Skip to content
The Believer's Library

Biblica® Open Luganda Contemporary Bible 2014

Numbers 13 OLCB

Show OLCB only
Verse × ×
1 Our Father said to Moses, Awo Mukama Katonda n’agamba Musa nti,
2 "send men to scout the land of Canaan, which I'm giving Israel's people. Send one man per ancestral tribe, each a leader among them." “Tuma abasajja bagende bakette beetegereze ensi ya Kanani gye ŋŋenda okuwa abaana ba Isirayiri. Mu buli kika kya bajjajja ojja kulondamu omusajja omu ku bakulembeze baakyo.”
3 So Moses sent them from the wilderness of Paran at our Father's command; all were leaders of Israel's people. Bw’atyo Musa n’abatuma okuva mu ddungu lya Palani, ng’ekiragiro kya Mukama Katonda bwe kyali. Bonna baali bakulembeze b’abaana ba Isirayiri.
4 These were their names: from the tribe of Reuben, Shammua the son of Zaccur; Amannya gaabwe ge gano: Eyava mu kika kya Lewubeeni yali Sammuwa mutabani wa Zakula.
5 from the tribe of Simeon, Shaphat the son of Hori; Eyava mu kika kya Simyoni yali Safati mutabani wa Kooli.
6 from the tribe of Judah, Caleb the son of Jephunneh; Eyava mu kika kya Yuda yali Kalebu mutabani wa Yefune.
7 from the tribe of Issachar, Igal the son of Joseph; Eyava mu kika kya Isakaali yali Igali mutabani wa Yusufu.
8 from the tribe of Ephraim, Hoshea the son of Nun; Eyava mu kika kya Efulayimu yali Koseya mutabani wa Nuuni.
9 from the tribe of Benjamin, Palti the son of Raphu; Eyava mu kika kya Benyamini yali Paluti mutabani wa Lafu.
10 from the tribe of Zebulun, Gaddiel the son of Sodi; Eyava mu kika kya Zebbulooni yali Gadyeri mutabani wa Sodi.
11 from the tribe of Joseph (that is, from the tribe of Manasseh), Gaddi the son of Susi; Eyava mu kika kya Manase, ky’ekika kya Yusufu, yali Gaadi mutabani wa Susi.
12 from the tribe of Dan, Ammiel the son of Gemalli; Eyava mu kika kya Ddaani yali Ammiyeri mutabani wa Gemali.
13 from the tribe of Asher, Sethur the son of Michael; Eyava mu kika kya Aseri yali Sesula mutabani wa Mikaeri.
14 from the tribe of Naphtali, Nahbi the son of Vophsi; Eyava mu kika kya Nafutaali yali Nakabi mutabani wa Vofesi.
15 from the tribe of Gad, Geuel the son of Machi. Eyava mu kika kya Gaadi yali Geweri mutabani wa Maki.
16 These are the names of the men Moses sent to scout the land. Moses named Hoshea son of Nun, Joshua. Ago ge mannya ag’abasajja Musa be yatuma okugenda okuketta n’okwetegereza ensi eyo. Musa yali atuumye Koseya mutabani wa Nuuni erinnya Yoswa.
17 Moses sent them to scout the land of Canaan and said to them, "Go up this way into the Negev, go up into the hill country, Musa n’abatuma okuketta n’okwetegereza ensi ya Kanani, n’abagamba nti, “Mwambuke nga muyita mu Negebu muggukire mu nsi ey’ensozi.
18 and see what the land is like, and whether the people living there are strong or weak, few or many, Mwetegerezenga ensi nga bw’efaanana, n’abantu baamu nga bwe bali, obanga ba maanyi oba banafu, obanga bangi oba batono.
19 and whether the towns they live in are open camps or fortified, and whether the land is good or bad, Mulyetegereza obanga ensi mwe babeera nnungi oba mbi. Era muliraba ebibuga byabwe obanga tebiriiko bisenge bya bbugwe oba byetooloddwa bigo.
20 and whether the land is rich or poor, and whether it has trees or not. Be brave, and bring back fruit from the land." It was the season of the first ripe grapes. Mulikebera okulaba obanga ensi yaabwe ngimu oba nkalu, era obanga erimu emiti mingi oba temuli. Mwenywezanga ne muleetayo ku bibala eby’omu nsi eyo.” Ekyo kye kyali ekiseera ezabbibu nga zaakatandika okwengera.
21 So they went up and explored the land from the wilderness of Zin to Rehob, near Lebo-hamath. Awo ne bambuka ne beetegereza ensi okuva mu ddungu lya Zini okutuuka e Lekobu okumpi n’awayingirirwa mu Kamasi.
22 They went up through the Negev to Hebron, where Ahiman, Sheshai, and Talmai, Anak's descendants, lived. Hebron was built seven years before Zoan in Egypt. Ne bambuka mu Negebu ne batuuka e Kebbulooni, era wano Akimaani ne Sesayi ne Talumaayi abazzukulu ba Anaki nga we babeera. Kebbulooni bwe kyamala okuzimbibwa waayitawo emyaka musanvu ne Zowani eky’omu Misiri nakyo ne kiryoka kizimbibwa.
