Skip to content
The Believer's Library

Biblica® Open Luganda Contemporary Bible 2014

Titus 1 OLCB

Show OLCB only
Verse × ×
1 Paul, servant of our Father and apostle of Jesus Christ, for the faith of our Father's chosen ones and knowledge of truth leading to devotion to God, Pawulo omuweereza wa Katonda, era omutume wa Yesu Kristo ng’okukkiriza kw’abalonde ba Katonda bwe kuli n’okutegeera amazima agali mu kutya Katonda,
2 in the hope of eternal life, which our Father, who never lies, promised before the ages began, ebyesigamye ku kusuubira okw’obulamu obutaggwaawo, Katonda ow’amazima kwe yasuubiza ng’ebiro eby’emirembe n’emirembe tebinnabaawo,
3 and at his own time he revealed his word through the message entrusted to me by command of our Father, our Savior. naye mu ntuuko zaabyo, yayolesa ekigambo kye mu kubuulira Enjiri, kwe nateresebwa ng’ekiragiro kya Katonda Omulokozi waffe bwe kiri,
4 To Titus, my true child in shared faith: grace and peace from our Father and Christ Jesus our Savior. eri Tito omwana wange ddala ng’okukkiriza kwaffe ffenna okwa awamu bwe kuli, n’ekisa n’emirembe ebiva eri Katonda Kitaffe ne Kristo Yesu omulokozi waffe.
5 I left you in Crete for this reason: to finish what remained and appoint elders in every town, as I instructed you. Kyennava nkuleka mu Kuleete, olyoke otereeze ebyo ebyetaaga okutereeza, era otekewo n’abakadde b’ekkanisa mu buli kibuga, nga bwe nakulagira.
6 An elder must be blameless, husband of one wife, with faithful children not accused of wild living or rebellion. Omuntu ateekwa okuba nga taliiko kya kunenyezebwa, nga musajja alina omukazi omu, era nga n’abaana baabwe bakkiriza, nga tebalina kibi kiyinza kuboogerwako era nga tebeenyigira mu bikolwa bya buseegu oba mu bujeemu.
7 For an overseer, as our Father's steward, must be blameless—not arrogant, not quick-tempered, not a drunkard, not violent, not greedy for dishonest gain, Omulabirizi kimugwanira okuba nga taliiko kya kunenyezebwa ng’omuwanika wa Katonda, nga si mukakanyavu, nga si wa busungu, nga si mutamiivu, nga si mukambwe, nga teyeegomba kufuna magoba mu bukuusa
8 but hospitable, a lover of what is good, self-controlled, upright, holy, and disciplined. naye ayaniriza abagenyi, ayagala okukola obulungi, omutegeevu, nga mwenkanya, nga mutukuvu, era ng’amanyi okwefuga.
9 He must hold firmly to the trustworthy message as taught, so he can encourage with sound teaching and refute those who oppose it. Ateekwa okuba omuntu anywerera ku kigambo ekyesigwa, alyoke asobole okunnyonnyola abantu enjigiriza entuufu, n’okulaga obukyamu bw’abo abagiwakanya.
10 For many are rebellious, talking nonsense and misleading others—especially the circumcision group. Kubanga waliwo bangi abawakana, aboogera ebitaliimu era abalimba, n’okusingira ddala abo ab’omu bakomole.
11 They must be silenced, because they wreck whole households, teaching what they shouldn't, for shameful profit. Basaanye okusirisibwa, kubanga boonoona buli maka, nga bayigiriza ebitabagwanidde, balyoke beefunire amagoba ag’obukuusa.
12 One of their own prophets said it: "Cretans are always liars, evil beasts, lazy gluttons." Omu ku bo, nnabbi waabwe bo kyeyava agamba nti, “Abakuleete balimba bulijjo, z’ensolo enkambwe, era ba mululu ate bagayaavu.”
13 This testimony is true. Therefore rebuke them sharply, so that they will be sound in the faith, Kye yagamba kya mazima. Noolwekyo oteekwa okubanenya n’amaanyi kiryoke kibaleetere okukkiriza okutuufu,
14 and ignore Jewish myths and rules from those who reject the truth. balekeraawo okuwuliriza enfumo ez’Ekiyudaaya, n’ebiragiro abantu abakyama okuva ku mazima bye bagunja.
15 Everything is pure to the pure; but for the corrupted and unbelieving, nothing is pure—both mind and conscience made unclean. Eri abalongoofu, ebintu byonna biba birongoofu, naye eri abo abatali balongoofu n’abatakkiriza, tewaba kirongoofu na kimu. Kubanga amagezi gaabwe n’ebirowoozo byabwe byayonooneka.
16 They claim to know our Father, but deny him by their actions—detestable, disobedient, unfit for any good work. Bagamba nti bamanyi Katonda, naye mu bikolwa byabwe bamwegaana. Bagwenyufu era bajeemu, tebasaanira kuweebwa mulimu mulungi n’akatono.
FHB

Scripture from Father’s Heart Bible™. © 2026 Spirit Media Publishing, the imprint of Spirit Media Inc. All rights reserved. In Divine Voice™ Color, the words spoken by our Father show in blue, the words of the Son in red, and the words of the Spirit in purple.

OLCB

Biblica® Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya ekwatiddwa ku katambi™ Obwannannyini© 1984, 1986, 1993, 2014 bwa Biblica, Inc. Biblica® Open Luganda Contemporary Bible™ Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc. “Biblica” Linnya ery’obwannannyini eryawandiisibwa Biblica mu Amerika era nga balina n’ekkakkalabozo, Inc. Bwaweebwa olukusa okulikozesa. “Biblica” is a trademark registered in the United States Patent and Trademark Office by Biblica, Inc. Used with permission.
Biblica® Open Luganda Contemporary Bible 2014 · Creative Commons - Attribution-ShareAlike [CC BY-SA]