1When Moses finished setting up the tabernacle, he anointed and dedicated it and all its furnishings, the altar and all its utensils, anointing and dedicating them.OLCBAwo olwatuuka ku lunaku olwo, Musa bwe yamala okusimba Weema ya Mukama, n’agifukako amafuta ag’omuzeeyituuni n’agitukuza ne byonna ebikozesebwa mu yo, era n’afuka amafuta ag’omuzeeyituuni ku kyoto n’akitukuza n’ebintu byakyo byonna.
2Then Israel's leaders—heads of their fathers' houses, the tribal leaders in charge of the census—brought an offering.OLCBAbakulembeze ba Isirayiri, abakulu b’empya za bakitaabwe era nga be bakulembeze b’ebika abaalina obuvunaanyizibwa eri abaabalibwa, ne baleeta ebiweebwayo byabwe.
3They brought their offering before our Father: six covered wagons, twelve oxen—a wagon per two leaders, an ox for each—then presented them before the tabernacle.OLCBBaaleeta ebirabo byabwe eby’ebiweebwayo eri Mukama Katonda, amagaali agabikkiddwako mukaaga n’ente kkumi na bbiri, nga buli mukulembeze aleeta ente emu, na buli bakulembeze babiri nga baleeta eggaali emu. Ebyo byonna ne babiweerayo mu maaso ga Weema ya Mukama.
4And our Father said to Moses,OLCBMukama Katonda n’agamba Musa nti,
5"Take these from them for the tent of meeting's service; give them to the Levites, each according to his service."OLCB“Bye baleese bibaggyeeko, binaakozesebwanga ku mirimu gy’omu Weema ey’Okukuŋŋaanirangamu. Bikwase Abaleevi, nga buli mulimu gwa buli omu bwe gwetaagisa.”
6So Moses took the wagons and the oxen and gave them to the Levites.OLCBBw’atyo Musa n’addira amagaali n’ente n’abiwa Abaleevi.
7Two wagons and four oxen he gave to the sons of Gershon, according to their service.OLCBAmagaali abiri n’ente nnya yaziwa batabani ba Gerusoni, ng’emirimu gyabwe bwe gyali,
8He gave four wagons and eight oxen to Merari's sons, for their service, under Ithamar son of Aaron the priest.OLCBn’addira amagaali ana n’ente munaana n’abiwa batabani ba Merali, ng’emirimu gyabwe bwe gyali; bonna nga bakulemberwa Isamaali mutabani wa Alooni, kabona.
9To the sons of Kohath he gave none, since the holy things' service was theirs—carried on the shoulder.OLCBNaye abaana ba Kokasi, Musa teyabawaako, kubanga ebintu ebitukuvu bye baalinako obuvunaanyizibwa baabitwaliranga ku bibegabega byabwe.
10On the day the altar was anointed, the leaders brought its dedication offering; the leaders brought their offering before the altar.OLCBBwe batyo abakulembeze ne bawaayo ebiweebwayo mu maaso g’ekyoto olw’okukitukuza, ku lunaku lwe kyafukibwako amafuta ag’omuzeeyituuni.
11And our Father said to Moses, "Each day one leader is to bring his offering for the altar's dedication."OLCBMukama n’agamba Musa nti, “Buli lunaku omukulembeze omu anaaleetanga ekiweebwayo kye olw’okutukuza ekyoto.”
12Nahshon son of Amminadab, of Judah's tribe, presented his offering on the first day.OLCBEyaleeta ekiweebwayo kye ku lunaku olusooka yali Nakusoni mutabani wa Amminadaabu ow’omu kika kya Yuda.
