Skip to content
The Believer's Library

Biblica® Open Luganda Contemporary Bible 2014

Numbers 10 OLCB

Show OLCB only
Verse × ×
1 Our Father spoke to Moses, saying: Mukama n’agamba Musa nti,
2 "Make yourself two silver trumpets, hammered work; use them to call the community and to move the camps. “Weesa mu ffeeza amakondeere abiri ogakozesenga okuyitanga abantu bonna okukuŋŋaana, era n’okubalagira okuggyawo ensiisira zaabwe.
3 When both sound, the whole community must gather to you at the entrance to the tent of meeting. Amakondeere gombi bwe ganaafuuyibwanga, ekibiina ky’abantu bonna banaakuŋŋaaniranga w’oli ku mulyango gwa Weema ey’Okukuŋŋaanirangamu.
4 But if only one is blown, the leaders—heads of Israel's clans—are to gather to you. Naye bwe banaafuuwangako erimu, olwo abakulembeze, be bakulu b’ebika bya Isirayiri, be banaakuŋŋaaniranga w’oli.
5 When you sound a blast, the camps on the east side are to set out. Amakondeere ag’omwanguka bwe ganaafuuyibwanga, ebika ebinaabanga bisiisidde ku luuyi olw’ebuvanjuba binaasitulanga okutambula.
6 Sound a second blast: camps on the south side set out. Sound a blast for their setting out. Ate bwe banaafuuwanga ag’omwanguka omulundi ogwokubiri, ensiisira ezinaabanga mu bukiikaddyo, zinaasitulanga okutambula. Amakondeere ag’omwanguka ke kanaabanga akabonero akanaabategeezanga nti basitule batambule.
7 But when you call the assembly together, blow a steady note, not an alarm. Naye bwe kineetaagisanga okukuba olukuŋŋaana, onoofuuwanga amakondeere naye tegaabenga ga mwanguka.
8 Aaron's sons, the priests, are to blow the trumpets—a lasting law for you throughout your generations. “Abaana ba Alooni, bakabona, be banaafuuwanga amakondeere. Lino linaabanga tteeka ery’enkalakkalira mu mmwe ne mu mirembe egigenda okujja.
9 When you go to war in your land against the enemy crushing you, sound an alarm on the trumpets—you will be remembered before me and saved from your enemies. Bwe munaagendanga okutabaala omulabe abajoogerereza mu nsi yammwe, mufuuwanga amakondeere ag’omwanguka. Bwe mutyo munajjukirwanga Mukama Katonda, era anaabawonyanga abalabe bammwe.
10 Also on your day of joy, at your appointed feasts and new moons, blow the trumpets over your burnt offerings and over your peace offerings—a memorial for you before our Father. I am your Father." Mu biseera eby’essanyu, ne ku mbaga zammwe entongole ne ku mbaga z’omwezi ogwakaboneka, munaafuuwanga amakondeere nga bwe muwaayo ebiweebwayo byammwe ebyokebwa n’ebiweebwayo byammwe olw’emirembe, era binaabanga bijjukizo byammwe awali Katonda wammwe. Nze Mukama Katonda wammwe.”
11 In the second year, second month, on the twentieth day, the cloud lifted from over the tabernacle of the testimony. Awo olwatuuka ku lunaku olw’amakumi abiri mu mwezi ogwokubiri mu mwaka ogwokubiri, ekire ne kisitulibwa okuva waggulu wa Weema ey’Endagaano.
12 The Israelites set out from the Sinai wilderness, stage by stage; the cloud settled in the Paran wilderness. Abaana ba Isirayiri ne basitula ne batambula okuva mu Ddungu lya Sinaayi, oluvannyuma ekire ne kiyimirira mu Ddungu lya Palani.
13 This was their first setting out, at our Father's command through Moses. Ogwo gwe gwali omulundi omubereberye okusitula okutambula nga bagendera ku kiragiro kya Mukama Katonda kye yayisa mu Musa.
14 Judah's camp banner set out first, by their divisions, Nahshon son of Amminadab over his division. Olusiisira lw’abaana ba Yuda lwe lwasooka okusitula okutambula, nga bakulemberwa ebendera yaabwe; Nakusoni mutabani wa Amminadaabu nga ye muduumizi waabwe.
15 Nethanel son of Zuar was over the division of the tribe of Issachar, Nesaneri mutabani wa Zuwaali ye yaduumira ekibinja ky’ekika kya Isakaali,
16 and Eliab son of Helon was over the division of the tribe of Zebulun. ne Eriyaabu mutabani wa Keroni n’aduumira ekibinja ky’ekika kya Zebbulooni.
17 The tabernacle was taken down, and the sons of Gershon and sons of Merari set out, carrying it. Eweema ya Mukama n’esimbulwa, batabani ba Gerusoni ne batabani ba Merali abaagyetikkanga ne basitula ne batambula.
18 Reuben's camp standard set out by divisions, Elizur son of Shedeur over its division. Ebibinja by’omu lusiisira lwa Lewubeeni bye byaddako okusitula okutambula awamu n’ebendera yaabyo, nga biduumirwa Erizuuli mutabani wa Sedewuli.
19 Shelumiel son of Zurishaddai was over the division of the tribe of Simeon, Serumiyeeri mutabani wa Zulisadaayi ye yaduumira ekibinja ky’ekika kya Simyoni,
20 and Eliasaph son of Deuel was over the division of the tribe of Gad. ne Eriyasaafu mutabani wa Deweri n’aduumira ekibinja ky’ekika kya Gaadi.
