Skip to content
The Believer's Library

Biblica® Open Luganda Contemporary Bible 2014

Numbers 1 OLCB

Show OLCB only
Verse × ×
1 Our Father spoke to Moses in the Sinai wilderness, in the tent of meeting, on the first day of the second month of the second year after they left the land of Egypt. He said: Awo Mukama Katonda n’ayogera ne Musa mu Weema ey’Okukuŋŋaanirangamu, mu Ddungu lya Sinaayi ku lunaku olw’olubereberye olw’omu mwezi ogwokubiri ogw’omwaka ogwokubiri kasookedde abaana ba Isirayiri bava mu nsi y’e Misiri. N’amugamba nti:
2 "Count the whole community of Israel's people, by clans and fathers' houses—every male, by name, head by head. “Bala ekibiina kyonna eky’abaana ba Isirayiri ng’obategeka mu bika byabwe, ne mu mpya zaabwe, ng’owandiika erinnya lya buli musajja kinnoomu ku lukalala.
3 Register everyone in Israel twenty and older who can serve in the army—you and Aaron—by their divisions. Ggwe ne Alooni mujja kutegeka abasajja bonna ab’omu Isirayiri abawezezza emyaka amakumi abiri egy’obukulu n’okusingawo, abatuuse okuyingira mu magye, mubabalire mu bibinja byabwe.
4 A man from each tribe is to be with you, each one the head of his family. Munaayambibwako omusajja omu omu okuva mu buli kika, nga ye mukulu w’oluggya lwa bajjajjaabe.
5 "Names of the men who will stand with you: from Reuben, Elizur son of Shedeur. “Gano ge mannya g’abasajja abajja okubayambako: “Aliva mu kika kya Lewubeeni ye Erizuuli mutabani wa Sedewuli;
6 "From Simeon, Shelumiel son of Zurishaddai; mu kya Simyoni ye Serumiyeeri mutabani wa Zulisadaayi;
7 "From Judah, Nahshon son of Amminadab; mu kya Yuda ye Nakusoni mutabani wa Amminadaabu;
8 "From Issachar, Nethanel son of Zuar; mu kya Isakaali ye Nesaneri mutabani wa Zuwaali;
9 "From Zebulun, Eliab son of Helon; mu kya Zebbulooni ye Eriyaabu mutabani wa Keroni.
10 "From the sons of Joseph: from Ephraim, Elishama son of Ammihud; from Manasseh, Gamaliel son of Pedahzur; Okuva mu baana ba Yusufu: mu kya Efulayimu ye Erisaama mutabani wa Ammikudi; mu kya Manase ye Gamalyeri mutabani wa Pedazuuli.
11 "From Benjamin, Abidan son of Gideoni; Aliva mu kika kya Benyamini ye Abidaani mutabani wa Gidyoni;
12 "From Dan, Ahiezer son of Ammishaddai; mu kya Ddaani ye Akiyezeeri mutabani wa Amisadaayi;
13 "From Asher, Pagiel son of Ochran; mu kya Aseri ye Pagiyeeri mutabani wa Okulaani;
14 "From Gad, Eliasaph son of Deuel; mu kya Gaadi ye Eriyasaafu mutabani wa Deweri;
15 "From Naphtali, Ahira son of Enan. mu kya Nafutaali ye Akira mutabani wa Enani.”
16 "These were the community's called ones, leaders of their ancestral tribes, heads of Israel's clans." Abo be basajja abaalondebwa okuva mu kibiina, nga be bakulembeze ab’ebika bya bajjajjaabwe. Abo nga be bakulu b’ebika bya Isirayiri.