23 They reached the Valley of Eshcol and cut a branch with one cluster of grapes, carried on a pole between two men; they also brought pomegranates and figs. Ne batuuka mu kiwonvu ekiyitibwa Esukoli ne batemamu ettabi limu eryaliko ekirimba kimu ekya zabbibu, abantu babiri ne bakireetera ku musituliro. Era ne baleeta ne ku makomamawanga ne ku ttiini.
24 That place was named Valley of Eshcol, since the Israelites cut a cluster of grapes there. Ekifo ekyo ne kiyitibwa Ekiwonvu kya Esukoli, olw’ekirimba ekyo abaana ba Isirayiri kye baatemamu.
25 At the end of forty days they returned from exploring the land. Awo nga wayiseewo ennaku amakumi ana ne bakomawo nga bamaze okuketta ensi.
26 They came to Moses, Aaron, and the whole community of Israel in the wilderness of Paran, at Kadesh, reported back to them and the whole community, and showed them the land's fruit. Ne bajja eri Musa ne Alooni e Kadesi mu ddungu lya Palani. Ne babakomezaawo obubaka n’eri ekibiina kyonna, era ne babanjulira ebibala bye baggya mu nsi eyo.
27 They told him, "We went to the land you sent us to. It truly flows with milk and honey; here is its fruit. Ne bategeeza Musa nti, “Twatuuka mu nsi gye watutumamu: ekulukuta amata n’omubisi gw’enjuki, ejjudde ebirungi ebyereere, era bino bye bibala byamu.
28 Yet the people in the land are strong, the cities fortified and very large—we even saw Anak's descendants there. Naye nno abantu ababeera mu nsi omwo ba maanyi, n’ebibuga byabwe binene nnyo era byetooloddwako ebigo. Ate n’ekirala twalabaayo n’abazzukulu ba Anaki.
29 Amalekites live in the Negev. Hittites, Jebusites, and Amorites live in the hills. Canaanites live along the sea and beside the Jordan." Abamaleki babeera mu Negebu mu bukiikaddyo; Abakiiti n’Abayebusi, n’Abamoli babeera mu nsi ey’ensozi; n’Abakanani ne babeera okumpi n’ennyanja ne ku lubalama lw’omugga Yoludaani.”
30 Caleb silenced the people before Moses and said, "Let's go up now and possess it—we can certainly overcome it." Awo Kalebu n’asirisa abantu awali Musa n’agamba nti, “Twambukirewo kaakano tutwale ensi eyo, kubanga ndaba nga tusobola okugiwangula.”
31 But the men who went up with him said, "We can't go up against the people, for they are stronger than we are." Kyokka abaagenda ne Kalebu okuketta ne baddamu nti, “Abantu bali tetubasobola, batusinga amaanyi.”
32 So they gave Israel a bad report of the land they had explored, saying, "The land we crossed to explore devours its inhabitants, and everyone we saw there is of great size. Bwe batyo ne babunya mu baana ba Isirayiri alipoota etaali nnungi ng’efa ku nsi gye baali bagenze okuketta; nga bagamba nti, “Ensi gye twayitaayitamu nga tugiketta tesobola na kuliisa bantu baayo abagituulamu; ate n’abantu bonna be twalabamu baali ba kiwago.
33 There we saw the Nephilim—Anak's descendants come from the Nephilim. We seemed like grasshoppers to ourselves, and so we seemed to them." Twalabayo n’Abanefisi, abazzukulu ba Anaki abava mu Banefiri. Bwe twetunulako nga tuli ng’obwacaaka, era nabo nga bwe batulaba bwe batyo.”
FHB

Scripture from Father’s Heart Bible™. © 2026 Spirit Media Publishing, the imprint of Spirit Media Inc. All rights reserved. In Divine Voice™ Color, the words spoken by our Father show in blue, the words of the Son in red, and the words of the Spirit in purple.

OLCB

Biblica® Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya ekwatiddwa ku katambi™ Obwannannyini© 1984, 1986, 1993, 2014 bwa Biblica, Inc. Biblica® Open Luganda Contemporary Bible™ Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc. “Biblica” Linnya ery’obwannannyini eryawandiisibwa Biblica mu Amerika era nga balina n’ekkakkalabozo, Inc. Bwaweebwa olukusa okulikozesa. “Biblica” is a trademark registered in the United States Patent and Trademark Office by Biblica, Inc. Used with permission.
Biblica® Open Luganda Contemporary Bible 2014 · Creative Commons - Attribution-ShareAlike [CC BY-SA]