Skip to content
The Believer's Library

Biblica® Open Luganda Contemporary Bible 2014

Numbers 11 OLCB

Show OLCB only
Verse × ×
1 The people complained about their hardship where our Father could hear; he heard, his anger burned, and the fire of our Father blazed among them, consuming the camp's edge. Awo abantu ne beemulugunya olw’ebizibu byabwe nga ne Mukama awulira; bwe yabawulira obusungu bwe ne bubuubuuka. Omuliro ne guva eri Mukama ne gwakira mu bo, ne gwokya ebitundu ebimu ebyali bikomererayo eby’olusiisira lwabwe.
2 The people cried out to Moses, Moses prayed to our Father, and the fire died down. Abantu ne bakaabirira Musa; Musa n’asaba Mukama, omuliro ne guzikira.
3 So that place was named Taberah, because the fire of our Father had blazed among them. Ekifo ekyo ne kituumibwa erinnya Tabera, kubanga omuliro ogwava eri Mukama gwabaakiramu.
4 The mixed crowd among them craved intensely; Israel's people also wept again, saying, "If only we had meat to eat! Abagwira abaali beetabudde mu baana ba Isirayiri ne baluluunkanira ebyokulya; n’abaana ba Isirayiri nabo ne bongera okukaaba nga bwe bagamba nti, “Singa nno tufuna ku nnyama ne tulyako!
5 We remember the fish we ate in Egypt free, the cucumbers, melons, leeks, onions, and garlic. Tukyajjukira ebyennyanja bye twalyanga mu Misiri nga tewali na kye tubisasulidde, ne wujju n’ensujju, n’enderema n’obutungulu ne katungulukyumu n’ebyokuliira.
6 But now our appetite is gone; there is nothing at all to see but this manna." Naye kaakano n’okwoya emmere kutuweddemu, buli we tukuba eriiso tulaba mmaanu eno!”
7 Now the manna was like coriander seed, and it looked like pale resin. Emmaanu yafaanananga ng’ensigo za koliyanda, nga n’ekifaananyi kyayo kiri ng’ekya bideriamu.
8 The people went about gathering it, ground it in mills or crushed it in mortars, boiled it in pots, and shaped it into cakes. It tasted like pastry made with oil. Abantu baagendanga ne bagikuŋŋaanya ne bagiseera ku lubengo oba ne bagisekulira mu binu, ne bagifumba mu ntamu oba ne bakolamu bukeeke. Nga mu kamwa ebanga ekoleddwa n’amafuta ga zeyituuni.
9 When the dew fell on the camp at night, the manna fell with it. Omusulo bwe gwagwanga mu lusiisira ekiro n’emmaanu nayo n’egwa nagwo.
10 Moses heard the people weeping by their clans, each at his tent entrance. The anger of our Father burned greatly, and it seemed wrong to Moses. Musa n’awulira abantu aba buli luggya nga bakaaba, buli omu ng’akaabira mu muzigo gw’eweema ye; obusungu bwa Mukama Katonda ne bubuubuuka nnyo, ne Musa n’asoberwa n’anyiikaala.
11 Moses said to our Father, "Why have you mistreated your servant? Why haven't I found favor with you, that you put this whole people's burden on me? Musa n’agamba Mukama Katonda nti, “Lwaki oleetedde omuddu wo obuzibu buno? Nkoze ki ekitakusanyusizza ne kikuleetera okwetikka omugugu gw’abantu bano bonna?
12 Did I conceive all these people? Did I give birth to them, that you'd tell me, 'Carry them in your arms, as a caregiver carries a nursing baby,' to the land you swore to give their ancestors? Nze nali olubuto omwali abantu bano bonna? Nze nabazaala? Lwaki oŋŋamba okubasitula mu mikono gyange ng’omulezi w’abaana bw’asitula omwana omuwere mbatwale mu nsi gye wabasuubiza ng’ogirayirira bajjajjaabwe?
13 Where can I get meat for all these people? They keep weeping to me, saying, 'Give us meat to eat!' Ennyama abantu bano bonna gye banaalya nnaagiggya wa? Kubanga baneetayirira nga bankaabirira nti, ‘Tuwe ennyama tulye!’
14 I cannot carry all these people by myself; it is too heavy for me. Sisobola kusitula bantu bano bonna bw’omu kubanga obuzito bwabwe buyinza okummenya nga ndi nzekka.
