Skip to content
The Believer's Library

Biblica® Open Luganda Contemporary Bible 2014

Leviticus 27 OLCB

Show OLCB only
Verse × ×
1 Our Father spoke to Moses, saying: Awo Mukama n’agamba Musa nti,
2 "Speak to Israel: When anyone makes a special vow to me, dedicating a person by their equivalent value, “Yogera eri abaana ba Isirayiri obagambe nti: Omuntu bw’anaakolanga obweyamo obw’enjawulo obw’okuwaayo abantu eri Mukama naye ng’asasulayo miwendo egibagyamu, onoobasaliranga bw’oti:
3 if the valuation is for a male from twenty years old to sixty years old, the value is 1.2 pounds of silver, by the sanctuary standard. omusajja aweza emyaka egy’obukulu egiri wakati w’amakumi abiri n’enkaaga anaaleetanga sekeri za ffeeza amakumi ataano, nga sekeri z’omu watukuvu bwe ziba,
4 If it is a female, the valuation is to be about twelve ounces. naye bw’anaabanga omukazi onoomusaliranga sekeri amakumi asatu.
5 For ages five to twenty, the valuation is about eight ounces for a male and about four ounces for a female. Omuntu aweza emyaka egy’obukulu egiri wakati w’ettaano n’amakumi abiri, bw’anaabanga omusajja onoomusaliranga sekeri amakumi abiri naye omukazi sekeri kkumi.
6 If from one month to five years old, the valuation is about two ounces of silver for a male and about one.two ounces for a female. Bw’anaabanga omwana ng’ali wakati w’omwezi gumu n’emyaka etaano, onoomusaliranga sekeri ttaano eza ffeeza nga mulenzi, naye omuwala sekeri za ffeeza ssatu.
7 If sixty or older, the valuation is about six ounces for a male, four ounces for a female. Omuntu bw’anaabanga ow’emyaka egy’obukulu nkaaga n’okusingawo, omusajja onoomusaliranga sekeri kkumi na ttaano n’omukazi sekeri kkumi.
8 But if he is too poor for the valuation, he is to be presented before the priest, and the priest is to set his value; the priest is to value him according to what the one who vowed can afford. Omuntu eyakola obweyamo bw’anaabanga omwavu ennyo atasobola kuleeta miwendo egyo gye wamusalira, anaayanjulwanga eri kabona; kale kabona anaamusaliranga omuwendo ogumugyamu ng’ageraageranya obusobozi bw’oyo eyeeyama nga bwe bunaabanga.
9 "If the vow is an animal that may be offered to me, every such one given to me is holy. “Obweyamo bw’omuntu bwe bunaabeeranga obw’ekisolo ekikkirizibwa ng’ekiweebwayo eri Mukama Katonda, ekisolo ng’ekyo ekiweebwayo eri Mukama Katonda kinaabanga kitukuvu.
10 He must not exchange or substitute it, good for bad or bad for good; if he does substitute one animal for another, both it and its substitute become holy. Tasaaniranga kukikyusaamu oba kukiwaanyisaamu ekibi mu kirungi wadde ekirungi mu kibi; bw’anaabanga awaanyisizza ekisolo ekimu mu kirala, byombi kino na kiri ky’awanyisizzaamu binaafuukanga bitukuvu.
11 If it is any unclean animal that may not be offered to me, it is to be presented before the priest, Ensolo omuntu gy’anaabanga yeeyamye bw’eneebanga etali nnongoofu, etakkirizibwa ng’ekiweebwayo eri Mukama Katonda, ensolo eyo esaanira okuleetebwanga eri kabona,
12 the priest will set its value, good or bad; as the priest values it, so it will be. ye alyokenga asalewo nga bw’eri, oba nnungi oba mbi. Omuwendo kabona gw’anaabaliriranga ku nsolo eyo, gwe gunaawebwangayo.
13 But if he wishes to redeem it, he is to add a fifth to its valuation. Nannyini nsolo bw’anaabanga ayagala okuginunulayo, anaasaniranga okugattako ekitundu ekimu ekyokutaano ku muwendo gwayo.