17 So Moses and Aaron took these men who had been designated by name, Awo Musa ne Alooni ne batwala abasajja abo abaatuddwa amannya gaabwe,
18 on the first day of the second month they gathered the whole community. The people registered their ancestry by clan and family—every male twenty years old and older, listed by name, one by one, ne bakuŋŋaanya ekibiina ky’abantu bonna ku lunaku olw’olubereberye olw’omu mwezi ogwokubiri. Awo abantu bonna ne beewandiisa mu bujjajja bwabwe ne mu bika byabwe awamu ne mu mpya zaabwe. Abasajja abo abaali bawezezza emyaka amakumi abiri egy’obukulu n’okusingawo, amannya gaabwe ne gawandiikibwa kinnoomu ku lukalala,
19 as our Father had commanded Moses. So Moses counted them in the wilderness of Sinai. nga Mukama bwe yalagira Musa. Bw’atyo Musa n’ababalira mu Ddungu lya Sinaayi:
20 From Reuben's descendants, Israel's firstborn: recorded by clan and family, name by name, every male twenty years old and up, able to serve in war. Ab’omu bazzukulu ba Lewubeeni, mutabani wa Isirayiri omubereberye: Abasajja bonna ab’emyaka egy’obukulu amakumi abiri n’okusingawo, nga batuuse n’okuyingira mu magye, baawandiikibwa amannya gaabwe kinnoomu, ng’ebiwandiiko by’ebika byabwe n’eby’empya zaabwe bwe byali.
21 Those counted from the tribe of Reuben were 46,500. Abaabalibwa okuva mu kika kya Lewubeeni baali emitwalo ena mu kakaaga mu bitaano (46,500).
22 Simeon's descendants, by clans and families, counted by name, head by head: every male twenty years old and up, fit for the army. Ab’omu bazzukulu ba Simyoni: Abasajja bonna ab’emyaka egy’obukulu amakumi abiri n’okusingawo nga batuuse n’okuyingira mu magye, baawandiikibwa amannya gaabwe kinnoomu, ng’ebiwandiiko by’ebika byabwe n’eby’empya zaabwe bwe byali.
23 Those counted from the tribe of Simeon were 59,300. Abaabalibwa okuva mu kika kya Simyoni baali emitwalo etaano mu kenda mu ebikumi bisatu (59,300).
24 From Gad's descendants: by clans, families, and names, every man twenty and older fit for military service. Ab’omu bazzukulu ba Gaadi: Abasajja bonna ab’emyaka egy’obukulu amakumi abiri n’okusingawo, nga batuuse n’okuyingira mu magye, baawandiikibwa amannya gaabwe kinnoomu, ng’ebiwandiiko by’ebika byabwe, n’eby’empya zaabwe bwe byali.
25 Those counted from the tribe of Gad were 45,650. Abaabalibwa okuva mu kika kya Gaadi baali emitwalo ena mu enkumi ttaano mu lukaaga mu amakumi ataano (45,650).
26 Judah's descendants, listed by clans and families, by name, every man twenty and older able to serve in the army: Ab’omu bazzukulu ba Yuda: Abasajja bonna ab’emyaka egy’obukulu amakumi abiri n’okusingawo, nga batuuse n’okuyingira mu magye, baawandiikibwa amannya gaabwe kinnoomu, ng’ebiwandiiko by’ebika byabwe n’eby’empya zaabwe bwe byali.
27 those counted from the tribe of Judah were 74,600. Abaabalibwa okuva mu kika kya Yuda baali emitwalo musanvu mu enkumi nnya mu lukaaga (74,600).
28 Issachar's descendants, listed by clan and family, by name, every man twenty years and older fit for war: Ab’omu bazzukulu ba Isakaali: Abasajja bonna ab’emyaka egy’obukulu amakumi abiri n’okusingawo, nga batuuse n’okuyingira mu magye, baawandiikibwa amannya gaabwe, kinnoomu, ng’ebiwandiiko by’ebika byabwe n’eby’empya zaabwe bwe byali.
29 those counted from the tribe of Issachar were 54,400. Abaabalibwa okuva mu kika kya Isakaali baali emitwalo etaano mu enkumi nnya mu ebikumi bina (54,400).
30 Zebulun's descendants: registered by clan and family, by name, every man twenty years old or older fit for military service. Ab’omu bazzukulu ba Zebbulooni: Abasajja bonna ab’emyaka egy’obukulu amakumi abiri n’okusingawo, nga batuuse n’okuyingira mu magye, baawandiikibwa amannya gaabwe kinoomu, ng’ebiwandiiko by’ebika byabwe n’eby’empya zaabwe bwe byali.
