Skip to content
The Believer's Library

Biblica® Open Luganda Contemporary Bible 2014

Numbers 4 OLCB

Show OLCB only
Verse × ×
1 Our Father spoke to Moses and Aaron, saying: Mukama Katonda n’agamba Musa ne Alooni nti,
2 "Count the Kohathites among the Levites, by clan and ancestral house. “Mubale batabani ba Kokasi abava mu kika ky’Abaleevi, ng’empya zaabwe n’ennyumba z’abakadde baabwe bwe ziri.
3 From thirty to fifty years old, all who enter the service to work in the tent of meeting. Mubabale nga muva ku basajja ab’emyaka amakumi asatu egy’obukulu okutuuka ku b’emyaka amakumi ataano, abayinza okuyingira mu buweereza obw’okukola emirimu mu Weema ey’Okukuŋŋaanirangamu.
4 "This is the service of Kohath's sons in the tent of meeting: the most holy things. “Gino gye mirimu eginaakolwanga batabani ba Kokasi mu Weema ey’Okukuŋŋaanirangamu: nga gya kulabirira ebintu ebitukuvu ennyo.
5 When the camp moves, Aaron and his sons take down the screening curtain and cover the ark of the testimony with it. Olusiisira bwe lunaabanga lusitula, Alooni ne batabani be banaayingirangamu, ne batimbulula eggigi ery’olutimbe ne balibikka ku Ssanduuko ey’Endagaano.
6 They are to cover it with fine leather, spread an all-blue cloth over that, and set its poles. Okwo banaabikkangako amaliba ga lukwata, kuno ne babikkako olugoye olwa bbululu omuka, ne balyoka basonsekamu emisituliro gyayo.
7 "On the table of the Presence they'll spread a blue cloth, put the plates, dishes, bowls, and pouring jars on it; the regular bread stays on it. “Ku mmeeza ey’Emigaati egy’Okulaga banaayaliirangako ekitambala ekya bbululu, ne bassaako amasowaane, n’ebijiiko ebinene, n’amabakuli, n’ejaagi omunaabeeranga ebiweebwayo ebyokunywa; n’emigaati egy’okulaga nagyo ginaabeeranga okwo.
8 They are to spread a scarlet cloth over them, cover it with fine leather, and fit its poles. Banaayaliirangako ekitambaala ekimyufu ennyo, ne bakibikkako amaliba ga lukwata; ne basonsekamu emisituliro gyayo.
9 "They will take a blue cloth, cover the lampstand of light, its lamps, tongs, trays, and all its oil vessels used to service it. “Banaddiranga ekitambaala ekya bbululu ne bakibikka ku kikondo ky’ettaala kwe zinaayakiranga, n’ettabaaza zaako, n’ebikomola entambi n’ensuniya ez’ebisirinza, n’ejaagi ez’amafuta ag’omuzeeyituuni aganaakozesebwanga mu ttaala ezo.
10 They are to wrap it and all its vessels in fine leather and set it on the carrying frame. Ekikondo n’ebigenderako byonna binaasibibwanga mu maliba ga lukwata ne biteekebwa ku musituliro.
11 "Over the golden altar they are to spread blue cloth, cover it with fine leather, and insert its poles. “Banaayaliiranga olugoye olwa bbululu ku kyoto ekya zaabu, okwo ne babikkako amaliba ga lukwata, ne basonsekamu emisituliro gyakyo.
12 They must take all the service utensils used in the sanctuary, put them in blue cloth, cover with fine leather, and place them on the pole. “Banaddiranga ebintu byonna ebinaakozesebwanga ku mirimu gy’obuweereza mu watukuvu ne babiteeka mu lugoye olwa bbululu ne babibikkako amaliba ga lukwata, ne babiteeka ku misituliro gyabyo.
13 "They are to remove the ashes from the altar and spread a purple cloth over it. Ekyoto banaakiggyangamu evvu ne bakibikkako olugoye olwa ffulungu;
14 On it they are to put all its serving vessels—firepans, forks, shovels, basins, all the altar's vessels—then spread over it a fine leather covering and insert its poles. ne balyoka bakissaako ebintu byonna ebikozesebwa mu mirimu gy’oku kyoto, nga mwe muli ensiniya ez’omuliro, n’ewuuma, n’ebijiiko n’ebibya. Okwo banaabikkangako amaliba ga lukwata, ne balyoka basonsekamu emisituliro gyakyo.