14 "When someone dedicates his house as holy to me, the priest is to set its value, good or bad; as the priest values it, so it stands. “Omusajja bw’anaawangayo ennyumba ye okubeera entukuvu eri Mukama Katonda kabona anaagirabiranga omuwendo ogugigyamu, oba nnungi oba mbi. Omuwendo ogwo kabona gw’anaasalanga gwe gunaakolanga.
15 If the one who dedicated his house redeems it, he adds a fifth of its value in silver, and it is his. Oyo anaawangayo ennyumba ye eri Mukama bw’anaabanga ayagala okuginunula, anaayongerangako ekitundu kimu kyakutaano ku muwendo gwayo, olwo ng’ennyumba emuddira.
16 "If someone dedicates to me part of a field he owns, its value follows the seed for it—about 1.2 pounds of silver for six bushels of barley seed. “Omusajja bw’anaawangayo ekitundu ky’ettaka lye, lye yasikira, eri Mukama Katonda, omuwendo oguligyamu gunaabalirirwanga nga gwesigamizibwa ku bungi bw’ensigo ezeetaagibwa okusiga ku ttaka eryo ne ziggweerako; ensigo za sayiri ezipimibwamu oma zinaabalirirwangamu sekeri za ffeeza amakumi ataano.
17 If he dedicates his field from the Year of Jubilee, it is to stand at the full valuation. Singa ennimiro ye, agiwaayo mu biseera by’Omwaka gwa Jjubiri, omuwendo ogubaliriddwa gunaasigalanga nga bwe guli.
18 But if he dedicates his field after the Jubilee, the priest will figure the price by the years left until the next Jubilee, and lower the valuation to match. Naye bw’anaawangayo ennimiro ye nga Jjubiri eweddeko, kabona anagibalirirangamu omuwendo ng’agwesigamya ku myaka eginaabanga gibulayo Omwaka gwa Jjubiri eddirira gulyoke gutandike, n’omuwendo ogwali gubaliriddwa gunaakendeezebwangako.
19 If the one dedicating the field wants to redeem it, he must add a fifth of its silver value, and it stays his. Era oyo anaabanga awaddeyo ennimiro ye bw’anaayagalanga okuginunula, kale anaagattangako ekitundu kimu kyakutaano ku muwendo gwayo, olwo ennimiro n’emuddira.
20 But if he does not redeem the field, or has sold it to another, it can no longer be redeemed. Naye bw’anaabanga tayagala kununula nnimiro eyo, oba bw’anaabanga agiguzizza omuntu omulala, kale ng’olwo tekyanunulibwa n’akamu.
21 When the field is released in the Jubilee, it becomes holy to me, like a devoted field; it belongs to the priest as his property. Naye mu Mwaka gwa Jjubiri ennimiro eyo bw’eneeteebwanga, eneebanga ntukuvu, ng’ennimiro eyawongebwa ewa Mukama; eneebanga ya kabona.
22 "If someone dedicates to me a bought field, not part of his ancestral possession, “Omusajja bw’anaawangayo eri Mukama Katonda ennimiro gye yagula, etali ku ttaka lye ery’obwannannyini,
23 the priest is to calculate the valuation up to the Year of Jubilee, and he is to pay it that day as something holy to me. kabona anaabaliriranga omuwendo ogugigyamu okutuuka ku mwaka gwa Jjubiri, omusajja anaasasulanga omuwendo ogwo ku lunaku olwo ng’ekintu ekitukuvu eri Mukama Katonda.
24 In the Year of Jubilee the field returns to the one it was bought from, to whom the land belongs. Mu mwaka gwa Jjubiri, ennimiro eneddizibwanga oyo gwe yagigulako, nga y’oyo eyali nannyini ttaka.
25 Every valuation is to be by the sanctuary standard. Buli muwendo ogubalirirwa guneesigamizibwanga ku sekeri z’Awatukuvu, nga gera amakumi abiri zivaamu sekeri emu.