13His offering: one silver plate, about three and a quarter pounds, and one silver basin, about one and three-quarter pounds, both filled with fine flour mixed with oil for a grain offering.OLCBEkiweebwayo kye yali sowaani emu eya ffeeza, ng’obuzito epima kilo emu n’ekitundu, n’ekibya ekya ffeeza eky’okumansira ng’obuzito bwakyo bwali obutundu bwa kilo, munaana, byombi, essowaani n’ekibya, nga bipimibwa ng’ebipimo by’awatukuvu bwe biri; byombi nga bijjuziddwa obuwunga obulungi obutabuddwamu amafuta ag’omuzeeyituuni obw’ekiweebwayo eky’emmere y’empeke;
14One gold dish weighing about four ounces, full of incense;OLCBn’ekijiiko ekinene ekya zaabu kimu ng’obuzito kipima gulaamu kikumi mu kkumi, nga kijjudde ebyakaloosa;
15one young bull, one ram, and one male lamb a year old, for a burnt offering;OLCBente ya sseddume emu envubuka, endiga ennume emu, n’omwana gw’endiga omulume gumu oguwezezza omwaka gumu ogw’obukulu, olw’ekiweebwayo ekyokebwa;
16one male goat for a sin offering;OLCBembuzi ennume emu nga ya kiweebwayo olw’ekibi;
17for the peace offering: two oxen, five rams, five male goats, five year-old male lambs. This was Nahshon son of Amminadab's offering.OLCBera olwa ssaddaaka ey’ebiweebwayo olw’emirembe: ente bbiri, endiga ennume ttaano, embuzi ennume ttaano, n’abaana b’endiga abalume bataano abawezezza omwaka gumu gumu ogw’obukulu. Ekyo kye kyali ekiweebwayo eri Mukama ekya Nakusoni mutabani wa Amminadaabu.
18On the second day Nethanel son of Zuar, the leader of Issachar, presented an offering.OLCBKu lunaku olwokubiri Nesaneri mutabani wa Zuwaali, omukulembeze wa Isakaali, n’aleeta ekiweebwayo kye.
19His offering: one silver plate weighing about three and a quarter pounds, one silver bowl weighing about one and three-quarter pounds, both filled with fine flour mixed with oil for a grain offering.OLCBEkirabo kye yaleeta yali sowaani eya ffeeza ng’epima obuzito bwa kilo emu n’ekitundu, n’ekibya ekya ffeeza omubeera eby’okumansira ng’obuzito bwakyo bwali obutundu bwa kilo, munaana, nga buli kimu kipimibwa ng’ebipimo by’awatukuvu bwe biri; byombi nga bijjuziddwa obuwunga obulungi obutabuddwamu amafuta ag’omuzeeyituuni obw’ekiweebwayo eky’emmere y’empeke;
20One gold dish weighing about four ounces, full of incense;OLCBn’ekijiiko ekinene ekya zaabu kimu ng’obuzito kipima gulaamu kikumi mu kkumi, nga kijjudde ebyakaloosa;
21one young bull, one ram, and one male lamb a year old, for a burnt offering;OLCBente ya sseddume emu envubuka, endiga ennume emu, n’omwana gw’endiga omulume gumu oguwezezza omwaka gumu ogw’obukulu, olw’ekiweebwayo ekyokebwa;
22one male goat for a sin offering;OLCBembuzi ennume emu nga ya kiweebwayo olw’ekibi;
23for the peace offering: two oxen, five rams, five male goats, five year-old male lambs. This was Nethanel son of Zuar's offering.OLCBera olwa ssaddaaka ey’ebiweebwayo olw’emirembe: ente bbiri, endiga ennume ttaano, embuzi ennume ttaano, n’abaana b’endiga abalume bataano abawezezza omwaka gumu gumu ogw’obukulu. Ekyo kye kyali ekiweebwayo eri Mukama ekya Nesaneri mutabani wa Zuwaali.
24On the third day it was Eliab son of Helon, the leader of the sons of Zebulun.OLCBKu lunaku olwokusatu Eriyaabu mutabani wa Keroni, omukulembeze w’abantu ba Zebbulooni, yaleeta ekiweebwayo kye.
