Skip to content
The Believer's Library

Biblica® Open Luganda Contemporary Bible 2014

Titus 3 OLCB

Show OLCB only
Verse × ×
1 Remind them to submit to rulers and authorities, obey, and be ready for every good work, Ebintu ebyo bijjukizenga abafuzi n’ab’obuyinza, babiwulirenga, era babigonderenga, era babenga beetegefu okukola buli mulimu omulungi.
2 to slander no one, avoid quarreling, be gentle, and show complete consideration to everyone. Bakuutire baleme kwogerebwako bubi, era beewalenga okuyomba, babenga bakkakkamu era babeerenga bawombeefu eri abantu bonna.
3 We too were once foolish, disobedient, deceived, enslaved to various desires and pleasures, living in malice and envy, hated, hating one another. Kubanga naffe ffennyini twali basirusiru era abajeemu, nga tuwabye, era nga tufugibwa okwegomba kwaffe okubi, n’amasanyu aga buli ngeri, nga tuli ba ttima era ab’obuggya, nga tukyayibwa era nga tukyawagana.
4 But when the goodness and loving kindness of our Father, our Savior, appeared, Naye ekisa kya Katonda Omulokozi waffe n’okwagala kwe bwe byalabika,
5 he saved us—not for righteous deeds we did, but by his mercy, through washing of new birth and renewal by the Holy Spirit, n’atulokola, si lwa bikolwa eby’omu butuukirivu bye twakola, wabula olw’okusaasira kwe mu kunaazibwa okw’okuzaalibwa okw’omulundi ogwokubiri n’okufuulibwa abaggya olwa Mwoyo Mutukuvu,
6 whom he poured out on us richly through Jesus Christ our Savior, gwe yatuyiwako mu bungi ku lwa Yesu Kristo Omulokozi waffe.
7 so that, justified by his grace, we might become heirs in the hope of eternal life. Bwe tulimala okutukuzibwa olw’ekisa kye, tulyoke tufune omugabo mu kusuubira obulamu obutaggwaawo.
8 This word is trustworthy: I want you to insist on these things, so that those who trust our Father take care to devote themselves to good works. These things are good and helpful to everyone. Ekigambo ekyo kyesigwa, era nkukuutira ebyo obinywezenga abakkiriza Katonda bajjukirenga okukola ebikolwa ebirungi; ebintu ebyo birungi era bigasa abantu.
9 But avoid foolish controversies, genealogies, disputes, and quarrels about the law, for they are useless and worthless. Naye weewalenga empaka ez’obusirusiru, n’okukaayana ku nkalala eziraga obuzaale bw’abantu, n’ennyombo, n’entalo ebikwata ku mateeka; kubanga tebiriiko kye bigasa era tebiriimu nsa.
10 Warn a divisive person once, then a second time; after that, have nothing more to do with him, Omuntu ayawulayawula mu bantu bw’omalanga okumulabula omulundi ogusooka, era n’ogwokubiri, omwewalanga,
11 knowing that such a person is warped and sinful; he stands self-condemned. kubanga omuntu ng’oyo aba amaze okukyamizibwa mu kibi, era nga yeesalira yekka omusango.
12 When I send Artemas or Tychicus to you, do your best to come to me at Nicopolis, since I've decided to winter there. Bwe nkutumiranga Atema oba Tukiko, oyanguwanga okujja gye ndi mu Nikopoli, kubanga nsazeewo okubeera eyo mu biseera eby’obutiti.
13 Quickly send Zenas the lawyer and Apollos on their way; see they lack nothing. Fuba okusibirira Zeena munnamateeka ne Apolo obatume babe nga tebaliiko kye beetaaga.
14 Let our people also learn to devote themselves to good works, meeting urgent needs, and not be unproductive. Era kubiriza abantu baffe bayige okukolanga emirimu omuva ebyetaagibwa, balemenga kubeera awo nga tebaliiko kye bagasa.
15 All those with me greet you. Greet those who love us in faith. Grace be with all of you. Bonna abali nange bakulamusizza. Olamuse abo bonna abatwagala mu kukkiriza. Ekisa kibeerenga nammwe mwenna.
FHB

Scripture from Father’s Heart Bible™. © 2026 Spirit Media Publishing, the imprint of Spirit Media Inc. All rights reserved. In Divine Voice™ Color, the words spoken by our Father show in blue, the words of the Son in red, and the words of the Spirit in purple.

OLCB

Biblica® Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya ekwatiddwa ku katambi™ Obwannannyini© 1984, 1986, 1993, 2014 bwa Biblica, Inc. Biblica® Open Luganda Contemporary Bible™ Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc. “Biblica” Linnya ery’obwannannyini eryawandiisibwa Biblica mu Amerika era nga balina n’ekkakkalabozo, Inc. Bwaweebwa olukusa okulikozesa. “Biblica” is a trademark registered in the United States Patent and Trademark Office by Biblica, Inc. Used with permission.
Biblica® Open Luganda Contemporary Bible 2014 · Creative Commons - Attribution-ShareAlike [CC BY-SA]