15 "When Aaron and his sons finish covering the holy things and all vessels of the holy place, and the camp sets out, Kohath's sons come to carry them, but they must not touch the holy things or die. These are Kohath's sons' burdens in the tent of meeting. “Alooni ne batabani be bwe banaamalanga okusibako awatukuvu ne byonna ebibeeramu, nga n’ekiseera ky’olusiisira okusitula mu lugendo kituuse; awo batabani ba Kokasi banajjanga ne babisitula, naye ekintu kyonna ekitukuvu tebakikwatangako, baleme okufa. Ebyo bye bintu eby’omu Weema ey’Okukuŋŋaanirangamu batabani ba Kokasi bye baneetikkanga.
16 "Eleazar son of Aaron the priest is responsible for the lamp oil, fragrant incense, daily grain offering, and anointing oil—responsible for the whole tabernacle, everything in it, the sanctuary and its furnishings." “Eriyazaali, mutabani wa Alooni kabona, y’anaabeeranga n’obuvunaanyizibwa obw’amafuta g’ettaala ag’omuzeeyituuni, n’obubaane obwakaloosa, n’ekiweebwayo eky’okulaga eky’emmere ey’empeke, n’amafuta ag’omuzeeyituuni ag’okwawula. Era y’anaalabiriranga Eweema ya Mukama ne byonna ebigirimu, n’awatukuvu ne byonna ebikozesezebwamu.”
17 Our Father spoke to Moses and Aaron, saying: Mukama Katonda n’agamba Musa ne Alooni nti,
18 "Do not let the tribe of the Kohathite clans be cut off from among the Levites. “Mwegendereze ab’omu mpya z’ennyumba z’Abakokasi baleme okukutulwa ku kika ky’Abaleevi.
19 Do this for them so they live and not die when they approach the most holy things: Aaron and his sons must enter, assigning each his task and burden. Ekyo munaakibakoleranga, bwe batyo bwe banaasembereranga ebintu ebitukuvu ennyo balemenga okufa, naye basigalenga nga balamu. Alooni ne batabani be banaayingiranga mu watukuvu ne bagabira buli Mukokasi omulimu gwe n’ebyo by’aneetikkanga.
20 But they must not go in and look at the holy things, even for a moment, or they will die." Naye Abakokasi tebaayingirenga munda kutunula ku bintu ebitukuvu, wadde n’eddakiika emu, balemenga okufa.”
21 Our Father spoke to Moses, saying: Mukama Katonda n’agamba Musa nti,
22 "Take a census of the sons of Gershon also, by their fathers' houses and their clans. “Bala ne batabani ba Gerusoni ng’empya zaabwe n’ennyumba z’abakadde baabwe bwe ziri.
23 Count those thirty to fifty years old who serve, doing work at the tent of meeting. Babale ng’otandikira ku basajja ab’emyaka amakumi asatu egy’obukulu okutuuka ku b’emyaka amakumi ataano, abayinza okuyingira mu buweereza obw’okukola emirimu egya Weema ey’Okukuŋŋaanirangamu.
24 "This is the service of the clans of the Gershonites, in serving and in carrying: “Gino gye mirimu eginaakolebwanga ab’omu mpya z’Abagerusoni mu kuweereza era ne mu kwetikka emigugu:
25 They carry the tabernacle's curtains, the tent of meeting, its covering, the fine-leather covering over it, and the screen for the tent of meeting's entrance, Baneetikkanga entimbe ez’omu Weema ya Mukama, y’Eweema ey’Okukuŋŋaanirangamu n’ebigibikkako, n’amaliba aga lukwata agabikkibwa kungulu kwayo, n’entimbe ez’omu mulyango gwa Weema ey’Okukuŋŋaanirangamu,
26 the courtyard curtains, the entrance screen for the courtyard gate, surrounding tabernacle and altar, their cords, and all their service equipment—they are to do whatever these need. n’entimbe ez’omu luggya olwebungulula Weema ya Mukama n’ekyoto, n’olutimbe lw’omulyango gw’oluggya, n’emiguwa, ne byonna ebinaakozesebwanga mu kuweereza okwo. Abagerusoni banaakolanga byonna ebineetaagibwanga okukola ku bintu ebyo.
