Skip to content
The Believer's Library

Biblica® Open Luganda Contemporary Bible 2014

2 Timothy 4 OLCB

Show OLCB only
Verse × ×
1 I solemnly charge you before our Father and Christ Jesus, who will judge the living and the dead, by his appearing and his kingdom: Nkukuutirira mu maaso ga Katonda ne Kristo Yesu, anaatera okusalira abalamu n’abafu omusango, era n’olw’okujja kwe, n’olw’obwakabaka bwe,
2 Preach the word; stand ready in season and out; correct, rebuke, and encourage, with complete patience and teaching. buuliranga ekigambo kya Katonda, ng’oli mwetegefu mu kiseera ekituufu n’ekitali kituufu, ng’olaga ebikwekeddwa, ng’onenya, ng’ozaamu amaanyi, wakati mu kugumiikiriza, n’okubonaabona okungi, n’okuyigiriza.
3 For a time will come when they won't tolerate sound teaching, but will pile up teachers to fit their own desires, since their ears itch, Kubanga ekiseera kijja lwe baligaana okuwulira enjigiriza entuufu, era olw’okugoberera okwegomba kwabwe balyekuŋŋaanyiza abayigiriza, abalibayigiriza bye baagala, okuwulira.
4 and will turn their ears away from the truth and wander off into myths. Baligaana okuwuliriza eby’amazima, ne bagoberera enfumo obufumo.
5 But you: stay clear-headed in everything, endure hardship, do an evangelist's work, fulfill your service. Naye ggwe weefugenga mu bintu byonna, ogumirenga ebizibu, ng’okola omulimu ogw’omubuulizi w’enjiri, ng’otuukiririza ddala obuweereza bwo.
6 For I am already being poured out like a drink offering; my time to depart has come. Nze kaakano mpebwayo, era ekiseera kyange eky’okuva ku nsi kituuse.
7 I have fought the good fight, I have finished the race, I have kept the faith. Nnwanye okulwana okulungi, mmalirizza olugendo lwange, nkuumye okukkiriza kwange.
8 Now a crown of righteousness awaits me, which the Lord, the righteous judge, will give me on that day—not only to me but to all who have loved his appearing. Kye nsigazza kwe kufuna engule ey’obutuukirivu enterekeddwa, Mukama omulamuzi omutuukirivu gy’alimpeera ku lunaku luli. Taligiwa nze nzekka, naye aligiwa n’abo bonna abeegomba okujja kwe.
9 Do your best to come to me soon. Fuba okujja amangu gye ndi.
10 Demas loved this present world, abandoned me, went to Thessalonica. Crescens went to Galatia, Titus to Dalmatia. Kubanga Dema yandekawo ng’ayagala omulembe gwa kaakano, n’agenda e Sessaloniika. Kulesuke yagenda Ggalatiya ne Tito n’agenda e Dalumatiya.
11 Only Luke is with me. Pick up Mark and bring him with you—he's useful to me for service. Lukka yekka y’ali nange. Ggyayo Makko omuleete, kubanga annyamba nnyo mu buweereza.
12 I have sent Tychicus to Ephesus. Tukiko n’amutuma mu Efeso.
13 When you come, bring the coat I left with Carpus at Troas, and the scrolls, especially the parchments. Bw’obanga ojja ondeeteranga omunagiro gwange gwe naleka e Tulowa ewa Kappo. Ondeeteranga n’emizingo gy’ebitabo, na ddala egyo egy’amaliba.
14 Alexander the coppersmith did me great harm; the Lord will repay him according to his deeds. Alegezanda, omuweesi w’ebikomo yankola ebyettima bingi. Mukama alimusasula olw’ebikolwa bye.
15 Watch out for him yourself, for he strongly opposed our message. Naawe mwekuume, kubanga yawakanya nnyo ebigambo byaffe.
16 No one stood with me at my first defense—all abandoned me. May it not be charged against them. Mu kuwoza kwange okwasooka, tewaali n’omu yajja kubeera nange, bonna banjabulira. Nsaba Katonda ekyo kireme kubavunaanibwa.
17 But the Lord stood with me and strengthened me, so through me the message would be fully proclaimed and all nations would hear it. I was rescued from the lion's mouth. Kyokka Mukama waffe yabeera nange, n’ampa amaanyi, ne nsobola okutegeereza ddala Abaamawanga bonna Enjiri ne bagiwulira, bw’atyo n’anziggya mu kamwa k’empologoma.
18 The Lord will rescue me from every evil deed and carry me safely into his heavenly kingdom. Glory to him forever and ever. Amen. Era Mukama anamponyanga mu buli kabi, era alintuusa mirembe mu bwakabaka bwe. Mukama agulumizibwenga emirembe n’emirembe. Amiina.
19 Greet Prisca and Aquila, and the household of Onesiphorus. Nnamusiza Pulisika ne Akula n’ab’omu maka ga Onesifolo.
20 Erastus stayed at Corinth, and I left Trophimus, who was ill, at Miletus. Erasuto yasigalayo mu Kkolinso, ate Tulofiimo namuleka mu Mireeto nga mulwadde.
21 Try hard to come before winter. Eubulus, Pudens, Linus, Claudia, and all the brothers and sisters greet you. Fuba ojje ng’ebiseera by’obutiti tebinnaba kutuuka. Ewubulo akulamusizza, ne Pudente, ne Lino, ne Kulawudiya, n’abooluganda bonna.
22 The Lord be with your spirit. Grace be with you all. Mukama waffe abeerenga n’omwoyo gwo. Ekisa kibeerenga nammwe mwenna.
FHB

Scripture from Father’s Heart Bible™. © 2026 Spirit Media Publishing, the imprint of Spirit Media Inc. All rights reserved. In Divine Voice™ Color, the words spoken by our Father show in blue, the words of the Son in red, and the words of the Spirit in purple.

OLCB

Biblica® Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya ekwatiddwa ku katambi™ Obwannannyini© 1984, 1986, 1993, 2014 bwa Biblica, Inc. Biblica® Open Luganda Contemporary Bible™ Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc. “Biblica” Linnya ery’obwannannyini eryawandiisibwa Biblica mu Amerika era nga balina n’ekkakkalabozo, Inc. Bwaweebwa olukusa okulikozesa. “Biblica” is a trademark registered in the United States Patent and Trademark Office by Biblica, Inc. Used with permission.
Biblica® Open Luganda Contemporary Bible 2014 · Creative Commons - Attribution-ShareAlike [CC BY-SA]