25His offering: one silver plate weighing about three and a quarter pounds, one silver basin weighing about one and three-quarter pounds, both full of fine flour mixed with oil for a grain offering;OLCBEkiweebwayo kye yali sowaani emu eya ffeeza ng’obuzito epima kilo emu n’ekitundu, n’ekibya ekya ffeeza omubeera eby’okumansira ng’obuzito bwakyo bwali obutundu bwa kilo, munaana, nga buli kimu kipimibwa ng’ebipimo by’awatukuvu bwe biri; byombi nga bijjuziddwa obuwunga obulungi obutabulemu amafuta ag’omuzeeyituuni obw’ekiweebwayo eky’emmere y’empeke;
26one gold dish weighing about four ounces, full of incense;OLCBn’ekijiiko ekinene ekya zaabu kimu ng’obuzito kipima gulaamu kikumi mu kkumi, nga kijjudde ebyakaloosa;
27one young bull, one ram, and one male lamb a year old, for a burnt offering;OLCBente eya sseddume emu nga nvubuka, endiga ennume emu, n’omwana gw’endiga omulume gumu nga guwezezza omwaka gumu ogw’obukulu, olw’ekiweebwayo ekyokebwa;
28one male goat for a sin offering;OLCBembuzi ennume emu nga ya kiweebwayo olw’ekibi;
29for the peace offering sacrifice: two oxen, five rams, five male goats, five male lambs a year old. This was Eliab son of Helon's offering.OLCBera olwa ssaddaaka ey’ebiweebwayo olw’emirembe: ente bbiri, endiga ennume ttaano, embuzi ennume ttaano, n’abaana b’endiga abalume bataano abawezezza omwaka gumu gumu ogw’obukulu. Ekyo kye kyali ekiweebwayo eri Mukama ekya Eriyaabu mutabani wa Keroni.
30On the fourth day it was Elizur son of Shedeur, the leader of the sons of Reuben.OLCBKu lunaku olwokuna Erizuuli mutabani wa Sedewuli, omukulembeze w’abantu ba Lewubeeni, n’aleeta ekiweebwayo kye.
31His offering: one silver plate, about three and a quarter pounds, and one silver basin, about one and three-quarter pounds—both full of fine flour mixed with oil for a grain offering.OLCBEkiweebwayo kye yali sowaani emu eya ffeeza ng’obuzito epima kilo emu n’ekitundu, n’ekibya ekya ffeeza omubeera eby’okumansira ng’obuzito bwakyo obutundu bwa kilo, munaana, nga buli kimu kipimibwa ng’ebipimo by’awatukuvu bwe biri, byombi nga bijjuziddwa obuwunga obulungi obutabulemu amafuta obw’ekiweebwayo eky’emmere y’empeke;
32One gold dish weighing about four ounces, full of incense;OLCBn’ekijiiko ekinene ekya zaabu kimu, ng’obuzito kipima gulaamu kikumi mu kkumi, nga kijjudde ebyakaloosa;
33one young bull, one ram, and one male lamb a year old, for a burnt offering;OLCBente eya sseddume emu envubuka, endiga ennume emu, n’omwana gw’endiga omulume gumu nga guwezezza omwaka gumu ogw’obukulu, olw’ekiweebwayo ekyokebwa;
34one male goat for a sin offering;OLCBembuzi ennume emu nga ya kiweebwayo olw’ekibi;
35and for the peace offering sacrifice: two oxen, five rams, five male goats, five male lambs a year old. This was Elizur son of Shedeur's offering.OLCBera olwa ssaddaaka ey’ebiweebwayo olw’emirembe: ente bbiri, endiga ennume ttaano, embuzi ennume ttaano, n’abaana b’endiga abalume bataano abawezezza omwaka gumu gumu ogw’obukulu. Ekyo kye kyali ekiweebwayo eri Mukama ekya Erizuuli mutabani wa Sedewuli.
36On the fifth day it was Shelumiel son of Zurishaddai, the leader of the sons of Simeon.OLCBKu lunaku olwokutaano Serumiyeeri mutabani wa Zulisadaayi, omukulembeze w’abantu ba Simyoni, yaleeta ekiweebwayo kye.
