Skip to content
The Believer's Library

Biblica® Open Luganda Contemporary Bible 2014

Numbers 6 OLCB

Show OLCB only
Verse × ×
1 Then our Father spoke to Moses: Awo Mukama Katonda n’agamba Musa nti,
2 "Speak to the Israelites and say to them: When a man or woman makes a special vow, a Nazirite vow, to set themselves apart to the Father. “Tegeeza abaana ba Isirayiri nti, Omusajja oba omukazi bw’anaabanga ayagala okukola obweyamo obw’enjawulo obutali bwa bulijjo ne yeetukuza ne yeeyawula eri Mukama ng’Omunazaalayiti,
3 They must not drink wine or strong drink, nor vinegar from either, nor any grape juice, nor eat grapes fresh or dried. anaateekwanga obutanywa nvinnyo n’ekyokunywa ekirala kyonna ekitamiiza, era taanywenga nvinnyo wadde ekitamiiza ekirala kyonna ekikaatuuse. Era taalyenga ku bibala bya mizabbibu wadde ensigo zaabyo.
4 During their separation they must eat nothing from the grapevine, from seeds to skin. Ebbanga lyonna ly’anaamalanga nga Munnazaalayiti taalyenga ku kintu kyonna ekiva mu mizabbibu newaakubadde ensigo wadde ebikuta.
5 "During their vow of separation, no razor touches their head. Until it's complete, they stay holy to the Father; they must let their hair grow. “Ebbanga lyonna ly’anaamalanga ng’ali mu bweyamo bwe obwo, kkirita teyitenga ku mutwe gwe. Anaabanga mutukuvu eri Mukama Katonda okutuusa ekiseera kye eky’okweyawula nga kiweddeko; era enviiri ez’oku mutwe gwe anaazirekanga ne zikula ne ziwanvuwa.
6 "Throughout their time of separation to the Father they must not go near a dead body. Ebbanga lyonna ly’anaamalanga mu bweyamo bwe obwo eri Mukama Katonda, taasembererenga muntu afudde.
7 They must not make themselves unclean even for father, mother, brother, or sister when they die, since their dedication crown to our Father is on their head. Newaakubadde kitaawe, oba nnyina, oba muganda we oba mwannyina nga kwe kuli afudde, taabasembererenga alemenga okufuuka atali mulongoofu, kubanga akabonero ak’obweyamo obw’okweyawula eri Katonda kanaabanga kali ku mutwe gwe.
8 Throughout their time of separation they are holy to the Father. Okumala ebbanga lyonna ery’obweyamo bwe obw’okweyawula, anaabanga mutukuvu eri Mukama Katonda.
9 "If someone dies very suddenly beside them, making their dedicated head unclean, they must shave their head on the day of their cleansing—shave it on the seventh day. “Omuntu bw’anaafanga ekikutuko ng’aliraanye omuwonge oyo, bw’atyo n’afuula enviiri ze okuba ezitali nnongoofu, kale, anaamwanga omutwe gwe ku lunaku olw’okwerongoosa, lwe lunaku olw’omusanvu.
10 On the eighth day they must bring two turtledoves or two young pigeons to the priest at the meeting tent's entrance. Ku lunaku olw’omunaana anaaleetanga amayiba abiri oba enjiibwa ento bbiri eri kabona ku mulyango gwa Weema ey’Okukuŋŋaanirangamu.
11 The priest must offer one as a sin offering, the other as a burnt offering, and make atonement for them, because they sinned by being near the dead body. That same day they must rededicate their head. Kabona anaawangayo ekimu ku ebyo ng’ekiweebwayo olw’ekibi, n’ekyokubiri ng’ekiweebwayo ekyokebwa olw’okumutangiririra kubanga yali ayonoonye bwe yaliraana omuntu afudde. Ku lunaku olwo lwe lumu, kw’anaatukulizangako omutwe gwe.
12 They must rededicate to the Father their days of separation and bring a year-old male lamb as a guilt offering; the earlier days don't count—their separation was made unclean. Aneewangayo eri Mukama Katonda okumala ebbanga lyonna ery’obweyamo bwe obw’okweyawula, era anaaleetanga omwana gw’endiga omulume n’aguwaayo ng’ekiweebwayo olw’okusingibwa omusango. Ennaku ezaasooka teziibalibwenga kubanga yafuuka atali mulongoofu mu bbanga ery’obweyamo bwe obw’okweyawula.
13 "This is the law of the Nazirite: when their days of separation end, they must come to the tent of meeting's entrance. “Lino ly’etteeka erinaakwatanga ku Munnazaalayiti ebbanga lye ery’obweyamo obw’okweyawula bwe linaggwangako. Anaaleetebwanga ku mulyango gwa Weema ey’Okukuŋŋaanirangamu.
14 They must bring the Father their offering: one flawless year-old male lamb as a burnt offering, one flawless year-old ewe lamb as a sin offering, and one flawless ram as a peace offering, Anaawangayo ebirabo bye eby’ebiweebwayo eri Mukama Katonda, bye bino: omwana gw’endiga omulume ogw’omwaka ogumu ogw’obukulu ogutaliiko kamogo nga gwe gw’ekiweebwayo ekyokebwa; n’omwana gw’endiga omuluusi ogutaliiko kamogo nga gwe gw’ekiweebwayo olw’ekibi; n’endiga ennume etaliiko kamogo nga ye y’ekiweebwayo olw’emirembe;