31 Those counted from the tribe of Zebulun were 57,400. Abaabalibwa okuva mu kika kya Zebbulooni baali emitwalo etaano mu kasanvu mu ebikumi bina (57,400).
32 Sons of Joseph, Ephraim's line: recorded by clan and family, by name, every man twenty and older fit for military service. Okuva mu batabani ba Yusufu: Ab’omu bazzukulu ba Efulayimu Abasajja bonna ab’emyaka egy’obukulu amakumi abiri n’okusingawo, nga batuuse n’okuyingira mu magye, baawandiikibwa amannya gaabwe kinnoomu, ng’ebiwandiiko by’ebika byabwe n’eby’empya zaabwe bwe byali.
33 Those counted from the tribe of Ephraim were 40,500. Abaabalibwa okuva mu kika kya Efulayimu baali emitwalo ena mu ebikumi bitaano (40,500).
34 Manasseh's descendants, listed by clans and families, by name, each man twenty years or older able to serve in the army: Ab’omu bazzukulu ba Manase: Abasajja bonna ab’emyaka egy’obukulu amakumi abiri n’okusingawo, nga batuuse n’okuyingira mu magye, baawandiikibwa amannya gaabwe kinnoomu, ng’ebiwandiiko by’ebika byabwe n’eby’empya zaabwe bwe byali.
35 those counted from the tribe of Manasseh were 32,200. Abaabalibwa okuva mu kika kya Manase baali emitwalo esatu mu enkumi bbiri mu ebikumi bibiri (32,200).
36 From Benjamin's descendants, recorded by clan and family, by name, every man twenty years old and older, fit for military service: Ab’omu bazzukulu ba Benyamini: Abasajja bonna ab’emyaka egy’obukulu amakumi abiri n’okusingawo, nga batuuse n’okuyingira mu magye, baawandiikibwa amannya gaabwe kinnoomu, ng’ebiwandiiko by’ebika byabwe n’eby’empya zaabwe bwe byali.
37 those counted from the tribe of Benjamin were 35,400. Abaabalibwa okuva mu kika kya Benyamini baali emitwalo esatu mu enkumi ttaano mu ebikumi bina (35,400).
38 From Dan's descendants, listed by clan and family, by name, every man twenty years old and older fit for war: Ab’omu bazzukulu ba Ddaani: Abasajja bonna ab’emyaka egy’obukulu amakumi abiri n’okusingawo nga batuuse n’okuyingira mu magye, baawandiikibwa amannya gaabwe kinnoomu, ng’ebiwandiiko by’ebika byabwe n’eby’empya zaabwe bwe byali.
39 those counted from the tribe of Dan were 62,700. Abaabalibwa okuva mu kika kya Ddaani baali emitwalo mukaaga mu enkumi bbiri mu lusanvu (62,700).
40 Asher's descendants, listed by clan and family, by name: every man twenty years old and up, fit for military service. Ab’omu bazzukulu ba Aseri: Abasajja bonna ab’emyaka egy’obukulu amakumi abiri n’okusingawo, nga batuuse n’okuyingira mu magye, baawandiikibwa amannya gaabwe kinnoomu, ng’ebiwandiiko by’ebika byabwe n’eby’empya zaabwe bwe byali.
41 Those counted from the tribe of Asher were 41,500. Abaabalibwa okuva mu kika kya Aseri baali emitwalo ena mu lukumi mu ebikumi bitaano (41,500).
42 Naphtali's descendants: by clan and family, counted by name, every man twenty and older fit for war. Ab’omu bazzukulu ba Nafutaali: Abasajja bonna ab’emyaka egy’obukulu amakumi abiri n’okusingawo, nga batuuse n’okuyingira mu magye, baawandiikibwa amannya gaabwe kinnoomu, ng’ebiwandiiko by’ebika byabwe n’eby’empya zaabwe bwe byali.
43 Those counted from the tribe of Naphtali were 53,400. Abaabalibwa okuva mu kika kya Nafutaali baali emitwalo etaano mu enkumi ssatu mu ebikumi bina (53,400).
