Skip to content
The Believer's Library

Biblica® Open Luganda Contemporary Bible 2014

Numbers 14 OLCB

Show OLCB only
Verse × ×
1 Then the whole congregation raised their voices and cried out, and the people wept that night. Ekiro ekyo abantu bonna mu kibiina ne bayimusa amaloboozi gaabwe ne bakaaba n’eddoboozi ery’omwanguka.
2 All the Israelites complained against Moses and Aaron; the whole community said to them, "If only we had died in the land of Egypt, or if only we had died in this wilderness! Abaana ba Isirayiri bonna ne beemulugunyiza Musa ne Alooni; abantu bonna awamu mu kibiina ne babagamba nti, “Singa twafiira mu nsi y’e Misiri! Oba singa twafiira mu ddungu muno!
3 Why is our Father bringing us to this land to fall by the sword? Our wives and children will be plunder. Wouldn't it be better to return to Egypt?" Lwaki Mukama atutwala mu nsi eyo, tutuuke eyo tulyoke tuttibwe n’ekitala? Abakazi baffe n’abaana baffe bagenda kunyagibwa. Okuddayo mu Misiri si kye kinaasingako?”
4 And they said to one another, "Let us appoint a leader and return to Egypt." Ne boogeraganya nti, “Ka twerondere omukulembeze tuddeyo mu Misiri.”
5 Then Moses and Aaron fell facedown before the whole assembly of Israel. Awo Musa ne Alooni ne bavuunama wansi mu maaso g’ekibiina kyonna eky’abaana ba Isirayiri abaali bakuŋŋaanidde awo.
6 Joshua son of Nun and Caleb son of Jephunneh, among those who scouted the land, tore their clothes. Yoswa mutabani wa Nuuni ne Kalebu mutabani wa Yefune, abaali mu abo abaagenda okuketta ensi, ne bayuzaayuza engoye zaabwe,
7 They told the whole Israelite community, "The land we passed through and explored is exceedingly good. ne bagamba ekibiina kyonna eky’abaana ba Isirayiri nti, “Ensi gye twayitaayitamu okugiketta, nsi nnungi nnyo.
8 If our Father delights in us, he'll bring us into this land and give it to us, a land flowing with milk and honey. Mukama Katonda bw’aliba atusanyukidde, alitukulembera n’atutuusa mu nsi eyo, ensi ekulukuta amata n’omubisi gw’enjuki, era agenda kugituwa.
9 Only don't rebel against our Father, and don't fear the people of the land—they are food for us. Their protection is gone; our Father is with us. Don't fear them." Kyokka temujeemera Mukama Katonda, era n’abantu b’omu nsi omwo temubatya, kubanga kuliba kumenya mu jjenje kkalu; tebakyalina abakuuma, ate nga Mukama Katonda ali wamu naffe. Temubatya.”
10 The whole community called for stoning Joshua and Caleb. Then our Father's glory appeared at the tent of meeting to all Israel's people. Naye abantu bonna mu kibiina ne bateesa okubakuba mayinja. Awo ekitiibwa kya Mukama Katonda ne kirabikira eri abaana ba Isirayiri bonna mu Weema ey’Okukuŋŋaanirangamu.
11 And our Father said to Moses, "How long will this people despise me? And how long will they not believe in me, despite all the signs I've done among them? Mukama n’agamba Musa nti, “Abantu bano balinnyooma kutuusa ddi? Balikomya ddi obutanzikiririzaamu, newaakubadde nga nakola ebyamagero mu bubonero bwe nakolera mu bo?
12 I will strike them with the plague and disinherit them, then make you a nation greater and stronger than they." Nzija kubaboola mbazikirize ne kawumpuli, mbasaanyeewo; naye nzija kukuggyamu ggwe eggwanga eriribasinga abo obukulu n’amaanyi.”
13 But Moses said to our Father, "The Egyptians will hear of it, for you brought this people up from among them by your might, Naye Musa n’agamba Mukama Katonda nti, “Ebyo Abamisiri bagenda kubiwulira! Kubanga abantu bano wabaggya mu nsi y’Abamisiri n’obuyinza obw’amaanyi amangi.
14 and they will tell the residents of this land, who have heard that you, our Father, are among this people, that you, our Father, are seen face to face, that your cloud stands over them, and you go before them in a pillar of cloud by day and a pillar of fire by night. Bajja kubuulirako ku bantu ab’omu nsi muno. Baamala dda okukiwulira nga ggwe, Ayi Mukama, obeera wakati mu bantu bano, era nga, Ayi Mukama Katonda, mulabagana nabo amaaso n’amaaso, era ng’ekire kyo kibeera nabo buli kiseera, era ng’obakulemberera mu mpagi ey’ekire emisana ne mu mpagi ey’omuliro ekiro.
15 If you kill this people all at once, the nations who heard your fame will say, Singa abantu bano obatta bonna omulundi gumu, amawanga agawulidde obututumufu bwo gagenda kugamba nti,