15 with a basket of unleavened bread—loaves of fine flour mixed with oil, unleavened wafers coated with oil—plus their grain offering and drink offerings. n’ekibbo ky’emigaati egitali mizimbulukuse; ne kkeeke ezikoleddwa mu buwunga obulungi obutabuddwamu n’amafuta ag’omuzeeyituuni agafumba; n’obusukuuti obw’oluwewere obutali buzimbulukuse obusiigiddwako amafuta ag’omuzeeyituuni, n’ebiweebwayo eby’emmere y’empeke n’ebiweebwayo eby’ebyokunywa.
16 The priest must present them before the Father and offer the sin offering and the burnt offering. “Kabona anaabireetanga awali Mukama Katonda, n’awaayo ekiweebwayo kye olw’ekibi n’ekiweebwayo kye ekyokebwa.
17 He must offer the ram as a peace offering to the Father with the basket of bread without yeast, and offer its grain and drink offerings. Anaawangayo endiga ennume nga ssaddaaka ey’ekiweebwayo olw’emirembe eri Mukama Katonda awamu n’ekibbo ky’emigaati egitali mizimbulukuse; era kabona anaawangayo ekiweebwayo eky’emmere y’empeke n’ekiweebwayo eky’ebyokunywa.
18 At the tent of meeting's entrance, the Nazirite must shave their dedicated head, take the hair of dedication, and put it on the fire under the peace offering. “Omunnazaalayiti anaamweranga omutwe gwe ogw’obuwonge bwe ku mulyango gwa Weema ey’Okukuŋŋaanirangamu; anaddiranga enviiri ezivudde ku mutwe ogw’obuwonge bwe n’azissa ku muliro oguli wansi wa ssaddaaka ey’ekiweebwayo olw’emirembe.
19 The priest takes the boiled ram's shoulder, one unleavened loaf and wafer from the basket, and puts them in the Nazirite's hands after the hair of dedication is shaved off. “Omunnazaalayiti bw’anaamalanga okumwa omutwe gwe ogw’obuwonge bwe, kabona anaddiranga omukono gw’endiga omufumbe, n’aggya ne kkeeke etali nzimbulukuse emu mu kibbo, n’akasukuuti ak’oluwewere akatali kazimbulukuse kamu, n’abimukwasa mu ngalo ze.
20 The priest waves them as a wave offering before our Father—a holy portion for the priest, with the breast that is waved and the thigh that is contributed. Then the Nazirite may drink wine. Kabona anaabiwuubanga nga kye kiweebwayo ekiwuubibwa mu maaso ga Mukama Katonda. Binaabanga bitukuvu era nga bya kabona awamu n’ekifuba ekiwuubibwa n’ekisambi ekinaaweebwangayo. Ebyo bwe binaggwanga, Omunnazaalayiti anaayinzanga okunywa envinnyo.
21 "This is the law of the Nazirite who vows an offering to our Father for their separation, besides whatever else they can afford. They must do according to their vow, per the law of their separation." “Eryo lye tteeka ery’Omunnazaalayiti aneeyamanga okwewaayo eri Mukama Katonda ng’obweyamo bwe obw’okweyawula bwe bunaabanga, ng’agasseeko n’ebirala nga bw’anaasobolanga. Anaateekwanga okutuukiriza obweyamo bwe bwanaabanga akoze, ng’etteeka ly’Omunnazaalayiti bwe liragira.”
22 Then our Father spoke to Moses: Mukama Katonda n’agamba Musa nti,
23 "Tell Aaron and his sons: This is how you are to bless the Israelites. Say to them: “Tegeeza Alooni ne batabani be nti, Bwe muti bwe munaasabiranga abaana ba Isirayiri omukisa: munaabagambanga nti:
24 'May your Father bless you and keep you; “ ‘Mukama Katonda akuwe omukisa, akukuume;
25 may your Father make his face shine upon you and be gracious to you; Mukama Katonda akwakize amaaso ge akukwatirwe ekisa;
26 may your Father look on you with favor and give you peace.' Mukama Katonda akwolekeze amaaso ge akuwe emirembe.’
27 "So they will put my name on the Israelites, and I will bless them." “Bwe batyo banaateekanga erinnya lyange ku baana ba Isirayiri, nange naabawanga omukisa.”
FHB

Scripture from Father’s Heart Bible™. © 2026 Spirit Media Publishing, the imprint of Spirit Media Inc. All rights reserved. In Divine Voice™ Color, the words spoken by our Father show in blue, the words of the Son in red, and the words of the Spirit in purple.

OLCB

Biblica® Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya ekwatiddwa ku katambi™ Obwannannyini© 1984, 1986, 1993, 2014 bwa Biblica, Inc. Biblica® Open Luganda Contemporary Bible™ Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc. “Biblica” Linnya ery’obwannannyini eryawandiisibwa Biblica mu Amerika era nga balina n’ekkakkalabozo, Inc. Bwaweebwa olukusa okulikozesa. “Biblica” is a trademark registered in the United States Patent and Trademark Office by Biblica, Inc. Used with permission.
Biblica® Open Luganda Contemporary Bible 2014 · Creative Commons - Attribution-ShareAlike [CC BY-SA]