Skip to content
The Believer's Library

Biblica® Open Luganda Contemporary Bible 2014

Numbers 3 OLCB

Show OLCB only
Verse × ×
1 This is the family line of Aaron and Moses, when our Father spoke with Moses on Mount Sinai. Luno lwe lulyo lwa Alooni n’olwa Musa mu biseera Mukama mwe yayogerera ne Musa ku Lusozi Sinaayi.
2 These are the names of the sons of Aaron: Nadab the firstborn, then Abihu, Eleazar, and Ithamar. Gano ge mannya ga batabani ba Alooni: Nadabu, omubereberye, ne Abiku, ne Eriyazaali, ne Isamaali.
3 These are the names of Aaron's sons, the anointed priests whom Moses ordained to serve as priests. Ago ge mannya ga batabani ba Alooni, abaafukibwako amafuta ag’omuzeeyituuni okuba bakabona, era abaayawulibwa okuweereza mu mulimu gw’obwakabona.
4 Nadab and Abihu died before our Father in the wilderness of Sinai when they offered unauthorized fire before him; they had no children. So Eleazar and Ithamar served as priests before Aaron their father. Naye nno Nadabu ne Abiku baatondokera mu maaso ga Mukama ne bafa, kubanga baayokya ekiweebwayo eri Mukama Katonda n’omuliro ogutakkirizibwa nga bali mu ddungu ly’e Sinaayi. Tebaalina baana; bwe batyo, Eriyazaali ne Isamaali ne basigala nga be bokka abaaweerezanga nga bakabona ebbanga lyonna kitaabwe Alooni lye yamala nga mulamu.
5 Then our Father said to Moses: Awo Mukama Katonda n’agamba Musa nti,
6 "Bring the tribe of Levi near and set them before Aaron the priest, to serve him. “Leeta ab’omu kika kya Leevi obakwase Alooni kabona bamuweerezenga.
7 They are to keep his duties and those of the whole community before the tent of meeting, performing the tabernacle's service. Banaamukoleranga emirimu era ne baweereza n’ekibiina kyonna awali Eweema ey’Okukuŋŋaanirangamu, nga bakola emirimu awali Eweema ya Mukama.
8 They are to guard all the tent of meeting's equipment and the Israelites' duty, doing the tabernacle's service. Banaalabiriranga ebintu byonna eby’omu Weema ey’Okukuŋŋaanirangamu, ne bakola emirimu gy’omu Weema ya Mukama nga batuukiriza ebyo byonna ebivunaanyizibwa abaana ba Isirayiri.
9 Give the Levites to Aaron and his sons; they are given entirely to him from among Israel's people. Abaleevi onoobawanga eri Alooni ne batabani be; baweereddwa ddala Alooni nga baggyibwa mu baana ba Isirayiri.
10 Appoint Aaron and his sons to guard their priesthood; any outsider who comes near must die." Onoolonda Alooni ne batabani be okubeera bakabona; naye bwe wanaabangawo omuntu omulala yenna n’asembera awatukuvu, anaafanga.”
11 Then our Father said to Moses: Mukama Katonda n’ayongera okugamba Musa nti,
12 "Look, I have taken the Levites from among the Israelites in place of every firstborn that opens the womb among the Israelites. The Levites are mine. “Laba, neetwalidde Abaleevi nga mbaggya mu baana ba Isirayiri mu kifo ky’abaana ababereberye abazaalibwa abakazi mu baana ba Isirayiri. Abaleevi banaabanga bange,
13 Every firstborn is mine. The day I struck down every firstborn in Egypt, I set apart for myself every firstborn in Israel—both man and animal. They will be mine. I am your Father." kubanga byonna ebizaalibwa ebibereberye byange. Bwe natta ebibereberye byonna mu nsi y’e Misiri neeyawulira ebibereberye byonna mu Isirayiri okubeeranga ebyange, abantu n’ebisolo. Nze Mukama Katonda.”
