Skip to content
The Believer's Library

Biblica® Open Luganda Contemporary Bible 2014

Numbers 9 OLCB

Show OLCB only
Verse × ×
1 Our Father spoke to Moses in the Sinai wilderness, in the first month of the second year after they left Egypt: Awo Mukama n’ayogera ne Musa mu Ddungu lya Sinaayi mu mwezi ogw’olubereberye ogw’omwaka ogwokubiri kasookedde bava mu nsi y’e Misiri. N’amugamba nti,
2 "Let the people of Israel keep the Passover at its appointed time. “Lagira abaana ba Isirayiri bakwatenga Embaga ey’Okuyitako mu ntuuko zaayo nga bwe kyalagirwa.
3 On this month's fourteenth day, at twilight, observe it at its set time, by all its statutes and all its rules." Mugikwatanga mu ntuuko zaayo ezaalagirwa ku lunaku olw’ekkumi n’ennya olw’omwezi guno nga buwungeera, ng’amateeka n’ebiragiro byako bwe bigamba.”
4 So Moses told the people of Israel that they should keep the Passover. Bw’atyo Musa n’agamba abaana ba Isirayiri okukwata Embaga ey’Okuyitako;
5 In the wilderness of Sinai, they kept the Passover on day fourteen of the first month, at twilight, as our Father commanded Moses; so the children of Israel did. era ne bakola bwe batyo mu Ddungu lya Sinaayi ku lunaku olw’ekkumi n’ennya olw’omwezi ogw’olubereberye nga buwungeera. Abaana ba Isirayiri baakola ebyo byonna nga Mukama bwe yalagira Musa.
6 Some men were unclean from touching a corpse and could not observe Passover that day, so they came before Moses and Aaron that day. Naye waaliwo abantu abamu abataasobola kukwata Mbaga ey’Okuyitako ku lunaku olwo, kubanga tebaali balongoofu olwokubanga baali bakutte ku mufu. Bwe batyo ne bajja eri Musa ne Alooni ku lunaku olwo lwennyini,
7 Those men said to him, "We are unclean from a dead body. Why must we be kept from presenting our Father's offering at its appointed time among the Israelites?" ne bagamba Musa nti, “Tetuli balongoofu kubanga twakutte ku mufu; lwaki tugaanibwa okuleetera Mukama ekiweebwayo kye, awamu n’abaana ba Isirayiri, mu ntuuko zaakyo ezaalagirwa?”
8 And Moses said to them, "Wait here until I hear what our Father will command about this." Musa n’abaddamu nti, “Mulinde mmale okumanya Mukama Katonda ky’anandagira ku nsonga yammwe.”
9 Our Father spoke to Moses, saying, Awo Mukama Katonda n’agamba Musa nti,
10 "Tell the Israelites: if any of you or your descendants is unclean from a corpse, or off on a distant journey, he may still keep the Passover to our Father. “Yogera eri abaana ba Isirayiri obagambe nti, ‘Omu ku mmwe, oba omu ku bazzukulu bammwe ab’omu mirembe egiriddawo, singa afuuka atali mulongoofu olw’okukwata ku mufu, oba nga taliiwo yagenda olugendo olw’ewala, anaakwatanga Embaga ey’Okuyitako eya Mukama Katonda.
11 In month two, on day fourteen, at twilight, they must keep it, eating it with unleavened bread and bitter herbs. Banaakwatanga embaga eyo ku lunaku olw’ekkumi n’ennya mu mwezi ogwokubiri akawungeezi. Omwana gw’endiga banaagulyanga n’omugaati ogutali muzimbulukuse n’enva ez’ebikoola ebikaawa.
12 They are to leave none of it until morning, break no bone of it, and keep it by every statute of the Passover. Tebagulekangawo okutuusa enkeera, wadde okumenya ku magumba gaagwo. Bwe banaakwatanga Embaga ey’Okuyitako kinaabasaaniranga okukola ng’amateeka g’embaga eyo bwe galagira.
13 But if a man is clean and not traveling, yet does not keep the Passover, that person must be cut off from his people, because he failed to bring our Father's offering at its set time; that man will bear his sin. Naye omuntu omulongoofu ate nga teyagenda lugendo, kyokka n’atakwata Mbaga ey’Okuyitako, anaawaŋŋangusibwanga n’ava mu banne, kubanga teyaleeta kiweebwayo kya Mukama Katonda mu ntuuko zaakyo. Ekibi ky’omuntu oyo kinaabeeranga ku mutwe gwe.
14 "If a foreigner living among you wants to keep the Passover to our Father, he must follow the Passover's statute and rule. One statute applies to both foreigner and native of the land." “ ‘Omunnaggwanga anaabeeranga mu mmwe bw’anaabanga ayagala okukwata Embaga ey’Okuyitako kwa Mukama Katonda anaagikwatanga ng’agoberera amateeka n’ebiragiro byayo. Munaabanga n’ebiragiro byebimu ebinaagobererwanga bannaggwanga era ne bannansi.’ ”
15 When the tabernacle—the tent of the testimony—was set up, the cloud covered it; from evening until morning it looked like fire over the tabernacle. Ku lunaku Weema ya Mukama ey’Endagaano lwe yasimbibwa, ekire ne kigibikka. Okuva akawungeezi okutuusa ku makya ekire ekyali waggulu wa Weema ne kifaanana ng’omuliro.
16 So it was continually: the cloud covered it by day, and the appearance of fire by night. Bwe kityo bwe kyabeeranga; ekire kyagibikkanga emisana naye ekiro ne kifaanana ng’omuliro.
17 Whenever the cloud lifted from over the tent, the Israelites set out; wherever it settled, the Israelites camped. Era ekire buli lwe kyaggyibwanga ku Weema, olwo abaana ba Isirayiri ne basitula mu lugendo lwabwe; era awo ekire ekyo we kyayimiriranga, nga n’abaana ba Isirayiri we basiisira.
18 At our Father's command Israel's people set out; at our Father's command they camped. As long as the cloud rested over the tabernacle, they remained camped. Mukama bwe yalagiranga abaana ba Isirayiri okusitula mu lugendo lwabwe, nga basitula; Mukama bwe yabalagiranga okukuba olusiisira nga bakola bwe batyo. Ebbanga lyonna ekire lye kyamalanga waggulu wa Weema nga nabo lye bamala mu lusiisira lwabwe.
19 When the cloud lingered over the tabernacle many days, the Israelites kept our Father's charge and did not set out. Ekire ne bwe kyamalanga ennaku ennyingi waggulu wa Weema, abaana ba Isirayiri baagonderanga ekiragiro kya Mukama Katonda ne batasitula kutambula.
20 Sometimes the cloud stayed on the dwelling only a few days: at the command of our Father they camped, at the command of our Father they set out. Oluusi ekire kyamalanga ennaku ntono waggulu wa Weema; naye ng’ekiragiro kya Mukama Katonda bwe kyali, nga basigala mu lusiisira lwabwe; kyokka oluvannyuma nga basitula okutambula ng’ekiragiro kya Mukama Katonda bwe kyabanga.
21 Sometimes the cloud stayed from evening to morning; when it lifted in the morning, they set out. Whether by day or night, when the cloud lifted, they set out. Oluusi ekire kyabeerangawo okuva akawungeezi okutuusa mu makya; naye ekire bwe kyaggyibwangawo mu makya, ng’olwo basitula okutambula; oba bwe kyasigalangawo olunaku n’ekiro kyonna oluvannyuma ne kiggyibwawo, ng’olwo basitula okutambula.
22 Whether two days, a month, or longer, while the cloud remained over the tabernacle, Israel stayed in camp and did not set out; when it lifted, they set out. Ekire ne bwe kyabeeranga waggulu wa Weema okumala ennaku ebbiri oba omwezi, abaana ba Isirayiri nga babeera awo mu lusiisira lwabwe nga tebasitula kutambula; naye bwe kyaggyibwangawo ng’olwo basitula okutambula.
23 At our Father's command they camped; at his command they set out. They kept his charge, at our Father's command through Moses. Mukama bwe yabalagiranga okusigala, nga basigala mu lusiisira lwabwe nga bawummudde, ate Mukama bwe yabalagiranga okutambula, nga basitula okutambula. Baagonderanga ekiragiro kya Mukama nga bwe yalagira Musa.
FHB

Scripture from Father’s Heart Bible™. © 2026 Spirit Media Publishing, the imprint of Spirit Media Inc. All rights reserved. In Divine Voice™ Color, the words spoken by our Father show in blue, the words of the Son in red, and the words of the Spirit in purple.

OLCB

Biblica® Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya ekwatiddwa ku katambi™ Obwannannyini© 1984, 1986, 1993, 2014 bwa Biblica, Inc. Biblica® Open Luganda Contemporary Bible™ Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc. “Biblica” Linnya ery’obwannannyini eryawandiisibwa Biblica mu Amerika era nga balina n’ekkakkalabozo, Inc. Bwaweebwa olukusa okulikozesa. “Biblica” is a trademark registered in the United States Patent and Trademark Office by Biblica, Inc. Used with permission.
Biblica® Open Luganda Contemporary Bible 2014 · Creative Commons - Attribution-ShareAlike [CC BY-SA]