Skip to content
The Believer's Library

Biblica® Open Luganda Contemporary Bible 2014

Numbers 2 OLCB

Show OLCB only
Verse × ×
1 Then our Father spoke to Moses and Aaron, saying: Awo Mukama Katonda n’agamba Musa ne Alooni nti,
2 "The Israelites are to camp, each by his standard, with banners of their ancestral houses, facing the tent of meeting all around, they are to camp. “Abaana ba Isirayiri banaasiisiranga okwebungulula Eweema ey’Okukuŋŋaanirangamu, nga bagyesuddeko akabanga naye nga bagyolekedde. Buli musajja anaawanikanga ebendera ye n’ebendera z’empya za bajjajjaabwe.”
3 "To the east, toward sunrise: the camp of Judah, by their divisions, under its standard. Leader of Judah's people: Nahshon son of Amminadab. Ebibinja by’olusiisira lwa Yuda binaasiisiranga ku ludda olw’enjuba gy’eva ne basimba awo ebendera yaabwe. Omukulembeze w’abantu ba Yuda ye Nakusoni mutabani wa Amminadaabu.
4 His division, those counted, numbered 74,600. Mu kibinja kye nga mulimu abaabalibwa emitwalo musanvu mu enkumi nnya mu lukaaga (74,600).
5 "Camping next to him: the tribe of Issachar; the leader of Issachar's sons is Nethanel son of Zuar. Ab’ekika kya Isakaali be banaasiisiranga okuliraana Yuda. Omukulembeze w’abantu ba Isakaali ye Nesaneri mutabani wa Zuwaali.
6 His division, those counted, numbered 54,400. Abaabalibwa mu kibinja kye baali emitwalo etaano mu enkumi nnya mu ebikumi bina (54,400).
7 "Then the tribe of Zebulun; leader of Zebulun's sons: Eliab son of Helon. Ekika kya Zebbulooni kye kinaddangako. Omukulembeze w’abantu ba Zebbulooni ye Eriyaabu mutabani wa Keroni.
8 His division, those counted, numbered 57,400. Abaabalibwa mu kibinja kye baali emitwalo etaano mu kasanvu mu ebikumi bina (57,400).
9 "All counted in Judah's camp: 186,400, by their divisions. They set out first. Abasajja bonna abaali mu lusiisira lwa Yuda abaabalibwa ng’ebibinja by’amaggye gaabwe bwe byali baali emitwalo kkumi na munaana mu kakaaga mu ebikumi bina (186,400). Be banaakulemberanga.
10 "South side: the banner of Reuben's camp, by divisions. Leader of Reuben's people: Elizur son of Shedeur. Ku ludda olw’obukiikaddyo ebibinja eby’amaggye g’omu kika kya Lewubeeni gye banaasiisiranga, nga basimbye eyo n’ebendera yaabwe. Omukulembeze w’abantu ba Lewubeeni ye Erizuuli mutabani wa Sedewuli.
11 His division, those counted, numbered 46,500. Abaabalibwa mu kibinja kye baali emitwalo ena mu kakaaga mu ebikumi bitaano (46,500).
12 "Camping beside him: the tribe of Simeon; leader of Simeon's people, Shelumiel son of Zurishaddai. Ab’ekika kya Simyoni be banaabaddiriranga. Omukulembeze w’abantu ba Simyoni ye Serumiyeeri mutabani wa Zulisadaayi.
13 His division, those counted, numbered 59,300. Abaabalibwa mu kibinja kye baali emitwalo etaano mu kenda mu ebikumi bisatu (59,300).
14 "Then the tribe of Gad: leader of Gad's people, Eliasaph son of Deuel. Ab’ekika kya Gaadi be banaddangako. Omukulembeze w’abantu ba Gaadi ye Eriyasaafu mutabani wa Deweri.
15 His division, those counted, numbered 45,650. Abaabalibwa mu kibinja kye baali emitwalo ena mu enkumi ttaano mu lukaaga mu amakumi ataano (45,650).
16 "Those counted in Reuben's camp, by their divisions: 151,450. They set out second. Abasajja bonna okugatta awamu abaali mu lusiisira lwa Lewubeeni abaabalibwa, ng’ebibinja by’amaggye gaabwe bwe byali, baali emitwalo kkumi n’ettaano mu lukumi mu ebikumi bina mu amakumi ataano (151,450). Be banaabanga abookubiri okusitula ng’olugendo lutuuse.
17 "Then the tent of meeting sets out, with the Levites' camp in the middle of the camps. They set out in the order they camp, each in place, under their banners. Eweema ey’Okukuŋŋaanirangamu eneesitulwanga ng’olugendo lutuuse nga yeebunguluddwa olusiisira lw’Abaleevi, ng’eri mu makkati g’ensiisira endala zonna. Banaasitulanga okutambula nga baddiriragana ng’enteekateeka y’ensiisira zaabwe bw’eri, buli musajja ng’agenda n’ebendera ye.
18 "West side: Ephraim's camp standard, by their divisions; leader of Ephraim's people is Elishama son of Ammihud. Ku ludda olw’ebugwanjuba y’eneebeeranga olusiisira lw’ebibinja bya Efulayimu nga bakutte n’ebendera zaabwe. Omukulembeze w’abantu ba Efulayimu ye Erisaama mutabani wa Ammikudi.