14 Then our Father spoke to Moses in the wilderness of Sinai: Awo Mukama Katonda n’agamba Musa mu ddungu ly’e Sinaayi nti,
15 "Count Levi's sons by fathers' houses and clans; count every male a month old and up." “Bala Abaleevi bonna mu mpya zaabwe ne mu bika byabwe. Bala buli mwana mulenzi ow’omwezi ogumu n’okusingawo.”
16 So Moses counted them at the word of our Father, just as he had been commanded. Bw’atyo Musa n’ababala nga Mukama Katonda bwe yamulagira, ng’ekigambo kya Mukama bwe kyali.
17 These were the sons of Levi by their names: Gershon, Kohath, and Merari. Gano ge mannya ga batabani ba Leevi: Gerusoni, ne Kokasi, ne Merali.
18 These are the names of the sons of Gershon by their clans: Libni and Shimei. Gano ge mannya g’abatabani ba Gerusoni ng’empya zaabwe bwe zaali: Libuni ne Simeeyi.
19 The sons of Kohath by their clans: Amram, Izhar, Hebron, and Uzziel. Bano be batabani ba Kokasi ng’empya zaabwe bwe zaali: Amulaamu, ne Izukali ne Kebbulooni, ne Wuziyeeri.
20 Merari's sons by clan: Mahli and Mushi. These are the Levite clans by fathers' houses. Bano be batabani ba Merali ng’empya zaabwe bwe zaali: Makuli ne Musi. Ebyo bye bika by’Abaleevi ng’empya za bakitaabwe bwe zaali.
21 From Gershon: the Libnite clan and the Shimeite clan—these are the Gershonite clans. Mu Gerusoni mwe mwava oluggya lwa Abalibuni n’oluggya lwa Abasimeeyi; ezo nga z’empya za Abagerusoni.
22 The number of males counted, a month old or older, was 7,500. Abaana aboobulenzi okuva ku w’omwezi ogumu ogw’obukulu n’okusingawo abaabalibwa baali kasanvu mu ebikumi bitaano (7,500).
23 The clans of the Gershonites camped behind the tabernacle on the west. Ab’omu Gerusoni nga baakusiisiranga ku ludda olw’ebugwanjuba emmanju wa Weema ya Mukama.
24 The leader of the fathers' house of the Gershonites was Eliasaph son of Lael. Omukulembeze w’empya za Abagerusoni yali Eriyasaafu mutabani wa Laeri.
25 Gershon's sons at the tent of meeting cared for the tabernacle, the tent, its covering, and the entrance screen of the tent of meeting. Abagerusoni be banaabanga n’obuvunaanyizibwa obw’okulabirira Eweema ey’Okukuŋŋaanirangamu, nga balabirira ebigibikkako n’eggigi ery’omu mulyango oguyingira mu Weema,
26 The courtyard's curtains and its entrance screen, surrounding the tabernacle and altar, and its cords for all its service. n’entimbe ez’omu luggya, n’entimbe ez’omu mizigo egiggulira ku luggya okwebungulula Weema n’ekyoto. Era banaalabiriranga n’emiguwa awamu n’ebintu byonna ebinaakozesebwanga ku mirimu egyo.
27 From Kohath came the Amramite clan, the Izharite clan, the Hebronite clan, and the Uzzielite clan; these are the clans of the Kohathites. Mu Kokasi mwe mwava oluggya lwa Abamulaamu, n’oluggya lwa Abayizukaali, n’oluggya lwa Abakebbulooni, n’oluggya lwa Abawuziyeeri; ezo z’empya za Abakokasi.
28 Males a month old and up numbered 8,600, in charge of the sanctuary. Abaana aboobulenzi okuva ku w’omwezi ogumu ogw’obukulu n’okusingawo abaabalibwa baali kanaana mu lukaaga (8,600). Abakokasi be baweebwa obuvunaanyizibwa okulabiriranga awatukuvu.
29 The clans of the sons of Kohath camped on the south side of the tabernacle. Ab’omu Kokasi nga baakusiisiranga ku ludda olw’obukiikaddyo obwa Weema ya Mukama.