27 Aaron and his sons direct all the Gershonites' service—their carrying and duties; assign them all they must carry. Mu kuweereza kwonna okw’Abagerusoni, oba mu kwetikka oba mu kukola emirimu egy’engeri endala, Alooni ne batabani be, be banaabalagiranga. Abagerusoni ojjanga kubakwasa obuvunaanyizibwa bwonna ku ebyo bye baneetikkanga.
28 This is the service of the Gershonite clans at the tent of meeting, their duty under Ithamar son of Aaron the priest. Obwo bwe buweereza bwa batabani ba Gerusoni nga bukwata ku Weema ey’Okukuŋŋaanirangamu. Bye banaakolanga binaalabirirwanga Isamaali mutabani wa Alooni kabona.
29 "As for the sons of Merari, you are to count them by their clans and their fathers' houses. “Batabani ba Merali nabo babale ng’empya zaabwe n’ennyumba z’abakadde baabwe bwe ziri.
30 Count everyone thirty to fifty years old who enters the service to work at the tent of meeting. Babale ng’otandikira ku basajja ab’emyaka amakumi asatu egy’obukulu okutuuka ku b’emyaka amakumi ataano, abayinza okuyingira mu buweereza obw’okukola emirimu egya Weema ey’Okukuŋŋaanirangamu.
31 This is their task, their service at the meeting tent: the frames, bars, posts, and bases of the tabernacle. Gino gye ginaabanga emirimu gyabwe egikwata ku Weema ey’Okukuŋŋaanirangamu: okusitula omudaala gwa Weema ya Mukama, n’embaawo zaayo, n’empagi n’ebibya mwe zituula,
32 The courtyard's pillars all around, with their bases, pegs, and cords, all their equipment and service—assign by name what each must carry. awamu n’empagi ezeebungulula oluggya n’ebibya byazo mwe zituula, n’enkondo z’eweema, n’emiguwa, ne byonna ebyetaagibwa okukozesebwa ku mirimu egyo. Buli musajja onoomutegeezanga amannya g’ebintu byennyini by’ajjanga okwetikka.
33 This is the Merarite clans' service in the Tent of Meeting, under Ithamar son of Aaron the priest." Egyo gye ginaabanga emirimu gy’omu mpya z’abaana ba Merali nga bali mu buweereza bwabwe obwa Weema ey’Okukuŋŋaanirangamu, nga bakulemberwa Isamaali mutabani wa Alooni kabona.”
34 So Moses, Aaron, and the leaders of the congregation counted the sons of the Kohathites by their clans and their families, Awo Musa ne Alooni n’abakulembeze b’abantu ne babala batabani b’Abakokasi ng’empya zaabwe n’ennyumba z’abakadde baabwe bwe zaali.
35 thirty to fifty years old, all who joined the service for work in the tent of meeting. Ne bababala nga batandikira ku basajja ab’emyaka amakumi asatu egy’obukulu okutuuka ku myaka amakumi ataano, abajja okuweereza mu Weema ey’Okukuŋŋaanirangamu,
36 Those counted by their clans were 2,750. nga bababala ng’empya zaabwe bwe zaali; baawera enkumi bbiri mu lusanvu mu amakumi ataano (2,750).
37 The count of Kohathite clans, all who served in the tent of meeting, whom Moses and Aaron counted at our Father's command through Moses. Ogwo gwe gwali omuwendo gwonna ogw’abo abaali mu mpya z’Abakokasi abaaweerezanga mu Weema ey’Okukuŋŋaanirangamu. Musa ne Alooni baababala nga Mukama bwe yalagira Musa.