37His offering: one silver plate, about three and a quarter pounds, one silver basin, about one and three-quarter pounds, both full of fine flour mixed with oil for a grain offering.OLCBEkiweebwayo kye yali sowaani emu eya ffeeza ng’obuzito epima kilo emu n’ekitundu, n’ekibya ekya ffeeza omubeera eby’okumansira ng’obuzito bwakyo bwali obutundu bwa kilo, munaana, nga buli kimu kipimibwa ng’ebipimo by’awatukuvu bwe biri, byombi nga bijjuziddwa obuwunga obulungi obutabulemu amafuta ag’omuzeeyituuni obw’ekiweebwayo eky’emmere y’empeke;
38One gold dish weighing about four ounces, full of incense;OLCBn’ekijiiko ekinene ekya zaabu kimu, ng’obuzito kipima gulaamu kikumi mu kkumi, nga kijjudde ebyakaloosa;
39one young bull, one ram, and one male lamb a year old, for a burnt offering;OLCBente eya sseddume emu envubuka, endiga ennume emu, n’omwana gw’endiga omulume gumu nga guwezezza omwaka gumu ogw’obukulu, olw’ekiweebwayo ekyokebwa;
40one male goat for a sin offering;OLCBembuzi ennume emu nga ya kiweebwayo olw’ekibi;
41for the sacrifice of peace offerings: two oxen, five rams, five male goats, five year-old male lambs. This was Shelumiel son of Zurishaddai's offering.OLCBera olwa ssaddaaka ey’ebiweebwayo olw’emirembe: ente bbiri, endiga ennume ttaano, embuzi ennume ttaano, n’abaana b’endiga abalume bataano abawezezza omwaka gumu gumu ogw’obukulu. Ekyo kye kyali ekiweebwayo eri Mukama ekya Serumiyeeri mutabani wa Zulisadaayi.
42On the sixth day it was Eliasaph son of Deuel, the leader of the sons of Gad.OLCBKu lunaku olw’omukaaga Eriyasaafu mutabani wa Deweri, omukulembeze w’abantu ba Gaadi, n’aleeta ekiweebwayo kye.
43His offering was one silver plate, about three and a quarter pounds, and one silver basin, about one and three-quarter pounds, both filled with fine flour mixed with oil for a grain offering.OLCBEkiweebwayo kye yali sowaani emu eya ffeeza ng’obuzito epima kilo emu n’ekitundu, n’ekibya ekya ffeeza omubeera eby’okumansira ng’obuzito bwakyo bwali obutundu bwa kilo, munaana, nga buli kimu kipimibwa ng’ebipimo by’awatukuvu bwe biri, byombi nga bijjuziddwa obuwunga obulungi obutabulemu amafuta ag’omuzeeyituuni obw’ekiweebwayo eky’emmere y’empeke;
44One gold dish weighing about four ounces, full of incense;OLCBn’ekijiiko ekinene ekya zaabu kimu ng’obuzito kipima gulaamu kikumi mu kkumi, nga kijjudde ebyakaloosa;
45one young bull, one ram, and one male lamb a year old, for a burnt offering;OLCBente eya sseddume emu envubuka, endiga ennume emu, n’omwana gw’endiga omulume gumu nga guwezezza omwaka gumu ogw’obukulu, olw’ekiweebwayo ekyokebwa;
46one male goat for a sin offering;OLCBembuzi ennume emu nga ya kiweebwayo olw’ekibi;
47for the peace offering: two oxen, five rams, five male goats, five male yearling lambs. This was Eliasaph son of Deuel's offering.OLCBera olwa ssaddaaka ey’ebiweebwayo olw’emirembe: ente bbiri, endiga ennume ttaano, embuzi ennume ttaano, n’abaana b’endiga abalume bataano abawezezza omwaka gumu gumu ogw’obukulu. Ekyo kye kyali ekiweebwayo eri Mukama ekya Eriyasaafu mutabani wa Deweri.