16 'Because God couldn't bring this people into the land he swore to them, he slaughtered them in the wilderness.' ‘Kubanga Mukama Katonda yali tasobola kuyingiza bantu bano mu nsi gye yabasuubiza ng’agibalayirira; kyeyava abattira mu ddungu.’
17 And now, please, let the power of the Sovereign Father be great, as you have spoken, saying, “Ne kaakano nkwegayirira oyoleke obuyinza bwo, Ayi Mukama nga bwe buli obusukkirivu nga bwe wasuubiza nti,
18 'Our Father is slow to anger, overflowing in covenant love, forgiving guilt and wrongdoing—yet he will by no means clear the guilty, bringing the fathers' sin on children to the third and fourth generation.' ‘Mukama Katonda alwawo okusunguwala, era ajjudde okwagala okutaggwaawo, era asonyiwa ekibi n’obujeemu. Naye era asingiddwa omusango tamuleka nga tabonerezebbwa; abonereza abaana olw’ebibi bya bakadde baabwe okutuuka ku mulembe ogwokusatu n’ogwokuna.’
19 Please pardon this people's guilt according to the greatness of your covenant love, just as you've forgiven them from Egypt until now." Ng’okwagala kwe okungi okutaggwaawo bwe kuli, nsaba osonyiwe abantu bano ekibi ky’abwe, nga bw’ozze obasonyiwa kasookedde bava mu Misiri n’okutuusa leero.”
20 Then our Father said, "I have pardoned, according to your word. Awo Mukama Katonda n’addamu nti, “Mbasonyiye nga bw’onsabye.
21 "But truly, as I live, and as all the earth will be filled with my glory, Naye nno mu mazima ddala nga bwe ndi omulamu, era ng’ekitiibwa kya Mukama Katonda bwe kijjuza ensi yonna,
22 surely all the men who saw my glory and the signs I did in Egypt and the wilderness, yet tested me ten times and did not listen to my voice, tewalibaawo n’omu ku bantu abaalaba ekitiibwa kyange n’obubonero obw’ebyamagero bwe nakolera e Misiri ne mu ddungu, naye ne batagondera ddoboozi lyange wabula ne bangezesa nga bankema emirundi kkumi,
23 shall not see the land I swore to their fathers. None who despised me will see it. tewalibaawo n’omu ku bo aliraba ku nsi eyo gye nalayirira bajjajjaabwe ne mbasuubiza okugibawa. Tewalibaawo n’omu ku bo abannyoomye aligirabako.
24 But my servant Caleb has a different spirit and has followed me fully—I will bring him into the land he entered, and his descendants will possess it. Naye olwokubanga omuweereza wange Kalebu alina omwoyo ogw’enjawulo era ng’angoberera n’omutima gwe gwonna, ndimuleeta mu nsi gye yatumibwamu, n’ezzadde lye lirigirya.
25 The Amalekites and the Canaanites live in the valleys. Tomorrow, turn and head into the wilderness toward the Red Sea." Kale nno olwokubanga Abamaleki n’Abakanani babeera mu biwonvu; enkya muddeeko emabega, musitule mutambule nga mwolekera eddungu nga mukutte ekkubo eriraga ku Nnyanja Emyufu.”
26 And our Father spoke to Moses and Aaron, saying, Mukama Katonda n’agamba Musa ne Alooni nti,
27 "How long will this evil congregation grumble against me? I have heard the Israelites' grumbling against me. “Ekibiina kino ekibi kirituusa ddi nga kinneemulugunyiza? Mpulidde okutolotooma kw’abaana ba Isirayiri nga banneemulugunyiza.
28 Tell them, 'As I live, declares our Father, I will do to you exactly what I heard you say: Bategeeze nti, ‘Mukama agambye nti, Nga bwe ndi omulamu, bw’ayogera Mukama Katonda, ebyo bye mpulidde nga mwogera, nange bye ndibakola.
29 'Your corpses will fall in this wilderness—all of you counted, your whole number, twenty years old and up, who grumbled against me. Mulifiira mu ddungu muno n’emirambo gyammwe mwe girisigala; mwenna abawezezza emyaka amakumi abiri n’okusingawo egy’obukulu nga bwe mwamala okubalibwa, abanneemulugunyiza.
30 None of you will enter the land I swore to settle you in, except Caleb son of Jephunneh and Joshua son of Nun. Tewaliba n’omu ku bo aliyingira mu nsi gye neelayirira nti ge galibeera amaka gammwe, okuggyako Kalebu mutabani wa Yefune ne Yoswa mutabani wa Nuuni.
31 But your little ones, whom you said would become plunder, I will bring in; they will know the land you rejected. Naye abaana bammwe abato, be mwogeddeko nti balifuulibwa omunyago, ndibayingiza mu nsi eyo gye mugaanye ne beeyagalira omwo.
32 But as for you, you will fall dead in this wilderness. Naye mmwe, emirambo gyammwe girisigala mu ddungu muno mwe girigwa.
