Skip to content
The Believer's Library

Biblica® Open Luganda Contemporary Bible 2014

Numbers 5 OLCB

Show OLCB only
Verse × ×
1 Our Father spoke to Moses: Mukama Katonda n’agamba Musa nti,
2 "Command the Israelites to send from the camp everyone with a skin disease, everyone with a discharge, and everyone unclean from a corpse. “Lagira abaana ba Isirayiri buli mugenge bamufulumye ebweru w’olusiisira, na buli alina ekikulukuto ky’omusaayi, n’oyo anaabanga akutte ku mufu.
3 Send away both male and female; send them outside the camp, so they don't make their camp unclean, where I live among them." Abasajja n’abakazi bonna babafulumyenga ebweru w’olusiisira baleme okulufuula olutali lulongoofu, kubanga omwo mwe mbeera.”
4 The Israelites did this, sending them outside the camp; as our Father told Moses, the Israelites did. Awo abaana ba Isirayiri ne bakolanga bwe batyo ne babafulumyanga ebweru w’olusiisira. Ne bakola nga Mukama Katonda bwe yalagira Musa.
5 Then our Father spoke to Moses: Mukama Katonda n’agamba Musa nti,
6 "Tell Israel's people: When a man or woman commits any human sin, betraying me, that person is guilty. “Tegeeza abaana ba Isirayiri nti, ‘Omuntu yenna omusajja oba omukazi bw’anaasobyanga eri munne mu ngeri yonna, bw’atyo anaabanga asobezza eri Mukama Katonda, omuntu oyo anaabangako omusango,
7 They must confess the sin they committed, repay in full for the wrong, add a fifth, and give it to the one they wronged. era asaana ayatule ekibi ekyo ky’anaabanga akoze. Anaaliwanga mu bujjuvu olw’ekibi ekyo ky’anaabanga akoze, n’agattako n’ekitundu ekimu ekyokutaano eky’ebyo by’anaabanga aliye, byonna anaabiwanga oyo gw’anaabanga azizzaako omusango.
8 But if that person has no relative to receive restitution, it belongs to me and goes to the priest, plus the ram of atonement made for the guilty one. Naye singa omuntu oyo azzibbwako omusango taabengawo na waaluganda lwa kumpi, eby’okuliwa ebyo binaabanga bya Mukama Katonda era n’endiga ennume ey’okutangiririra oyo eyazza omusango, binaaweebwanga kabona.
9 Every contribution among all Israel's holy gifts brought to the priest belongs to him. Era ebirabo byonna ebitukuvu abaana ba Isirayiri bye banaaleetanga eri kabona binaabanga bya kabona oyo.
10 Everyone's holy gifts remain their own; what one gives the priest belongs to the priest." Ekirabo kya buli muntu ekitukuvu kinaabanga kikye, naye ekyo ky’anaaleeteranga kabona kinaabanga kya kabona.’ ”
11 Then our Father spoke to Moses: Mukama Katonda n’agamba Musa nti,
12 "Speak to the Israelites and tell them: If any man's wife goes astray and is unfaithful to him, “Tegeeza abaana ba Isirayiri nti, Muka omusajja yenna bw’anaakyamanga n’akola ebitali bya bwesigwa eri bba
13 if another man sleeps with her, hidden from her husband, and she goes undetected though unclean—no witness against her, not caught in the act, ne yeebaka n’omusajja omulala nga bba tategedde, omusajja oyo n’amusobyako, ekikolwa ekyo ne kitamanyibwa, kubanga tewali mujulizi akirabye era nga tebabakutte nga bakikola;
14 a spirit of jealousy comes over the husband, and he is jealous of his wife, who is unclean; or a spirit of jealousy comes over him, and he is jealous though she is not unclean. singa omusajja akwatibwa ebbuba n’ateebereza nti osanga mukazi we baamusobezzaako, oba ebbuba ne limukwata newaakubadde nga mukazi we tebaamusobezzaako,
15 The man must bring his wife to the priest, along with her offering: about two quarts of barley flour. He must pour no oil on it and put no frankincense on it, because it is a grain offering of jealousy, a grain offering of remembrance, recalling guilt. kale anaaleetanga mukazi we eri kabona. Anaaleetanga n’ekyokuwaayo ku lwa mukazi we ekitundu kimu eky’ekkumi ekya efa eky’obuwunga bw’emmere eyitibwa sayiri. Obuwunga obwo taabufukengako mafuta ag’omuzeeyituuni wadde okubussaamu ebyakawoowo, kubanga bwe buwunga obuweereddwayo ku nsonga y’ebbuba, nga kye kiweebwayo eky’okujjukiza nti waliwo omusango ogwazzibwa.
16 The priest is to bring her near and set her before our Father. “Kabona anaasembezanga omukazi oyo n’amuleeta n’amuyimiriza mu maaso ga Mukama Katonda.
17 The priest is to take holy water in a clay jar, take dust from the tabernacle floor, and put it into the water. Anaddiranga amazzi amatukuvu nga gali mu kijaagi eky’ebbumba n’ateeka mu mazzi ago enfuufu gy’anaggyanga wansi mu Weema.
18 The priest is to stand the woman before our Father, unbind her hair, and put in her hands the grain offering of remembrance—the jealousy offering—while he holds the bitter, curse-bringing water. Kabona bw’anaamalanga okuyimiriza omukazi oyo mu maaso ga Mukama Katonda, anaamusumululanga enviiri ze n’azita ne zikka, n’amukwasa ekiweebwayo eky’okujjukiza eky’emmere y’empeke ekiweereddwayo olw’obuggya, ye kabona ng’akutte amazzi agakaawa agaleeta ekikolimo.