48On the seventh day it was Elishama son of Ammihud, the leader of the sons of Ephraim.OLCBKu lunaku olw’omusanvu Erisaama mutabani wa Ammikudi, omukulembeze w’abantu ba Efulayimu, n’aleeta ekiweebwayo kye.
49His offering: one silver plate, about three and a quarter pounds, and one silver basin, about one and three-quarter pounds, both filled with fine flour mixed with oil for a grain offering;OLCBEkiweebwayo kye yali sowaani emu eya ffeeza ng’obuzito epima kilo emu n’ekitundu, n’ekibya kya ffeeza omubeera eby’okumansira ng’obuzito bwakyo bwali obutundu bwa kilo, munaana, nga buli kimu kipimibwa ng’ebipimo by’awatukuvu bwe biri, byombi nga bijjuziddwa obuwunga obulungi obutabulemu amafuta ag’omuzeeyituuni obw’ekiweebwayo eky’emmere y’empeke;
50one gold dish weighing about four ounces, full of incense;OLCBn’ekijiiko ekinene ekya zaabu kimu, ng’obuzito kipima gulaamu kikumi mu kkumi, nga kijjudde ebyakaloosa;
51one young bull, one ram, and one male lamb a year old, for a burnt offering;OLCBente eya sseddume emu envubuka, endiga ennume emu, n’omwana gw’endiga omulume gumu nga guwezezza omwaka gumu ogw’obukulu, olw’ekiweebwayo ekyokebwa;
52one male goat for a sin offering;OLCBembuzi ennume emu nga ya kiweebwayo olw’ekibi;
53for the sacrifice of peace offerings: two oxen, five rams, five male goats, five male lambs a year old. This was Elishama son of Ammihud's offering.OLCBera olwa ssaddaaka ey’ebiweebwayo olw’emirembe: ente bbiri, endiga ennume ttaano, embuzi ennume ttaano, n’abaana b’endiga abalume bataano abawezezza omwaka gumu gumu ogw’obukulu. Ekyo kye kyali ekiweebwayo eri Mukama ekya Erisaama mutabani wa Ammikudi.
54On the eighth day it was Gamaliel son of Pedahzur, the leader of the sons of Manasseh.OLCBKu lunaku olw’omunaana Gamalyeri mutabani wa Pedazuuli, omukulembeze w’abantu ba Manase, n’aleeta ekiweebwayo kye.
55His offering: one silver plate, about three and a quarter pounds, and one silver basin, about one and three-quarter pounds, both full of fine flour mixed with oil for a grain offering.OLCBEkiweebwayo kye yali esowaani emu eya ffeeza ng’obuzito epima kilo emu n’ekitundu, n’ekibya ekya ffeeza omubeera eby’okumansira ng’obuzito bwakyo bwali obutundu bwa kilo, munaana, nga buli kimu kipimibwa ng’ebipimo by’awatukuvu bwe biri, byombi nga bijjuziddwa obuwunga obulungi obutabulemu amafuta ag’omuzeeyituuni obw’ekiweebwayo eky’emmere y’empeke;
56One gold dish weighing about four ounces, full of incense;OLCBn’ekijiiko ekinene ekya zaabu kimu, ng’obuzito kipima gulaamu kikumi mu kkumi, nga kijjudde ebyakaloosa;
57one young bull, one ram, and one male lamb a year old, for a burnt offering;OLCBente eya sseddume emu envubuka, endiga ennume emu, n’omwana gw’endiga omulume gumu nga guwezezza omwaka gumu ogw’obukulu, olw’ekiweebwayo ekyokebwa;
58one male goat for a sin offering;OLCBembuzi ennume emu nga ya kiweebwayo olw’ekibi;
59for the peace offering: two oxen, five rams, five male goats, five year-old male lambs. Offering of Gamaliel son of Pedahzur.OLCBera olwa ssaddaaka ey’ebiweebwayo olw’emirembe: ente bbiri, endiga ennume ttaano, n’abaana b’endiga abalume bataano abawezezza omwaka gumu gumu ogw’obukulu. Ekyo kye kyali ekiweebwayo eri Mukama ekya Gamalyeri mutabani wa Pedazuuli.