15 If this is how you treat me, please kill me now—if I have found favor in your eyes—and don't let me see my own misery." Obanga bw’otyo bw’ojja okumpisa, ate nga bulijjo ondaga ekisa kyo, kale nno nzitiraawo kaakano oleme kundeka ne neereetera okwezikiriza.”
16 Then our Father told Moses, "Gather for me seventy men from Israel's elders, whom you know as elders and officers of the people, and bring them to the meeting tent, and let them stand there with you. Mukama n’agamba Musa nti, “Nfunira abasajja nsanvu mu bakulu ba Isirayiri b’omanyi nga be bakulu b’abantu era nga be bakulembeze baabwe obaleete ku Weema ey’Okukuŋŋaanirangamu, bayimirire awo naawe.
17 I will come down, speak with you there, take some of the Spirit on you, and put it on them. They will carry the people's burden with you, so you won't carry it alone. Nzija kukka awo njogere naawe; era nzija kutoola ku mwoyo oguli mu ggwe ngubateekemu, balyokenga bakusitulireko omugugu gw’abantu oleme kugwetikkanga wekka.
18 Tell the people: Dedicate yourselves for tomorrow—you will eat meat. You wept in our Father's hearing, saying, 'If only we had meat to eat! We were better off in Egypt.' So our Father will give you meat, and you will eat. “Abantu bagambe nti, ‘Mwetukuze nga mwetegekera olunaku lw’enkya, lwe mujja okulya ennyama. Kubanga Mukama Katonda yabawulira nga mumukaabirira bwe muti nti, “Singa tufunye ku nnyama ne tulyako! Bwe twali mu Misiri twali bulungi!” Noolwekyo Mukama ajja kubawa ennyama mugirye.
19 Not for one day, two, five, ten, or twenty days will you eat it, Temugenda kugirya mu lunaku lumu, oba mu nnaku bbiri, oba mu nnaku ttaano, oba mu nnaku kkumi, oba nnaku abiri;
20 but a whole month, until it comes out your nostrils and disgusts you—because you rejected our Father among you, weeping before him, saying, 'Why did we ever leave Egypt?'" naye kumala mwezi mulambirira, okutuusa lw’erifulumira mu nnyindo zammwe n’ebanyiwa, kubanga mwesamudde Mukama Katonda abeera mu mmwe, ne mumukaabirira nga mugamba nti, “Mu Misiri twaviirayo ki?” ’ ”
21 Moses said, "The people I'm with number 600,000 on foot, yet you say, 'I will give them meat to eat for a whole month'?" Musa n’agamba nti, “Abantu bano mwe ndi bawera omuwendo gwa mitwalo nkaaga abatambuza ebigere, naawe ogamba nti, ‘Nzija kubawa ennyama gye banaalya okumala omwezi mulamba!’
22 Could flocks and herds be slaughtered to satisfy them? Could all the fish of the sea be gathered to satisfy them? Ebisolo ebiri mu biraalo ne mu bisibo bwe binattibwa binaabamala? Nantiki ebyennyanja byonna eby’omu nnyanja bwe binaavubibwa ne bibaweebwa, binaabamala?”
23 Our Father said to Moses, "Is my hand too short? Now you'll see whether my word comes true for you or not." Mukama n’agamba Musa nti, “Omukono gwa Mukama Katonda guyimpawadde? Kaakano ojja kulaba obanga ekigambo kyange kye nkugambye kinaatuukirira oba tekiituukirire.”
24 Moses went out and told the people our Father's words. He gathered seventy men from the people's elders and stationed them around the tent. Awo Musa n’afuluma n’ategeeza abantu ebigambo bya Mukama Katonda; n’akuŋŋaanya abasajja nsanvu mu bakulembeze b’abantu n’abayimiriza okumpi ne Weema ya Mukama.
25 Then our Father came down in the cloud, spoke to him, took some of the Spirit on him, and put it on the seventy elders. When the Spirit rested on them, they prophesied—but not again. Awo Mukama Katonda n’akkira mu kire n’ayogera ne Musa, n’addira ku mwoyo ogwali mu Musa n’agussa mu bakulembeze ensanvu. Omwoyo bwe baagufuna ne batandika okutegeeza obunnabbi, kyokka tebaddayo nate kukikola.
