Skip to content
The Believer's Library

Biblica® Open Luganda Contemporary Bible 2014

Numbers 15 OLCB

Show OLCB only
Verse × ×
1 Our Father spoke to Moses, saying: Mukama Katonda n’agamba Musa
2 "Speak to the Israelites and tell them: When you enter the land I am giving you to live in, ayogere n’abaana ba Isirayiri abagambe nti, “Bwe mutuukanga mu nsi gye mbawadde, mwe munaabeeranga, nga ge maka gammwe,
3 and offer me a fire offering—a burnt offering or sacrifice, to fulfill a special vow, as a freewill offering, or at your appointed feasts—producing a pleasing aroma for me from herd or flock, ne muleetera Mukama Katonda ebiweebwayo ebyokye nga mubiggya mu biraalo byammwe oba mu bisibo byammwe, ekiweebwayo ku muliro oba ssaddaaka enjokye, okutuukiriza obweyamo bwammwe oba ebiweebwayo olw’okweyagalira oba ku mbaga zammwe entongole, ne muvaamu akawoowo akasanyusa Mukama;
4 then whoever presents his offering must also present me a grain offering—about two quarts of fine flour mixed with about one quart of oil. kale nno oyo anaaleetanga ekiweebwayo eri Mukama Katonda anaawangayo ekiweebwayo eky’emmere y’empeke eweza nga kilo emu n’ekitundu ez’obuwunga obulungi, nga mutabuddwamu n’amafuta ag’omuzeeyituuni agaweza nga obutundu mwenda obwa Ini ey’amafuta ag’omuzeeyituuni.
5 Prepare about a quart of wine for the drink offering with the burnt offering or sacrifice, for each lamb. