Skip to content
The Believer's Library

Biblica® Open Luganda Contemporary Bible 2014

Numbers 8 OLCB

Show OLCB only
Verse × ×
1 Our Father spoke to Moses, saying: Awo Mukama Katonda n’agamba Musa nti,
2 "Say to Aaron: When you mount the lamps, the seven must shine before the lampstand." “Yogera ne Alooni omugambe nti, ‘Bw’oba oteekateeka ettaala omusanvu, zisaana zaake nga zimulisa ebbanga eryo eriri mu maaso g’ekikondo ky’ettaala.’ ”
3 Aaron did so, lighting its lamps to shine toward the lampstand's front, as our Father commanded Moses. Alooni n’akola bw’atyo; n’akoleeza ettaala ne zaaka nga zimulisa ebbanga eryali mu maaso g’ekikondo ky’ettaala, nga Mukama Katonda bwe yalagira Musa.
4 The lampstand's work: hammered gold, hammered from base to blossoms—made exactly as our Father showed Moses. Ekikondo ky’ettaala kyakolebwa mu ngeri eno: kyaweesebwa mu zaabu okuva ku ntobo yaakyo okutuuka ku bimuli byakyo. Ekikondo ky’ettaala kyakolebwa ng’ekifaananyi ekyokulabirako Mukama Katonda kye yalaga Musa bwe kyali.
5 Our Father spoke to Moses, saying: Mukama Katonda n’agamba Musa nti,
6 "Take the Levites from among the people of Israel and cleanse them. “Ggyamu Abaleevi mu baana ba Isirayiri, obafuule balongoofu.
7 To cleanse them, do this: sprinkle purification water on them, run a razor over their whole body, wash their clothes, and be clean. Okubafuula abalongoofu ojja kukola bw’oti: bamansireko amazzi ag’obulongoofu, obalagire bamwe omubiri gwabwe gwonna, era booze n’engoye zaabwe, bwe batyo bafuuke abalongoofu.
8 Let them take a young bull from the herd, its grain offering of fine flour mixed with oil, and you are to take a second young bull from the herd for a sin offering. Balagire baweeyo ente ya sseddume ento n’ekiweebwayo ekigenderako eky’obuwunga obulungi obutabuddwamu amafuta ag’omuzeeyituuni; n’oluvannyuma naawe oddire ente ya sseddume ento ogiweeyo olw’ekiweebwayo olw’ekibi.
9 Bring the Levites before the tent of meeting, and gather the whole community of Israel's people. Abaleevi obaleete mu maaso ga Weema ya Mukama ey’Okukuŋŋaanirangamu, era okuŋŋaanyize awo ekibiina ky’abaana ba Isirayiri bonna.
10 When you present the Levites before me, Israelites are to lay hands on the Levites, Onooleeta Abaleevi mu maaso ga Mukama, era abaana ba Isirayiri bajja kussa emikono gyabwe ku Baleevi abo.
11 Aaron is to wave the Levites before me, an offering from the Israelites, to do my service. Alooni ajja kuwaayo Abaleevi eri Mukama Katonda ng’ekiweebwayo ekiwuubibwa ekivudde mu baana ba Isirayiri, bwe batyo babe nga beetegese okukola omulimu gwa Mukama.
12 The Levites will lay their hands on the bulls' heads; offer one as a sin offering, one as a burnt offering to me, to atone for the Levites. “Abaleevi banassa emikono gyabwe ku mitwe gy’ente zisseddume zombi; emu onoogiwaayo ng’ekiweebwayo olw’ekibi, n’endala ng’ekiweebwayo ekyokebwa eri Mukama Katonda, okutangiririra Abaleevi.
13 Set the Levites before Aaron and his sons, and present them to me as a wave offering. Ojja kuyimiriza Abaleevi mu maaso ga Alooni ne batabani be, olyoke obaweeyo eri Mukama Katonda ng’ekiweebwayo ekiwuubibwa.
14 Separate the Levites from among Israel's people; the Levites are mine. “Bw’otyo bw’onooyawula Abaleevi okuva mu baana ba Isirayiri, era Abaleevi banaabanga bange.
15 Then the Levites will enter to serve the tent of meeting, once you've cleansed and waved them as a wave offering. “Ebyo nga biwedde Abaleevi banaayingiranga mu Weema ey’Okukuŋŋaanirangamu ne baweereza, ng’omaze okubafuula abalongoofu era ng’obawaddeyo ng’ekiweebwayo ekiwuubibwa.
16 For they are fully given to me from among Israel's sons, in place of every womb-opener—firstborn of all Israel's sons—I took them for myself. Kubanga bampeereddwa ddala nga bava mu baana ba Isirayiri. Mbeetwalidde nga be bange ddala mu kifo ky’ababereberye, eky’abaana aboobulenzi ababereberye abazaalibwa buli mukazi Omuyisirayiri.