33 Your children will be shepherds in the wilderness forty years, bearing your unfaithfulness, until the last of your corpses lies in the wilderness. Mmwe olw’obutabeera beesigwa, abaana bammwe balimala emyaka amakumi ana mu ddungu nga bwe balunda ebisibo byabwe okutuusa omulambo gw’oyo alisembayo okufa lwe guliziikibwa mu ddungu muno.
34 As the days you scouted the land—forty days—a day for a year, you will carry your guilt forty years, and know my opposition to you. Nga bwe mwamala ennaku amakumi ana nga muketta ensi eri, bwe mutyo bwe mujja okumala emyaka amakumi ana mu ddungu, nga buli lumu ku nnaku ezo muvaamu mwaka gumu gumu; muboneebone olw’ebibi byammwe, mulyoke mutegeere obuzibu obw’okunneesimbamu.
35 I, your Father, have spoken: surely I will do this to this whole evil assembly gathered against me—they will end in this wilderness, and die there.'" Nze, Mukama Katonda, nkyogedde; ddala ddala ekyo ndikikola ku kibiina kyonna eky’abantu bano aboonoonyi abeegasse awamu okunjolekera. Tebagenda kuva mu ddungu lino, bonna mwe balifiira.’ ”
36 The men Moses sent to scout the land returned, making the whole community grumble against Moses with a bad report about it. Abasajja abo Musa be yatuma okuketta ensi ne bakomawo ne beemulugunyiza ekibiina ky’abantu bonna nga babaleetedde obubaka obutaali bulungi ku nsi eri, era ne babubunyisa mu bantu,
37 The men who brought up a bad report of the land died by plague before our Father. abasajja abo abaaleeta obubaka obutaali bulungi ne babubunyisa mu bantu kawumpuli n’abattira awo mu maaso ga Mukama Katonda.
38 But Joshua son of Nun and Caleb son of Jephunneh survived, of those men who went to explore the land. Mu basajja bonna abaatumibwa okuketta ensi, Yoswa mutabani wa Nuuni ne Kalebu mutabani wa Yefune be bokka abaasigalawo nga balamu.
39 When Moses told these words to all the children of Israel, the people mourned greatly. Musa n’ategeeza abaana ba Isirayiri bonna ebigambo ebyo, ne bakungubaga nnyo.
40 They got up early in the morning and went up to the hilltop, saying, "Here we are. We will go up to the place our Father promised, for we have sinned." Enkeera mu makya ne bambuka mu nsi ey’ensozi. Ne boogera nti, “Twayonoona, naye nga bwe tuli wano tujja kwambuka tuyingire mu nsi Mukama Katonda gye yatusuubiza.”
41 But Moses said, "Why now are you disobeying our Father's command? It won't succeed. Naye Musa n’abagamba nti, “Lwaki munyooma ekiragiro kya Mukama Katonda? Ebyo bye mutegeka tebiyinza kutuukiririra.
42 Do not go up, for our Father is not among you, or you'll be struck down before your enemies. Temwambuka kubanga Mukama Katonda tali nammwe. Abalabe bammwe bajja kubawangula.
43 For the Amalekites and Canaanites are there before you; you'll fall by the sword. Since you've turned back from following our Father, he won't be with you." Kubanga Abamaleki n’Abakanani bajja kuboolekera. Olwokubanga mwekyusizza ne muva ku Mukama Katonda, tajja kubeera nammwe, ekitala kijja kubatta.”
44 But they dared to climb to the hill country's crest, though the ark of the covenant of our Father and Moses did not leave the camp. Naye era bo ne beesigula ne bambuka mu nsi ey’ensozi, newaakubadde nga Musa teyagenda nabo era nga n’essanduuko ey’endagaano yasigala mu lusiisira.
45 Then the Amalekites and the Canaanites living in that hill country came down, struck them, and crushed them as far as Hormah. Awo Abamaleki n’Abakanani abaabeeranga mu nsi eyo ey’ensozi ne bakkirira ne babalumba ne babakubira ddala okubatuusa e Koluma.
FHB

Scripture from Father’s Heart Bible™. © 2026 Spirit Media Publishing, the imprint of Spirit Media Inc. All rights reserved. In Divine Voice™ Color, the words spoken by our Father show in blue, the words of the Son in red, and the words of the Spirit in purple.

OLCB

Biblica® Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya ekwatiddwa ku katambi™ Obwannannyini© 1984, 1986, 1993, 2014 bwa Biblica, Inc. Biblica® Open Luganda Contemporary Bible™ Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc. “Biblica” Linnya ery’obwannannyini eryawandiisibwa Biblica mu Amerika era nga balina n’ekkakkalabozo, Inc. Bwaweebwa olukusa okulikozesa. “Biblica” is a trademark registered in the United States Patent and Trademark Office by Biblica, Inc. Used with permission.
Biblica® Open Luganda Contemporary Bible 2014 · Creative Commons - Attribution-ShareAlike [CC BY-SA]