30 The leader of the fathers' house of the Kohathite clans was Elizaphan son of Uzziel. Omukulembeze w’empya za Abakokasi yali Erizafani mutabani wa Wuziyeeri.
31 They cared for the ark, the table, the lampstand, the altars, the sanctuary vessels used in service, the screen, and all its work. Abakokasi be baabanga n’obuvunaanyizibwa okulabirira Essanduuko ey’Endagaano, n’emmeeza, n’ekikondo ky’ettaala, n’ebyoto, n’ebintu eby’omu watukuvu ebikozesebwa mu kuweereza, n’eggigi; n’emirimu gyonna egyekuusa ku buweereza obwo.
32 Eleazar son of Aaron the priest was chief leader of the Levites, in charge of those guarding the sanctuary. Eriyazaali mutabani wa Alooni kabona ye yalondebwa okuba omukulu w’abakulembeze ba Abaleevi, era n’okulabirira abo abaaweerezanga mu watukuvu.
33 From Merari: the Mahlite clan and the Mushite clan—these are Merari's clans. Mu Merali mwe mwava oluggya lwa Abamakuli n’oluggya lwa Abamusi; ezo nga ze mpya za Abamerali.
34 The number of males counted, a month old or older, was 6,200. Abaana aboobulenzi okuva ku w’omwezi ogumu n’okusingawo abaabalibwa baali kakaaga mu ebikumi bibiri (6,200).
35 Leader of Merarite clans' ancestral house: Zuriel son of Abihail; they camped on the tabernacle's north side. Omukulembeze w’empya za Abamerali yali Zuliyeeri mutabani wa Abikayiri; Abamerali nga baakusiisiranga ku bukiikaddyo obwa Weema ya Mukama.
36 Merari's sons were charged with the tabernacle's frames, crossbars, posts, bases, all its equipment, and all its service, Be baavunaanyizibwanga emikiikiro, n’empagi, n’ebikondo, n’ebikwata ku Weema ya Mukama byonna n’ebyekuusa ku mirimu gyayo.
37 as well as the posts of the surrounding courtyard with their bases, pegs, and cords. Okwo baagattangako empagi zonna ezeebunguludde oluggya n’entobo zaazo, n’enkondo za Weema n’emiguwa.
38 Camped east of the tabernacle, in front of the tent of meeting toward sunrise, were Moses, Aaron, and his sons, who kept charge of the sanctuary for the Israelites; any outsider who approached was to be put to death. Musa ne Alooni ne batabani baabwe baasiisiranga ku ludda olw’ebuvanjuba olwa Weema ya Mukama, okwolekera enjuba gy’eva mu maaso ga Weema ya Mukama ey’Okukuŋŋaanirangamu. Baavunaanyizibwanga okulabirira awatukuvu ku lw’abaana ba Isirayiri. Omuntu omulala yenna eyasembereranga awatukuvu, ng’ateekwa kufa.
39 All the Levites whom Moses and Aaron counted at our Father's command, by their clans, every male a month old and up: 22,000. Omuwendo gwonna ogw’Abaleevi abaabalibwa ng’empya zaabwe bwe zaali, nga mwe muli abaana aboobulenzi okuva ku w’omwezi ogumu n’okusingawo, nga Mukama Katonda bwe yalagira Musa ne Alooni, baali emitwalo ebiri mu enkumi bbiri (22,000).
40 Then our Father said to Moses, "Count every firstborn male of Israel a month old or older, and record the number of their names. Mukama Katonda n’agamba Musa nti, “Bala abaana ba Isirayiri bonna aboobulenzi ababereberye okuva ku mwana ow’omwezi ogumu n’okusingawo okole olukalala lw’amannya gaabwe gonna.