44 Moses, Aaron, and Israel's twelve leaders counted these men, each for his family. Abo be basajja Musa ne Alooni be baabala, nga bayambibwako abakulembeze ab’omu Isirayiri ekkumi n’ababiri, nga buli omu akiikiridde ekika kye.
45 All Israel's people were counted by families, every man twenty years old and older, fit to serve in Israel's army. Abasajja bonna abaana ba Isirayiri abaali bawezezza emyaka egy’obukulu amakumi abiri n’okusingawo, nga batuuse n’okuyingira mu magye ga Isirayiri bwe batyo ne babalirwa mu bika byabwe.
46 All those counted came to 603,550. Obungi bwabwe bonna abaabalibwa okugatta awamu baali bawera emitwalo nkaaga mu enkumi ssatu mu ebikumi bitaano mu amakumi ataano (603,550).
47 But the Levites were not counted among them by their ancestral tribe. Abazzukulu ab’omu mpya ez’omu bika ebirala bwe baali babalibwa, bo ab’omu kika kya Leevi tebaabalibwa.
48 For our Father had said to Moses: Kubanga Mukama Katonda yali agambye Musa nti,
49 "Do not count the tribe of Levi or list them among the Israelites. “Ab’omu kika kya Leevi tababalanga wadde okubagatta awamu n’emiwendo gy’abaana ba Isirayiri abalala.”
50 Instead, put the Levites in charge of the tabernacle of the testimony, all its furnishings, and everything belonging to it. They must carry the tabernacle and its furnishings, care for it, and camp around it. Era n’amugamba nti, “Naye Abaleevi obawanga omulimu ogw’okulabirira Eweema ey’Endagaano n’ebintu byamu byonna awamu ne byonna ebigigenderako. Banaasitulanga Eweema n’ebyamu byonna, banaagirabiriranga era banaasiisiranga okugyetooloola.
51 When the tabernacle sets out, Levites take it down; when it is pitched, Levites set it up. Any outsider who comes near is to be put to death. Eweema bw’eneebanga etwalibwa mu kifo ekirala, Abaleevi be banaagisimbulanga, era bwe kineetaagisanga okugissa mu kifo awalala, Abaleevi be banaagisimbangawo. Omuntu omulala yenna bw’anaagisembereranga anaafanga.
52 Israel's people are to camp, each by his own camp, each under his own banner, by their companies. Abaana ba Isirayiri banaasiisiranga mu bibinja, nga buli musajja ali mu lusiisira lwe n’ebendera ye ku bubwe.
53 The Levites must camp around the tabernacle of the testimony, so no wrath falls on the Israelite community; the Levites are to guard the tabernacle of the testimony." Naye Abaleevi bo banaasimbanga eweema zaabwe okwebungulula Eweema ey’Endagaano, abaana ba Isirayiri baleme kutuukibwako busungu bwa Mukama. Abaleevi be banaabanga n’obuvunaanyizibwa obw’okulabirira Eweema ey’Endagaano.”
54 The people of Israel did everything our Father had commanded Moses; that is exactly what they did. Abaana ba Isirayiri ne bakola ebyo byonna nga Mukama Katonda bwe yalagira Musa.
FHB

Scripture from Father’s Heart Bible™. © 2026 Spirit Media Publishing, the imprint of Spirit Media Inc. All rights reserved. In Divine Voice™ Color, the words spoken by our Father show in blue, the words of the Son in red, and the words of the Spirit in purple.

OLCB

Biblica® Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya ekwatiddwa ku katambi™ Obwannannyini© 1984, 1986, 1993, 2014 bwa Biblica, Inc. Biblica® Open Luganda Contemporary Bible™ Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc. “Biblica” Linnya ery’obwannannyini eryawandiisibwa Biblica mu Amerika era nga balina n’ekkakkalabozo, Inc. Bwaweebwa olukusa okulikozesa. “Biblica” is a trademark registered in the United States Patent and Trademark Office by Biblica, Inc. Used with permission.
Biblica® Open Luganda Contemporary Bible 2014 · Creative Commons - Attribution-ShareAlike [CC BY-SA]