21 The Kohathites set out carrying the holy things, and the tabernacle was set up before they arrived. Abakokasi ne basitula okutambula nga beetisse ebintu ebitukuvu. Eweema ya Mukama ng’emala kusimbibwa, nabo ne balyoka batuuka.
22 Ephraim's camp standard set out by division, Elishama son of Ammihud over its division. Ebibinja by’omu lusiisira lwa Efulayimu bye byaddirira okusitula okutambula awamu n’ebendera yaabyo; Erisaama mutabani wa Ammikudi nga ye muduumizi waabyo.
23 Gamaliel son of Pedahzur was over the division of the tribe of Manasseh, Gamalyeri mutabani wa Pidazuuli ye yaduumira ekibinja ky’ekika kya Manase;
24 and Abidan son of Gideoni was over the division of the tribe of Benjamin. ne Abidaani mutabani wa Gidyoni n’aduumira ekibinja ky’ekika kya Benyamini.
25 Dan's camp standard set out, rear guard of all the camps, by their divisions, with Ahiezer son of Ammishaddai over its division. Ku nkomerero ya byonna, ebibinja by’omu lusiisira lwa Ddaani, nga bye bikuuma emabega, ne bisitula okutambula n’ebendera yaabyo nga bikoobedde ensiisira zonna; Akiyezeeri mutabani wa Amisadaayi nga ye muduumizi waabyo.
26 Pagiel son of Ochran was over the division of the tribe of Asher, Pagiyeeri mutabani wa Okulaani ye yaduumira ekibinja ky’ekika kya Aseri;
27 and Ahira son of Enan was over the division of the tribe of Naphtali. ne Akira mutabani wa Enani n’aduumira ekibinja ky’ekika kya Nafutaali.
28 This was the order of march for the Israelites by their divisions as they set out. Eyo ye yali entegeka ey’abaana ba Isirayiri ng’ebibinja byabwe bwe byali nga basitula okutambula.
29 Moses said to Hobab son of Reuel the Midianite, his father-in-law, "We are traveling to the place our Father said, 'I will give it to you.' Come with us; we will treat you well, for our Father has promised good to Israel." Awo Musa n’agamba mukoddomi we Kobabu mutabani wa Leweri Omumidiyaani nti, “Tusitula okutambula okugenda mu kifo Mukama kye yatugamba nti, ‘Ndikibawa.’ Kale nno, jjangu tugende ffenna tulikuyisa bulungi, kubanga Mukama yasuubiza Isirayiri ebintu ebirungi.”
30 But Hobab said to him, "I will not go; I am returning to my own land and my own people." Naye n’addamu nti, “Nedda, sijja kugenda nammwe, nzirayo mu nsi ye waffe era mu bantu bange.”
31 Moses said, "Please don't leave us, since you know where we should camp in the wilderness, and you'll be our eyes. Naye Musa n’amugamba nti, “Nkwegayiridde totuleka. Ggwe omanyi obulungi eddungu gye tusaanye okukuba olusiisira lwaffe, ggwe ojja okubeera amaaso gaffe.
32 If you come with us, whatever good our Father does for us, we'll do the same for you." Singa ojja ne tugenda ffenna, tunaagabaniranga wamu buli kirungi kyonna Mukama ky’anaatuwanga.”
33 They set out from the mountain of our Father on a three-day journey, and the ark of our Father's covenant went ahead of them that three-day journey, seeking a resting place for them. Awo ne basitula okuva ku lusozi lwa Mukama Katonda ne batambulira ennaku ssatu. Essanduuko ya Mukama ey’Endagaano n’ebakulemberanga okumala ennaku ezo essatu ng’ebanoonyeza ekifo eky’okuwummuliramu.
34 The cloud of our Father was over them by day as they left the camp. Buli lwe baasitulanga okutambula nga bava mu lusiisira, ekire kya Mukama Katonda kyabeeranga waggulu waabwe buli budde bwa misana.
35 Whenever the ark set out, Moses said, "Rise, O Father! Let your enemies be scattered; let those who hate you flee before you." Buli abeetissi b’Essanduuko ya Mukama Katonda lwe baasitulanga okutambula, Musa n’agamba nti, “Golokoka, Ayi Mukama! Abalabe bo basaasaane; amaggye agakulwanyisa gakudduke.”
36 Whenever it rested, he'd say, "Return, O Father, to Israel's countless thousands." Buli Ssanduuko ya Mukama Katonda lwe yawummuzibwanga, Musa n’agamba nti, “Komawo, Ayi Mukama, eri enkumi n’enkumi eza Isirayiri.”
FHB

Scripture from Father’s Heart Bible™. © 2026 Spirit Media Publishing, the imprint of Spirit Media Inc. All rights reserved. In Divine Voice™ Color, the words spoken by our Father show in blue, the words of the Son in red, and the words of the Spirit in purple.

OLCB

Biblica® Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya ekwatiddwa ku katambi™ Obwannannyini© 1984, 1986, 1993, 2014 bwa Biblica, Inc. Biblica® Open Luganda Contemporary Bible™ Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc. “Biblica” Linnya ery’obwannannyini eryawandiisibwa Biblica mu Amerika era nga balina n’ekkakkalabozo, Inc. Bwaweebwa olukusa okulikozesa. “Biblica” is a trademark registered in the United States Patent and Trademark Office by Biblica, Inc. Used with permission.
Biblica® Open Luganda Contemporary Bible 2014 · Creative Commons - Attribution-ShareAlike [CC BY-SA]