19 His division, those counted, numbered 40,500. Ab’omu kibinja kye abaabalibwa baali emitwalo ena mu ebikumi bitaano (40,500).
20 "Beside him: the tribe of Manasseh, led by Gamaliel son of Pedahzur. Ekika kya Manase kye kinaddangako. Omukulembeze w’abantu ba Manase ye Gamalyeri mutabani wa Pedazuuli.
21 His division, those counted, numbered 32,200. Ab’omu kibinja kye abaabalibwa baali emitwalo esatu mu enkumi bbiri mu ebikumi bibiri (32,200).
22 "Then the tribe of Benjamin, led by Abidan son of Gideoni. Ekika kya Benyamini ne kiddako. Omukulembeze w’abantu ba Benyamini ye Abidaani mutabani wa Gidyoni.
23 His division, those counted, numbered 35,400. Ab’omu kibinja kye abaabalibwa baali emitwalo esatu mu enkumi ttaano mu ebikumi bina (35,400).
24 "All counted in Ephraim's camp: 108,100, by their divisions. They set out third. Okugatta awamu abasajja bonna abaali mu lusiisira lwa Efulayimu abaabalibwa ng’ebibinja byabwe bwe byali baali emitwalo kkumi mu kanaana mu kikumi (108,100). Bano be banaabanga abookusatu okusitula ng’olugendo lutuuse.
25 "Dan's camp standard stands on the north side, by divisions. Ahiezer son of Ammishaddai leads Dan's people. Ku ludda olw’obukiikakkono y’eneebeeranga olusiisira lw’ebibinja bya Ddaani n’ebendera yaabwe. Omukulembeze w’abantu ba Ddaani ye Akiyezeeri mutabani wa Amisadaayi.
26 His division, those counted, numbered 62,700. Ab’omu kibinja kye abaabalibwa baali emitwalo mukaaga mu enkumi bbiri mu lusanvu (62,700).
27 "Camping next to it: the tribe of Asher, its leader Pagiel son of Ochran. Ab’ekika kya Aseri be banaasiisiranga okubaddirira. Omukulembeze w’abantu ba Aseri ye Pagiyeeri mutabani wa Okulaani.
28 His division, those counted, numbered 41,500. Ab’omu kibinja kye abaabalibwa baali emitwalo ena mu lukumi mu ebikumi bitaano (41,500).
29 "Then the tribe of Naphtali; Naphtali's leader is Ahira son of Enan. Ab’ekika kya Nafutaali be banaddangako. Omukulembeze w’abantu ba Nafutaali ye Akira mutabani wa Enani.
30 His division, those counted, numbered 53,400. Ab’omu kibinja kye abaabalibwa baali emitwalo etaano mu enkumi ssatu mu ebikumi bina (53,400).
31 "All counted in Dan's camp: 157,600. They set out last, by their standards." Okugatta awamu abasajja bonna abaali mu lusiisira lwa Ddaani baali emitwalo kkumi n’ettaano mu kasanvu mu lukaaga (157,600). Abo be banaasembangayo okusitula ng’olugendo lutuuse, ng’ebendera zaabwe bwe ziri.
32 These are Israelites counted by their clans, all camp divisions: 603,550. Abo be baana ba Isirayiri abaabalibwa ng’empya zaabwe bwe zaali. Okugatta abaali mu nsiisira bonna ng’ebibinja byabwe bwe byali, baawera emitwalo nkaaga mu enkumi ssatu mu ebikumi bitaano mu amakumi ataano (603,550).
33 But the Levites were not counted among the Israelites, just as our Father had commanded Moses. Naye abaana ba Isirayiri bwe baali babalibwa, Abaleevi bo tebaabalibwa, kubanga bw’atyo Mukama bwe yalagira Musa.
34 So the Israelites did all our Father commanded Moses. So they camped by their standards, and so they set out, each by clan, by ancestral family. Abaana ba Isirayiri bwe batyo ne bakola ebyo byonna Mukama Katonda bye yalagira Musa. Bwe batyo bwe baasiisiranga ensiisira zaabwe ng’ebendera zaabwe bwe zaali, era bwe batyo bwe baasitulanga okutambula buli bantu mu bika byabwe ne mu mpya za bajjajjaabwe.
FHB

Scripture from Father’s Heart Bible™. © 2026 Spirit Media Publishing, the imprint of Spirit Media Inc. All rights reserved. In Divine Voice™ Color, the words spoken by our Father show in blue, the words of the Son in red, and the words of the Spirit in purple.

OLCB

Biblica® Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya ekwatiddwa ku katambi™ Obwannannyini© 1984, 1986, 1993, 2014 bwa Biblica, Inc. Biblica® Open Luganda Contemporary Bible™ Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc. “Biblica” Linnya ery’obwannannyini eryawandiisibwa Biblica mu Amerika era nga balina n’ekkakkalabozo, Inc. Bwaweebwa olukusa okulikozesa. “Biblica” is a trademark registered in the United States Patent and Trademark Office by Biblica, Inc. Used with permission.
Biblica® Open Luganda Contemporary Bible 2014 · Creative Commons - Attribution-ShareAlike [CC BY-SA]