabula kikole lwa kweyagalira.
15 Perhaps this is why he was separated from you briefly, so you'd have him back forever. Kiyinzika okuba nga Onesimo yakwawukanako okumala akaseera, oluvannyuma alyoke abeere naawe ebbanga lyonna,
16 No longer as a slave, but more than a slave—a beloved brother, especially to me, but even more to you, both in the flesh and in the Lord. nga takyali muddu buddu, naye ng’asingako awo, ng’afuuse owooluganda omwagalwa ennyo, na ddala gye ndi. Kaakano ajja kubeera wa mugaso nnyo gy’oli mu mubiri ne mu Mukama waffe.
17 So if you consider me a partner, welcome him as you would welcome me. Obanga ddala ndi munno, mwanirize mu ngeri y’emu nga bwe wandinnyanirizza singa nze mbadde nzize.
18 If he wronged you at all, or owes anything, put it on my account. Obanga waliwo ekintu ekibi kye yakukola, oba ekintu ky’omubanja, kimbalirweko.
19 I, Paul, write this with my own hand: I'll repay it—not to mention you owe me yourself as well. Kino nkiwandiika mu mukono gwange nze, Pawulo, nti ndikusasula. Sijja kukugamba nti olina ebbanja lyange.
20 Yes, brother, do me this favor in the Lord—refresh my heart in Christ. Munnange owooluganda, nkolera ekikolwa kino ekiraga okwagala, omutima gwange guddemu amaanyi mu Kristo.
21 Trusting you'll obey, I write to you, knowing you'll do even more than I ask. Nkuwandiikidde ebbaluwa eno nga neesigira ddala nga kye nkusaba ojja kukikola n’okusingawo!
22 Also prepare a guest room for me—I hope through your prayers to be graciously given back to you. Nninayo n’ekirala kye nkusaba; nkusaba ontegekere we ndisula, kubanga nnina essuubi, nga Katonda okusaba kwammwe ajja kukuddamu anzikirize nkomewo gye muli.
23 Epaphras, my fellow prisoner in Christ Jesus, sends you greetings, Epafula, musibe munnange olw’okubuulira Enjiri ya Kristo Yesu, abalamusizza.
24 and so do Mark, Aristarchus, Demas, and Luke, my fellow workers. Ne bakozi bannange bano: Makko, ne Alisutaluuko, ne Dema, ne Lukka nabo babalamusizza.
25 The grace of the Lord Jesus Christ be with your spirit. Amen. Ekisa kya Mukama waffe Yesu Kristo kibeerenga n’omwoyo gwammwe.
FHB

Scripture from Father’s Heart Bible™. © 2026 Spirit Media Publishing, the imprint of Spirit Media Inc. All rights reserved. In Divine Voice™ Color, the words spoken by our Father show in blue, the words of the Son in red, and the words of the Spirit in purple.

OLCB

Biblica® Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya ekwatiddwa ku katambi™ Obwannannyini© 1984, 1986, 1993, 2014 bwa Biblica, Inc. Biblica® Open Luganda Contemporary Bible™ Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc. “Biblica” Linnya ery’obwannannyini eryawandiisibwa Biblica mu Amerika era nga balina n’ekkakkalabozo, Inc. Bwaweebwa olukusa okulikozesa. “Biblica” is a trademark registered in the United States Patent and Trademark Office by Biblica, Inc. Used with permission.
Biblica® Open Luganda Contemporary Bible 2014 · Creative Commons - Attribution-ShareAlike [CC BY-SA]