26 "No one may dedicate the firstborn of any animal; it already belongs to me—whether ox or sheep, it is mine. “Tewabanga awaayo omwana gw’ensolo omubereberye eri Mukama, kubanga abaana b’ensolo ababereberye bonna ba Mukama, oba nte oba ndiga zonna za Mukama Katonda.
27 If it is an unclean animal, he redeems it at the valuation plus a fifth; if not redeemed, it is sold at the valuation. Bw’anaabanga awaddeyo emu ku nsolo ezitali nnongoofu, anagisasuliranga omuwendo gwayo ogwagibalirirwamu, ng’agattako ekitundu kimu kyakutaano eky’omuwendo gwayo. Bw’ataaginunulengayo eneetundwanga omuwendo ogwagibalirirwamu.
28 "But nothing a person devotes to me by ban—a human, animal, or field he owns—may be sold or redeemed. All so devoted is most holy to me. “Naye omuntu yenna bw’anaamalanga okuwongera Mukama Katonda ku bintu bye by’anaabanga nabyo, gamba oba muntu oba kisolo oba ennimiro ye gye yasikira, tewaabengawo ku bintu ebyo bitundibwa oba okununulibwa; buli kintu ekiwongere ddala mu ngeri eyo kinaabanga kitukuvu nnyo eri Mukama Katonda.
29 "No person devoted under the ban may be redeemed; he must be put to death. Omuntu eyawongebwa nga wa kuttibwa, taanunulibwenga kinaamusaaniranga kuttibwa.
30 "Every tithe of the land, whether of the seed of the ground or of the fruit of the trees, is mine; it is holy to me. “Buli kitundu eky’ekkumi ekiva mu nsi, gamba ku mmere ey’empeke eva mu ttaka, oba ku bibala ebiva ku miti, kya Mukama Katonda, era kitukuvu eri Mukama Katonda.
31 If anyone redeems part of his tenth, he adds a fifth to it. Omuntu anaayagalanga okununula ku bitundu bye eby’ekkumi, anaagatangako ekitundu kimu kyakutaano ku muwendo gwakyo.
32 Every tenth of the herd and flock—each animal passing under the shepherd's rod—is holy to me. Ebitundu eby’ekkumi byonna ebyamagana g’ente n’eby’ebisibo by’endiga, kwe kugamba nti buli nsolo omusumba gy’anaabalanga nga ya kkumi, eneebanga ntukuvu eri Mukama Katonda.
33 He must not check whether it is good or bad, nor substitute for it; if he does, both it and its substitute become holy and cannot be redeemed." Tasaaniranga kulondamu nnungi ng’alekawo embi, oba okuwaanyisa. Bw’anaawaanyisanga ng’olwo ensolo zombi, eri n’eno ewanyisizibbwa zinaafuukanga ntukuvu teziinunulibwenga.”
34 These are the commandments our Father gave Moses for the people of Israel on Mount Sinai. Ago ge mateeka Mukama Katonda ge yawa Musa ku lusozi Sinaayi agategeeze abaana ba Isirayiri.
FHB

Scripture from Father’s Heart Bible™. © 2026 Spirit Media Publishing, the imprint of Spirit Media Inc. All rights reserved. In Divine Voice™ Color, the words spoken by our Father show in blue, the words of the Son in red, and the words of the Spirit in purple.

OLCB

Biblica® Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya ekwatiddwa ku katambi™ Obwannannyini© 1984, 1986, 1993, 2014 bwa Biblica, Inc. Biblica® Open Luganda Contemporary Bible™ Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc. “Biblica” Linnya ery’obwannannyini eryawandiisibwa Biblica mu Amerika era nga balina n’ekkakkalabozo, Inc. Bwaweebwa olukusa okulikozesa. “Biblica” is a trademark registered in the United States Patent and Trademark Office by Biblica, Inc. Used with permission.
Biblica® Open Luganda Contemporary Bible 2014 · Creative Commons - Attribution-ShareAlike [CC BY-SA]