19 The priest is to put her under oath and say to her: 'If no man has slept with you, and you have not gone astray and made yourself unclean under your husband's authority, be free from this bitter water that brings the curse. Kabona anaalayizanga omukazi oyo n’amugamba bw’ati nti, ‘Obanga tewali musajja yenna eyeebase naawe mu kyama n’ofuuka atali mulongoofu songa oli mu bufumbo ewa balo, amazzi agakaawa gano agaleeta ekikolimo tegaakukole kabi.’
20 But if you strayed under your husband, made yourself unclean, and a man besides your husband slept with you.' Naye bw’onoowabanga ne weebaka n’omusajja atali balo, bw’otyo ne weeyonoonyesa,
21 Then the priest is to bind the woman by this curse-oath, saying: May the Father turn you into a curse and a disgrace among your people, as he makes your thigh shrivel and your belly swell. wano kabona anaalayizanga omukazi ekirayiro eky’ekikolimo n’amugamba nti, ‘Mukama Katonda aleetere abantu bo okukukolimira n’okukuboola bw’anaakoozimbyanga ekisambi kyo n’olubuto lwo n’aluleetera entumbi ne luzimba.
22 May this curse-bringing water enter your body, swelling your belly and wasting your thigh. Then the woman must say, 'Amen, amen.' Amazzi gano agaleeta ekikolimo gayingirenga mu mubiri gwo gazimbye olubuto lwo era n’ekisambi kyo kikoozimbe.’ “Omukazi anaddangamu nti, ‘Amiina, Amiina.’
23 "Then the priest writes these curses on a scroll and washes them off into the bitter water. “ ‘Kabona anaawandiikanga ebikolimo ebyo ku muzingo n’abyozaako mu mazzi agakaawa.
24 He is to make the woman drink the bitter, cursing water; the cursing water will enter her, causing bitter suffering. Anaanywesanga omukazi amazzi agakaawa agaleeta ekikolimo, era amazzi ago ganaayingiranga mu mukazi oyo ne gamuleetera obulumi n’okubonaabona mu mubiri.
25 The priest takes the jealousy grain offering from her hand, waves it before our Father, and brings it to the altar. Awo kabona anaggyangako omukazi oyo ekiweebwayo eky’empeke olw’obuggya, anaawuubanga ekiweebwayo ekyo eky’empeke mu maaso ga Mukama Katonda, n’akireeta ku kyoto.
26 The priest takes a handful of the grain offering, its memorial portion, burns it on the altar, then makes the woman drink the water. Kabona anaddiranga olubatu lw’obuwunga obw’ekiweebwayo ng’ekiweebwayo olw’okujjukira n’akyokya ku kyoto; ebyo nga biwedde anaanywesanga omukazi amazzi gali.
27 After he makes her drink the water, if she has made herself unclean and betrayed her husband, the curse-bringing water will enter her, causing bitter suffering: her belly will swell, her thigh wither, and she will become a curse among her people. Bw’anaamalanga okumunywesa amazzi ago, kale bw’anaabanga yeeyonoonyesezza nga tabadde mwesigwa eri bba, amazzi ago agaleeta ekikolimo ganaayingiranga mu mubiri gw’omukazi oyo ne gamuleetera obulumi obubalagala; olubuto lwe lunaazimbulukukanga n’ekisambi kye ne kikoozimba, era anaafuukanga omukolimire mu bantu b’ewaabwe.
28 But if the woman has not made herself unclean and is clean, she is cleared and will conceive children. Naye omukazi oyo bw’anaabanga teyeeyonoonyesa nga mulongoofu, kale taabeerengako musango, era anaabanga wa ddembe okuzaala abaana.’
29 "This is the law of jealousy: when a wife under her husband strays and makes herself unclean, “ ‘Eryo lye tteeka ery’obuggya, omukazi bw’anaakyamanga ne yeeyonoona songa mufumbo aliko bba,
30 or when a spirit of jealousy seizes a man and he is jealous of his wife: he is to stand her before our Father, and the priest is to apply this whole law to her. oba omusajja bw’anaayingirangamu omwoyo ogw’ebbuba, n’akwatirwa mukazi we obuggya; kale anaaleetanga mukazi we oyo eri Mukama Katonda, kabona n’alyoka assa etteeka eryo mu nkola ku mukazi oyo.
31 The husband will be free from guilt, but the woman will answer for her own sin." Balo taabengako kyonoono ku nsonga ezo wabula mukazi we y’anaabangako omusango olw’okwonoona kwe.’ ”
FHB

Scripture from Father’s Heart Bible™. © 2026 Spirit Media Publishing, the imprint of Spirit Media Inc. All rights reserved. In Divine Voice™ Color, the words spoken by our Father show in blue, the words of the Son in red, and the words of the Spirit in purple.

OLCB

Biblica® Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya ekwatiddwa ku katambi™ Obwannannyini© 1984, 1986, 1993, 2014 bwa Biblica, Inc. Biblica® Open Luganda Contemporary Bible™ Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc. “Biblica” Linnya ery’obwannannyini eryawandiisibwa Biblica mu Amerika era nga balina n’ekkakkalabozo, Inc. Bwaweebwa olukusa okulikozesa. “Biblica” is a trademark registered in the United States Patent and Trademark Office by Biblica, Inc. Used with permission.
Biblica® Open Luganda Contemporary Bible 2014 · Creative Commons - Attribution-ShareAlike [CC BY-SA]