60On the ninth day it was Abidan son of Gideoni, the leader of the sons of Benjamin.OLCBKu lunaku olw’omwenda Abidaani mutabani wa Gidyoni, omukulembeze w’abantu ba Benyamini, n’aleeta ekiweebwayo kye.
61His offering: one silver plate, about three and a quarter pounds, one silver basin, about one and three-quarter pounds, both full of fine flour mixed with oil for a grain offering.OLCBEkiweebwayo kye yali sowaani emu eya ffeeza ng’obuzito epima kilo emu n’ekitundu, n’ekibya ekya ffeeza omubeera eby’okumansira ng’obuzito bwakyo bwali obutundu bwa kilo, munaana, nga buli kimu kipimibwa ng’ebipimo by’awatukuvu bwe biri; byombi nga bijjuziddwa obuwunga obulungi obutabulemu amafuta ag’omuzeeyituuni obw’ekiweebwayo eky’emmere y’empeke;
62One gold dish weighing about four ounces, full of incense;OLCBn’ekijiiko ekinene ekya zaabu kimu ng’obuzito kipima gulaamu kikumi mu kkumi, nga kijjudde ebyakaloosa;
63one young bull, one ram, and one male lamb a year old, for a burnt offering;OLCBente eya sseddume emu nga nvubuka, endiga ennume emu, n’omwana gw’endiga omulume gumu nga guwezezza omwaka gumu ogw’obukulu, olw’ekiweebwayo ekyokebwa;
64one male goat for a sin offering;OLCBembuzi ennume emu nga ya kiweebwayo olw’ekibi;
65for the peace-offering sacrifice: two oxen, five rams, five male goats, five yearling male lambs. This was Abidan son of Gideoni's offering.OLCBera olwa ssaddaaka ey’ebiweebwayo olw’emirembe: ente bbiri, endiga ennume ttaano, embuzi ennume ttaano, n’abaana b’endiga abalume bataano abawezezza omwaka gumu gumu ogw’obukulu. Ekyo kye kyali ekiweebwayo eri Mukama ekya Abidaani mutabani wa Gidyoni.
66On the tenth day it was Ahiezer son of Ammishaddai, the leader of the sons of Dan.OLCBKu lunaku olw’ekkumi Akiyezeeri mutabani wa Amisadaayi, omukulembeze w’abantu ba Ddaani, n’aleeta ekiweebwayo kye.
67His offering: one silver plate weighing about three and a quarter pounds, one silver basin weighing about one and three-quarter pounds, both full of fine flour mixed with oil for a grain offering.OLCBEkiweebwayo kye yali essowaani emu eya ffeeza ng’obuzito epima kilo emu n’ekitundu, n’ekibya ekya ffeeza omubeera eby’okumansira ng’obuzito bwakyo bwali obutundu bwa kilo, munaana, nga buli kimu kipimibwa ng’ebipimo by’awatukuvu bwe biri; byombi nga bijjuziddwa obuwunga obulungi obutabulemu amafuta ag’omuzeeyituuni obw’ekiweebwayo eky’emmere y’empeke;
68One gold dish weighing about four ounces, full of incense;OLCBn’ekijiiko ekinene ekya zaabu kimu ng’obuzito kipima gulaamu kikumi mu kkumi, nga kijjudde ebyakaloosa;
69one young bull, one ram, and one male lamb a year old, for a burnt offering;OLCBente eya sseddume emu nga nvubuka, endiga ennume emu, n’omwana gw’endiga omulume gumu nga guwezezza omwaka gumu ogw’obukulu, olw’ekiweebwayo ekyokebwa;
70one male goat for a sin offering;OLCBembuzi ennume emu nga ya kiweebwayo olw’ekibi;
71for the peace-offering sacrifice: two oxen, five rams, five male goats, five male year-old lambs. This was Ahiezer son of Ammishaddai's offering.OLCBera olwa ssaddaaka ey’ebiweebwayo olw’emirembe: ente bbiri, endiga ennume ttaano, embuzi ennume ttaano, n’abaana b’endiga abalume bataano abawezezza omwaka gumu gumu ogw’obukulu. Ekyo kye kyali ekiweebwayo eri Mukama ekya Akiyezeeri mutabani wa Amisadaayi.