17 All Israel's firstborn, human or animal, are mine; the day I struck all Egypt's firstborn, I set them apart for myself. Buli ekizaalibwa kyonna mu Isirayiri ekisajja nga kibereberye, oba muntu oba nsolo, kyange. Bwe nazikiriza ebibereberye byonna eby’omu nsi y’e Misiri, ebya Isirayiri nabyeyawulirako ne biba byange.
18 And I have taken the Levites in place of all the firstborn among the people of Israel. Kaakano ntutte Abaleevi mu kifo ky’ababereberye mu baana ba Isirayiri.
19 I have given the Levites to Aaron and his sons, a gift from Israel's people, to serve Israel's people at the tent of meeting, atone for Israel's people, so no plague strikes Israel's people nearing the sanctuary." Nzigye Abaleevi mu baana ba Isirayiri ne mbagabira Alooni ne batabani be ng’ekirabo, bakolererenga abaana ba Isirayiri nga baweereza mu Weema ey’Okukuŋŋaanirangamu nga batangiririra abaana ba Isirayiri balemenga kulumbibwa kawumpuli nga babadde basemberedde awatukuvu.”
20 Moses, Aaron, and Israel's whole assembly did to the Levites all our Father commanded Moses about the Levites; Israel's people did to them. Bwe batyo Musa ne Alooni n’ekibiina kyonna eky’abaana ba Isirayiri ne bakola ku Baleevi ebyo byonna nga Mukama bwe yalagira Musa.
21 The Levites purified themselves from sin, washed their clothes; Aaron offered them as a wave offering before our Father, atoned for them to cleanse them. Abaleevi ne bayoza engoye zaabwe, ne Alooni n’abawaayo ng’ekiweebwayo ekiwuubibwa eri Mukama Katonda, n’abatangiririra okubafuula abalongoofu.
22 After that, the Levites came to serve in the tent of meeting before Aaron and his sons; they did to the Levites as our Father commanded Moses. Ebyo bwe byaggwa Abaleevi ne bajja okukola omulimu gwabwe nga baweereza mu Weema ey’Okukuŋŋaanirangamu, nga balabirirwa Alooni ne batabani be. Baakola byonna ku Baleevi nga Mukama Katonda bwe yalagira Musa.
23 Our Father spoke to Moses, saying: Awo Mukama Katonda n’agamba Musa nti,
24 "This applies to the Levites: from age twenty-five, they are to come to serve in the work at the tent of meeting. “Bino bye bikwata ku Baleevi: Abasajja ab’emyaka amakumi abiri mu etaano egy’obukulu n’okusingawo, banajjanga ne batandika emirimu gyabwe mu Weema ey’Okukuŋŋaanirangamu;
25 From age fifty they must retire from service work and serve no longer. naye bwe banaawezanga emyaka egy’obukulu amakumi ataano banaawummuliranga ddala ne bava ku mirimu emitongole egya bulijjo ne bateeyongera kuweereza.
26 They may assist their brothers at the tent of meeting by standing guard, but do no work. This is how you are to assign the Levites' duties." Naye banaayinzanga okudduukirirako ku booluganda abanaabanga bakola emirimu egyo mu Weema ey’Okukuŋŋaanirangamu, naye bo ku lwabwe tebaakolenga mirimu egyo mu butongole. Bw’otyo bw’onootegekanga emirimu gy’Abaleevi.”
FHB

Scripture from Father’s Heart Bible™. © 2026 Spirit Media Publishing, the imprint of Spirit Media Inc. All rights reserved. In Divine Voice™ Color, the words spoken by our Father show in blue, the words of the Son in red, and the words of the Spirit in purple.

OLCB

Biblica® Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya ekwatiddwa ku katambi™ Obwannannyini© 1984, 1986, 1993, 2014 bwa Biblica, Inc. Biblica® Open Luganda Contemporary Bible™ Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc. “Biblica” Linnya ery’obwannannyini eryawandiisibwa Biblica mu Amerika era nga balina n’ekkakkalabozo, Inc. Bwaweebwa olukusa okulikozesa. “Biblica” is a trademark registered in the United States Patent and Trademark Office by Biblica, Inc. Used with permission.
Biblica® Open Luganda Contemporary Bible 2014 · Creative Commons - Attribution-ShareAlike [CC BY-SA]