41 Take the Levites for me—I am your Father—in place of every firstborn among the people of Israel, and the Levites' livestock in place of every firstborn among Israel's livestock." Era ojja kunfunira Abaleevi mu kifo ky’ababereberye ab’abaana ba Isirayiri, era onfunire n’ente ez’Abaleevi mu kifo ky’ente ez’abaana ba Isirayiri embereberye. Nze Mukama Katonda.”
42 So Moses counted every firstborn among the people of Israel, just as our Father had commanded him. Awo Musa n’abala abaana ba Isirayiri ababereberye nga Mukama Katonda bwe yamulagira.
43 All firstborn males, a month or older, listed by name: 22,273. Okugatta awamu abaana aboobulenzi ababereberye bonna okuva ku w’omwezi ogumu n’okusingawo abaabalibwa, nga n’amannya gaabwe gawandiikiddwa ku lukalala, baali emitwalo ebiri mu enkumi bbiri mu ebikumi bibiri mu nsanvu mu basatu.
44 Then our Father spoke to Moses: Awo Mukama Katonda n’agamba Musa nti,
45 "Take the Levites instead of every firstborn among Israel's people, and the Levites' livestock instead of theirs. The Levites will be mine. I am your Father. “Nfunira Abaleevi badde mu kifo ky’abaana ba Isirayiri ababereberye, n’ente z’Abaleevi zidde mu kifo ky’ente z’abaana ba Isirayiri, era Abaleevi banaabanga bange. Nze Mukama Katonda.
46 To redeem the 273 firstborn Israelites exceeding the Levites' count. Okununula ababereberye ab’abaana ba Isirayiri ebikumi ebibiri mu ensanvu mu abasatu abasukkirira ku muwendo gw’Abaleevi abasajja,
47 Collect about 2 ounces per person, by sanctuary standard (each measure about half an ounce of silver). onoddiranga gulaamu amakumi ataano mu ttaano ku buli omu, ng’ogeraageranyiza ku gulaamu kkumi n’emu ey’awatukuvu nga bw’eri, ye sekeri ey’obuzito ze gulaamu kkumi n’emu n’ekitundu.
48 Give the money to Aaron and his sons as the redemption price for the extra firstborn sons." Ensimbi ez’okununula abaana ba Isirayiri abasukkiriramu oziwanga Alooni ne batabani be.”
49 So Moses collected the redemption money from the firstborn sons who exceeded the number of the Levites; Bw’atyo Musa n’asolooza ensimbi ez’okwenunula ku abo abaasukkirira ku muwendo gw’abo abaanunulibwa Abaleevi.
50 from Israel's firstborn sons he took 1,365—about 2 ounces, by the sanctuary standard. Yasolooza ku babereberye ab’abaana ba Isirayiri effeeza ey’obuzito obwa kilo kkumi na ttaano n’ekitundu, ng’engeraageranya ya sekeri y’awatukuvu bw’eri.
51 Moses gave the redemption money to Aaron and his sons, by our Father's word, just as our Father commanded Moses. Musa n’addira ensimbi ez’okwenunula n’aziwa Alooni ne batabani be, ng’ekigambo kya Mukama bwe kyali, nga Mukama Katonda bwe yalagira Musa.
FHB

Scripture from Father’s Heart Bible™. © 2026 Spirit Media Publishing, the imprint of Spirit Media Inc. All rights reserved. In Divine Voice™ Color, the words spoken by our Father show in blue, the words of the Son in red, and the words of the Spirit in purple.

OLCB

Biblica® Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya ekwatiddwa ku katambi™ Obwannannyini© 1984, 1986, 1993, 2014 bwa Biblica, Inc. Biblica® Open Luganda Contemporary Bible™ Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc. “Biblica” Linnya ery’obwannannyini eryawandiisibwa Biblica mu Amerika era nga balina n’ekkakkalabozo, Inc. Bwaweebwa olukusa okulikozesa. “Biblica” is a trademark registered in the United States Patent and Trademark Office by Biblica, Inc. Used with permission.
Biblica® Open Luganda Contemporary Bible 2014 · Creative Commons - Attribution-ShareAlike [CC BY-SA]