72On the eleventh day it was Pagiel son of Ochran, the leader of the sons of Asher.OLCBKu lunaku olw’ekkumi n’olumu Pagiyeeri mutabani wa Okulaani, omukulembeze w’abantu ba Aseri, n’aleeta ekiweebwayo kye.
73He offered a silver plate, about three and a quarter pounds, and a silver basin, about one and three-quarter pounds, both filled with fine flour mixed with oil for a grain offering;OLCBEkiweebwayo kye yali essowaani emu eya ffeeza ng’obuzito epima kilo emu n’ekitundu, n’ekibya ekya ffeeza omubeera eby’okumansira ng’obuzito bwakyo bwali obutundu bwa kilo, munaana, nga buli kimu kipimibwa ng’ebipimo by’awatukuvu bwe biri; byombi nga bijjuziddwa obuwunga obulungi obutabulemu amafuta ag’omuzeeyituuni obw’ekiweebwayo eky’emmere y’empeke;
74one gold dish weighing about four ounces, full of incense;OLCBn’ekijiiko ekinene ekya zaabu kimu ng’obuzito kipima gulaamu kikumi mu kkumi, nga kijjudde ebyakaloosa;
75one young bull, one ram, and one male lamb a year old, for a burnt offering;OLCBente eya sseddume emu nga nvubuka, endiga ennume emu, n’omwana gw’endiga omulume gumu nga guwezezza omwaka gumu ogw’obukulu, olw’ekiweebwayo ekyokebwa;
76one male goat for a sin offering;OLCBembuzi ennume emu nga ya kiweebwayo olw’ekibi;
77and for the sacrifice of peace offerings: two oxen, five rams, five male goats, five male lambs a year old. The offering of Pagiel son of Ochran.OLCBera olwa ssaddaaka ey’ebiweebwayo olw’emirembe: ente bbiri, endiga ennume ttaano, embuzi ennume ttaano, n’abaana b’endiga abalume bataano abawezezza omwaka gumu gumu ogw’obukulu. Ekyo kye kyali ekiweebwayo eri Mukama ekya Pagiyeeri mutabani wa Ekulaani.
78On the twelfth day it was Ahira son of Enan, the leader of the sons of Naphtali.OLCBKu lunaku olw’ekkumi n’ebbiri Akira mutabani wa Enani, omukulembeze w’abantu ba Nafutaali, yaleeta ekiweebwayo kye.
79His offering: one silver plate, about three and a quarter pounds, and one silver basin, about one and three-quarter pounds, both filled with fine flour mixed with oil for a grain offering.OLCBEkiweebwayo kye yali essowaani emu eya ffeeza ng’obuzito epima kilo emu n’ekitundu, n’ekibya ekya ffeeza omubeera eby’okumansira ng’obuzito bwakyo bwali obutundu bwa kilo, munaana, nga buli kimu kipimibwa ng’ebipimo by’awatukuvu bwe biri; byombi nga bijjuziddwa obuwunga obulungi obutabulemu amafuta ag’omuzeeyituuni obw’ekiweebwayo eky’emmere y’empeke;
80One gold dish weighing about four ounces, full of incense;OLCBn’ekijiiko ekinene ekya zaabu kimu ng’obuzito kipima gulaamu kikumi mu kkumi nga kijjudde ebyakaloosa;
81one young bull, one ram, and one male lamb a year old, for a burnt offering;OLCBente eya sseddume emu nga nvubuka, endiga ennume emu, n’omwana gw’endiga omulume gumu nga guwezezza omwaka gumu ogw’obukulu, olw’ekiweebwayo ekyokebwa;
82one male goat for a sin offering;OLCBembuzi ennume emu nga ya kiweebwayo olw’ekibi;
83and for the peace-offering sacrifice: two oxen, five rams, five male goats, five male lambs a year old. Ahira son of Enan's offering.OLCBera olwa ssaddaaka ey’ebiweebwayo olw’emirembe: ente bbiri, endiga ennume ttaano, embuzi ennume ttaano, n’abaana b’endiga abalume bataano abawezezza omwaka gumu gumu ogw’obukulu. Ekyo kye kyali ekiweebwayo eri Mukama ekya Akira mutabani wa Enani.
