Skip to content
The Believer's Library

Biblica® Open Luganda Contemporary Bible 2014

Titus 2 OLCB

Show OLCB only
Verse × ×
1 But as for you, speak what is fitting for sound teaching. Naye ggwe yogeranga ebyo ebitayawukana na njigiriza entuufu.
2 Older men are to be sober-minded, dignified, self-controlled, sound in faith, love, and patient endurance. Kubirizanga abasajja abakulu babe bateefu, abassibwamu ekitiibwa, abeegendereza, abajjudde okukkiriza, okwagala n’okugumiikiriza.
3 Older women likewise: deeply respectful in behavior, not slanderers, not enslaved to much wine, but teachers of what is good, Abakazi abakulu nabo bakubirize bw’otyo babe n’empisa ezisaanira abantu ba Katonda, nga tebawaayiriza, era nga tebatamiira, wabula nga bayigiriza ebirungi,
4 so that they may train the young women to love their husbands and to love their children, balyoke basobole okugunjula abakazi abato okwagalanga ba bbaabwe awamu n’abaana baabwe.
5 self-controlled, pure, working at home, good, submissive to their own husbands, so our Father's word isn't insulted. Era babenga beegendereza, era abalongoofu, era abakola obulungi emirimu mu maka gaabwe, era abawulize eri ba bbaabwe, ekigambo kya Katonda kiremenga okuvvoolebwa.
6 Likewise urge the younger men to be self-controlled. N’abavubuka bakubirizenga babe beegendereza,
7 In everything be an example of good works, with integrity and dignity in your teaching, mu bintu byonna, ng’obeera ekyokulabirako ekirungi mu byonna by’okola, ng’oli mwesimbu era assaayo omwoyo mu kuyigiriza kwo.
8 healthy words beyond criticism, so any opponent is ashamed, with nothing bad to say about us. Buli ky’oyogera kiteekwa okuba nga tekiriiko kya kunenyezebwa, oyo awakanya alyoke aswale, nga talina kibi kya kukwogerako.
9 Slaves must submit to their own masters in everything, pleasing them, not talking back, Era kubirizanga abaddu bawulirenga bakama baabwe era babagonderenga mu byonna, nga tebabawakanya,
10 not stealing, but showing complete, good faithfulness, so they adorn, in everything, the teaching of our Father, our Savior. wadde okubabbangako ebyabwe. Wabula babenga beesigwa ddala mu byonna, nga beeyisa bulungi, abantu balyoke bayaayaanire okuyigiriza kwa Katonda Omulokozi waffe mu buli ngeri yonna.
11 For the grace of our Father has appeared, bringing salvation to all people, Kubanga ekisa kya Katonda ekireetera abantu bonna obulokozi kirabise,
12 teaching us to reject wickedness and worldly desires, and live self-controlled, upright, and godly lives in this present age, era kituyigiriza tuleke obutatya Katonda, n’okwegomba kw’ensi, tulyoke tube beegendereza, abatuukirivu abatya Katonda nga tuli mu mulembe gwa kaakano;
13 waiting for the blessed hope and glorious appearing of our great God and Savior, Jesus Christ, nga tulindirira olunaku lwe tusuubira, n’okulabika kw’ekitiibwa kya Katonda omukulu era Omulokozi waffe Yesu Kristo;
14 who gave himself for us to redeem us from all lawlessness and purify for himself a people of his own, eager for good works. eyeewaayo ku lwaffe, alyoke atununule mu bujeemu bwaffe bwonna, era yeerongooseza eggwanga ery’envuma, erinyiikirira ebikolwa ebirungi.
15 Declare these things; encourage and rebuke with all authority. Let no one disregard you. Ebyo by’obanga oyigiriza abantu. Buuliriranga era nenyanga n’obuyinza bwonna. Omuntu yenna takunyoomanga.
FHB

Scripture from Father’s Heart Bible™. © 2026 Spirit Media Publishing, the imprint of Spirit Media Inc. All rights reserved. In Divine Voice™ Color, the words spoken by our Father show in blue, the words of the Son in red, and the words of the Spirit in purple.

OLCB

Biblica® Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya ekwatiddwa ku katambi™ Obwannannyini© 1984, 1986, 1993, 2014 bwa Biblica, Inc. Biblica® Open Luganda Contemporary Bible™ Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc. “Biblica” Linnya ery’obwannannyini eryawandiisibwa Biblica mu Amerika era nga balina n’ekkakkalabozo, Inc. Bwaweebwa olukusa okulikozesa. “Biblica” is a trademark registered in the United States Patent and Trademark Office by Biblica, Inc. Used with permission.
Biblica® Open Luganda Contemporary Bible 2014 · Creative Commons - Attribution-ShareAlike [CC BY-SA]