26 Two men had remained in the camp, one named Eldad, the other Medad, and the Spirit rested on them—they were among those registered but had not gone out to the tent—yet they prophesied in the camp. Waaliwo abasajja babiri nga bayitibwa Eridaadi ne Medadi, baali babaliddwa ku bakulembeze ensanvu, naye bo ne basigala mu lusiisira, ne batagenda ku Weema ya Mukama; nabo baafuna omwoyo, era ne bategeeza obunnabbi mu lusiisira.
27 A young man ran and reported to Moses, "Eldad and Medad are prophesying in the camp." Omuvubuka n’adduka n’agenda ategeeza Musa nti, “Eridaadi ne Medadi bategeeza obunnabbi mu lusiisira.”
28 Joshua son of Nun, Moses' assistant from his youth, said: "My lord Moses, hold them back!" Awo Yoswa mutabani wa Nuuni, omuweereza wa Musa gwe yali yeerondedde ng’akyali muvubuka n’agamba nti, “Mukama wange Musa, baziyize.”
29 But Moses replied, "Are you jealous for me? I wish all our Father's people were prophets, that our Father would put his Spirit on them!" Naye Musa n’amugamba nti, “Okwatiddwa obuggya ku lwange? Kyandibadde kirungi singa abantu ba Mukama bonna bannabbi, ne Mukama Katonda n’abawa omwoyo gwe!”
30 Then Moses returned to the camp, he and the elders of Israel. Musa n’abakulembeze ba Isirayiri ne baddayo mu lusiisira.
31 A wind went out from our Father, drove quail from the sea, and dropped them around the camp—about a day's journey on each side, about three feet deep on the ground. Awo empewo n’eva eri Mukama Katonda n’ereeta obugubi nga buva mu nnyanja ne bugwa okwebungulula olusiisira nga bukoze entuumo nga ya mita emu okuva ku ttaka, nga bujjuza ebbanga lya lugendo lwa lunaku lumu ku ludda olumu olw’olusiisira n’olugendo lwa lunaku lumu ku ludda olulala.
32 The people were up all that day, all night, and all the next day gathering the quail—the least gathered sixty bushels—then spread it all out for themselves around the camp. Ku lunaku olwo ne ku lunaku olwaddirira abantu ne bakuŋŋaanya obugubi emisana n’ekiro. Tewali yakuŋŋaanya buzito bwakka wansi wa kilo lukumi; ne babwanika buli wantu mu lusiisira.
33 While the meat was still between their teeth, not yet chewed, our Father's anger burned against the people, and our Father struck them with a very severe plague. Naye ennyama yali ekyali mu mannyo gaabwe nga tebannaba kugirya, obusungu bwa Mukama Katonda ne bubuubuukira abantu n’abaleetera kawumpuli ow’amaanyi ennyo.
34 That place was named Kibroth-hattaavah, because there they buried the people who craved. Noolwekyo ekifo ekyo kyekyava kituumibwa Kiberosu Katava, kubanga awo we baaziika abantu abaalina omulugube.
35 From Kibroth-hattaavah the people set out for Hazeroth, and they stayed at Hazeroth. Abantu bwe baava e Kiberosu Katava ne batambula okutuuka e Kazerosi ne babeera awo.
FHB

Scripture from Father’s Heart Bible™. © 2026 Spirit Media Publishing, the imprint of Spirit Media Inc. All rights reserved. In Divine Voice™ Color, the words spoken by our Father show in blue, the words of the Son in red, and the words of the Spirit in purple.

OLCB

Biblica® Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya ekwatiddwa ku katambi™ Obwannannyini© 1984, 1986, 1993, 2014 bwa Biblica, Inc. Biblica® Open Luganda Contemporary Bible™ Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc. “Biblica” Linnya ery’obwannannyini eryawandiisibwa Biblica mu Amerika era nga balina n’ekkakkalabozo, Inc. Bwaweebwa olukusa okulikozesa. “Biblica” is a trademark registered in the United States Patent and Trademark Office by Biblica, Inc. Used with permission.
Biblica® Open Luganda Contemporary Bible 2014 · Creative Commons - Attribution-ShareAlike [CC BY-SA]