84This was the altar's dedication offering when it was anointed, from Israel's leaders: twelve silver plates, twelve silver basins, twelve gold dishes.OLCBBino bye biweebwayo abakulembeze ba Isirayiri bye baaleeta olw’okutukuza ekyoto ku lunaku lwe kyafukibwako amafuta ag’omuzeeyituuni: essowaani eza ffeeza kkumi na bbiri, ebibya omubeera eby’okumansira kkumi na bibiri, n’ebijiiko ebinene ebya zaabu kkumi na bibiri.
85Each silver plate weighed about three and a quarter pounds, each basin about one and three-quarter pounds; all the silver of the vessels totaled about sixty pounds.OLCBBuli sowaani eya ffeeza ng’epima obuzito bwa kilo emu n’ekitundu, na buli kibya omubeera eby’okumansira nga kipima obuzito bwa butundu bwa kilo, munaana. Okugatta awamu obuzito bw’essowaani ezo zonna n’obw’ebibya ebyo byonna bwali bupima kilo amakumi abiri mu munaana ng’ebipimo by’awatukuvu bwe byali.
86The twelve gold dishes full of incense weighed about four ounces each; all the gold totaled about three pounds.OLCBEbijiiko ebya zaabu ebinene ekkumi n’ebibiri ebyali bijjudde ebyakaloosa buli kimu, byali bipima obuzito kilo kikumi mu kkumi na musanvu, ng’ebipimo by’awatukuvu bwe biri. Okugatta awamu ebijiiko byonna byapima obuzito bwa kilo emu ne desimoolo nnya.
87All the cattle for the burnt offering: twelve bulls, twelve rams, twelve year-old male lambs, with their grain offering; and twelve male goats for the sin offering.OLCBOmuwendo gwonna ogw’ebisolo ebyaweebwayo olw’ekiweebwayo ekyokebwa gwali bwe guti: ente ento ennume kkumi na bbiri, endiga ennume kkumi na bbiri, abaana b’endiga abato abalume ab’omwaka ogw’obukulu gumu baali kkumi na babiri, awamu n’ekiweebwayo eky’emmere y’empeke n’ebigenderako. Embuzi ennume kkumi na bbiri ze zaakozesebwa olw’ekiweebwayo olw’ekibi.
88All the cattle for the peace offering sacrifices: twenty-four bulls, sixty rams, sixty male goats, sixty male year-old lambs. This was the altar's dedication offering, after it was anointed.OLCBOmuwendo gwonna ogw’ebisolo ebyaweebwayo olwa ssaddaaka y’ekiweebwayo olw’emirembe gwali bwe guti: ente ennume amakumi abiri mu nnya, endiga ennume nkaaga, embuzi ennume nkaaga n’abaana b’endiga abato abalume ab’omwaka ogw’obukulu ogumu ogumu nabo nkaaga. Ebyo bye byali ebiweebwayo olw’okutukuza ekyoto nga kimaze okufukibwako amafuta ag’omuzeeyituuni.
89When Moses entered the tent of meeting to speak with our Father, he heard the voice speaking to him from above the mercy seat on the ark of the testimony, between the two cherubim—so our Father spoke with him.OLCBAwo Musa bwe yayingira mu Weema ey’Okukuŋŋaanirangamu okwogera ne Mukama, n’awulira eddoboozi nga lyogera gy’ali nga liva wakati wa bakerubbi ababiri abali waggulu w’entebe ey’okusaasira eri ku Ssanduuko ey’Endagaano. Bw’atyo Mukama bwe yayogera naye.