Skip to content
The Believer's Library

Biblica® Open Luganda Contemporary Bible 2014

Numbers 12 OLCB

Show OLCB only
Verse × ×
1 Miriam and Aaron spoke against Moses over the Cushite woman he had married—he had married a Cushite woman. Awo Miryamu ne Alooni ne boogera nga bawakanya Musa olw’omukazi Omukuusi gwe yali awasizza, kubanga yali awasizza Mukuusi.
2 They said, "Has our Father spoken only through Moses? Hasn't he also spoken through us?" And our Father heard it. Ne bagamba nti, “Naye ddala Mukama bwe yayogeranga yayitanga mu Musa yekka? Mu ffe namwo teyayogereramu?” Mukama Katonda n’abiwulira.
3 Now the man Moses was very humble, more than anyone else on the face of the earth. Naye nno, Musa yali musajja muwombeefu nnyo, nga muteefu okusinga abantu bonna abaali ku nsi.
4 Suddenly our Father told Moses, Aaron, and Miriam, "Come out, you three, to the tent of meeting." The three went out. Amangwago Mukama n’ayogera ne Musa, ne Alooni ne Miryamu n’abagamba nti, “Mujje, mwensatule, mu Weema ey’Okukuŋŋaanirangamu.” Bonsatule ne bagenda.
5 Then our Father came down in a pillar of cloud, stood at the tent entrance, called Aaron and Miriam, and both came forward. Mukama Katonda n’akkira mu mpagi ey’ekire, n’ayimirira ku mulyango gwa Weema n’ayita Alooni ne Miryamu. Bombi bwe baasembera
6 He said, "Hear my words: if a prophet is among you, I, your Father, reveal myself to him in a vision, speak to him in a dream. n’abagamba nti, “Muwulirize ebigambo byange: “Mu mmwe bwe mubaamu nnabbi wa Mukama Katonda, nneeraga gy’ali mu kulabikirwa, oba njogera naye mu birooto.
7 Not so with my servant Moses; he is faithful in all my house. Naye ekyo si bwe kiri ku muddu wange Musa; mu nju yange yonna, muntu mwesigwa.
8 With him I speak mouth to mouth, clearly and not in riddles, and he sees the form of our Father. Why then were you not afraid to speak against my servant Moses?" Bwe mba njogera naye tutunulagana maaso na maaso, njogera butereevu so si mu ngero; alaba ekifaananyi kya Mukama Katonda. Kale, lwaki temwatidde okuwakanya omuddu wange Musa?”
9 So the anger of our Father burned against them, and he departed. Obusungu bwa Mukama Katonda ne bubabuubuukira, n’abaviira.
10 When the cloud lifted from over the tent, there was Miriam—diseased, white as snow. Aaron turned to Miriam, and there—diseased. Ekire bwe kyasituka okuva ku Weema, era laba, Miryamu n’agengewala, n’atukula ng’omuzira. Alooni n’amukyukira n’alaba ng’agengewadde;
11 Aaron told Moses, "Please, my lord, don't hold against us the sin of our foolishness and wrongdoing. n’agamba Musa nti, “Nkwegayirira, mukama wange, oleme kututeekako kibi kino kye tukoze mu busirusiru bwaffe.
12 Don't let her be like a stillborn, its flesh half-consumed leaving its mother's womb." Tomuleka omubiri gwe okufaanana ng’ogw’omwana omuwere azaalibwa ng’ali ng’afudde, ng’omubiri gwe guweddemu ensa.”
13 So Moses cried out to our Father, "Please, my Father, please heal her!" Musa n’akaabirira Mukama ng’agamba nti, “Ayi Katonda, nkwegayirira omuwonye.”
14 But our Father told Moses, "If her father had only spit in her face, wouldn't she be ashamed seven days? Shut her outside the camp seven days; then bring her back." Mukama Katonda n’addamu Musa nti, “Singa kitaawe amuwandidde amalusu mu maaso, teyandibadde muswavu okumala ennaku musanvu? Kale mumusibire ebweru w’olusiisira okumala ennaku musanvu; bwe zinaggwaako ayinza okukomezebwawo.”
15 Miriam was shut outside the camp seven days; the people did not move until she was brought back. Bw’atyo Miryamu n’asibirwa ebweru w’olusiisira okumala ennaku musanvu; abantu ne batasitula kutambula okutuusa Miryamu lwe yakomezebwawo.
16 After that the people set out from Hazeroth and camped in the Wilderness of Paran. Ebyo bwe byaggwa abantu ne basitula okuva e Kazerosi ne batambula okutuusa lwe baasiisira mu ddungu lya Palani.
FHB

Scripture from Father’s Heart Bible™. © 2026 Spirit Media Publishing, the imprint of Spirit Media Inc. All rights reserved. In Divine Voice™ Color, the words spoken by our Father show in blue, the words of the Son in red, and the words of the Spirit in purple.

OLCB

Biblica® Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya ekwatiddwa ku katambi™ Obwannannyini© 1984, 1986, 1993, 2014 bwa Biblica, Inc. Biblica® Open Luganda Contemporary Bible™ Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc. “Biblica” Linnya ery’obwannannyini eryawandiisibwa Biblica mu Amerika era nga balina n’ekkakkalabozo, Inc. Bwaweebwa olukusa okulikozesa. “Biblica” is a trademark registered in the United States Patent and Trademark Office by Biblica, Inc. Used with permission.
Biblica® Open Luganda Contemporary Bible 2014 · Creative Commons - Attribution-ShareAlike [CC BY-SA]