Skip to content
The Believer's Library

Biblica® Open Luganda Contemporary Bible 2014

2 Timothy 3 OLCB

Show OLCB only
Verse × ×
1 But understand this: in the last days there will come times of difficulty. Naye tegeera kino nga mu nnaku ez’oluvannyuma walibaawo ebiseera ebizibu.
2 For people will be self-lovers, money-lovers, boastful, arrogant, abusive, disobedient to parents, ungrateful, unholy. Kubanga abantu baliba nga beefaako bokka, nga balulunkanira ensimbi, nga beepanka, nga beekuluntaza, nga boogera ebibi, era nga tebawulira bazadde baabwe, nga tebeebaza, nga tebatya Katonda,
3 Heartless, unforgiving, slanderous, without self-control, brutal, hating what is good, nga tebaagalana era nga tebatabagana, nga bawaayiriza, nga tebeegendereza, nga bakambwe, nga tebaagala birungi,
4 treacherous, reckless, swollen with conceit, lovers of pleasure rather than lovers of our Father. nga ba nkwe, nga baagala eby’amasanyu okusinga bwe baagala Katonda;
5 They keep the shape of devotion to God but deny its power—turn from them. nga balina ekifaananyi eky’okutya Katonda so nga tebakkiriza maanyi gaakyo. Abantu ab’engeri eyo obeewalanga.
6 For among these are those who slip into homes and trap weak women weighed down with sins, driven by various desires. Mu abo mulimu abasensera mu mayumba ne bawamba abakazi abanafu mu mwoyo abazitoowereddwa ebibi, era abawalulwa okwegomba okubi okwa buli ngeri,
7 Always learning but never able to come to a knowledge of the truth. abayiga bulijjo, kyokka ne batatuuka ku kutegeerera ddala amazima,
8 As Jannes and Jambres opposed Moses, these also oppose the truth—minds corrupted, disqualified regarding the faith. nga Yane ne Yambere abaawakanya Musa, ne bano bwe batyo bawakanya amazima. Be bantu abaayonooneka ebirowoozo, abatakyalina kukkiriza kutuufu.
9 But they won't get far, for their foolishness will be clear to all, as with those two men. Kyokka tebaliiko gye balaga, kubanga obusirusiru bwabwe bujja kumanyibwa abantu bonna, ng’obwa abasajja abo bwe bwamanyibwa.
10 You, however, have followed my teaching, conduct, purpose, faith, patience, love, endurance, Naye ggwe wagoberera nnyo okuyigiriza kwange, n’empisa zange, ne kye nduubirira, n’okukkiriza kwange n’okubonaabona kwange n’okwagala kwange, n’okugumiikiriza kwange,
11 my persecutions and suffering—at Antioch, at Iconium, at Lystra, what persecutions I endured! Yet the Lord rescued me from them all. n’okuyigganyizibwa n’okubonyaabonyezebwa ebyantukako mu Antiyokiya, ne mu Ikoniya ne mu Lisitula, okuyigganyizibwa kwe nayigganyizibwa, kyokka Mukama n’amponya mu byonna.
12 Indeed, all who desire to live a godly life in Christ Jesus will be persecuted, Era bonna abaagala okuba mu bulamu obutya Katonda mu Kristo Yesu, banaayigganyizibwanga.
13 while evil people and impostors will go on from bad to worse, deceiving and being deceived. Naye abakozi b’ebibi n’abalimba abeefuula okuba ekyo kye batali balyeyongera okuba ababi, ne babuzaabuza abalala, era nabo ne babula.
14 But you—stay with what you learned and became convinced of, knowing from whom you learned it, Kyokka ggwe nywereranga mu ebyo bye wayiga era n’obikkiririza ddala, ng’omanyi abaabikuyigiriza bwe bali.
15 and that from infancy you have known the sacred writings, able to make you wise for salvation through faith in Christ Jesus. Kubanga okuva mu buto bwo wamanya Ebyawandiikibwa Ebitukuvu ebiyinza okukufuula ow’amagezi, n’olokolebwa olw’okukkiriza Kristo Yesu.
16 All Scripture is breathed out by our Father—useful for teaching, exposing wrong, correcting, and training in right living, Ebyawandiikibwa Ebitukuvu byonna, Katonda ye yabiruŋŋamya nga biwandiikibwa, era bigasa mu kuyigiriza, mu kunenya, mu kuluŋŋamya ne mu kubuuliranga omuntu abe omutuukirivu,
17 so that the person of our Father may be complete, equipped for every good work. omuntu wa Katonda alyoke abe ng’atuukiridde, ng’alina byonna ebyetaagibwa okukola buli mulimu omulungi.
FHB

Scripture from Father’s Heart Bible™. © 2026 Spirit Media Publishing, the imprint of Spirit Media Inc. All rights reserved. In Divine Voice™ Color, the words spoken by our Father show in blue, the words of the Son in red, and the words of the Spirit in purple.

OLCB

Biblica® Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya ekwatiddwa ku katambi™ Obwannannyini© 1984, 1986, 1993, 2014 bwa Biblica, Inc. Biblica® Open Luganda Contemporary Bible™ Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc. “Biblica” Linnya ery’obwannannyini eryawandiisibwa Biblica mu Amerika era nga balina n’ekkakkalabozo, Inc. Bwaweebwa olukusa okulikozesa. “Biblica” is a trademark registered in the United States Patent and Trademark Office by Biblica, Inc. Used with permission.
Biblica® Open Luganda Contemporary Bible 2014 · Creative Commons - Attribution-ShareAlike [CC BY-SA]