38 Those counted of the sons of Gershon, by their clans and their fathers' houses, Batabani ba Gerusoni nabo baabalibwa ng’empya zaabwe bwe zaali n’ennyumba z’abakadde baabwe bwe zaali.
39 from thirty to fifty years old, all who entered service work at the tent of meeting. Abasajja bonna okuva ku b’emyaka amakumi asatu egy’obukulu okutuuka ku b’emyaka amakumi ataano abaaweerezanga mu mirimu egy’omu Weema ey’Okukuŋŋaanirangamu,
40 Those counted by their clans and their fathers' houses were 2,630. baabalibwa ng’empya zaabwe n’ennyumba z’abakadde baabwe bwe zaali, ne bawera enkumi bbiri mu lukaaga mu amakumi asatu (2,630).
41 These were counted from the Gershonite clans, all who served in the tent of meeting, whom Moses and Aaron counted at our Father's command. Ogwo gwe gwali omuwendo gwonna ogwa batabani ba Gerusoni abaali mu mpya za Abagerusoni abaaweerezanga mu Weema ey’Okukuŋŋaanirangamu. Musa ne Alooni baababala nga Mukama Katonda bwe yalagira Musa.
42 Those counted of the clans of the sons of Merari, by their clans and their fathers' houses, Batabani ba Merali baabalibwa ng’empya zaabwe n’ennyumba z’abakadde baabwe bwe zaali.
43 from age thirty to fifty, all who entered service for work in the tent of meeting, Abasajja bonna okuva ku b’emyaka amakumi asatu egy’obukulu okutuuka ku b’emyaka amakumi ataano abajja okuweereza mu mirimu gy’omu Weema ey’Okukuŋŋaanirangamu,
44 those counted by their clans were 3,200. abaabalibwa ng’empya zaabwe bwe zaali baali bawera enkumi ssatu mu ebikumi bibiri (3,200).
45 These were counted of the clans of Merari's sons, whom Moses and Aaron counted at our Father's command through Moses. Ogwo gwe gwali omuwendo gwonna ogwabalibwa ogw’omu mpya za batabani ba Merali. Musa ne Alooni baababala nga Mukama Katonda bwe yalagira Musa.
46 All those whom Moses, Aaron, and Israel's leaders counted among the Levites, by clans and ancestral houses. Bwe batyo Musa ne Alooni n’abakulembeze ba Isirayiri ne babala Abaleevi bonna mu mpya zaabwe ne mu nnyumba z’abakadde baabwe.
47 From thirty to fifty years old, everyone who served and carried loads in the tent of meeting. Abasajja bonna okuva ku b’emyaka amakumi asatu egy’obukulu okutuuka ku b’emyaka amakumi ataano abajja okuweereza mu mirimu egy’omu Weema ey’Okukuŋŋaanirangamu,
48 Those counted were 8,580. abaabalibwa baawera kanaana mu ebikumi bitaano mu kinaana (8,580).
49 By our Father's command, Moses appointed each to his service and burden, and counted them, as our Father commanded Moses. Buli musajja yaweebwa omulimu ogw’okukola n’ategeezebwa ky’aneetikka, nga Mukama Katonda bwe yalagira Musa. Bwe batyo bonna ne babalibwa nga Mukama Katonda bwe yalagira Musa.
FHB

Scripture from Father’s Heart Bible™. © 2026 Spirit Media Publishing, the imprint of Spirit Media Inc. All rights reserved. In Divine Voice™ Color, the words spoken by our Father show in blue, the words of the Son in red, and the words of the Spirit in purple.

OLCB

Biblica® Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya ekwatiddwa ku katambi™ Obwannannyini© 1984, 1986, 1993, 2014 bwa Biblica, Inc. Biblica® Open Luganda Contemporary Bible™ Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc. “Biblica” Linnya ery’obwannannyini eryawandiisibwa Biblica mu Amerika era nga balina n’ekkakkalabozo, Inc. Bwaweebwa olukusa okulikozesa. “Biblica” is a trademark registered in the United States Patent and Trademark Office by Biblica, Inc. Used with permission.
Biblica® Open Luganda Contemporary Bible 2014 · Creative Commons - Attribution-ShareAlike [CC BY-SA]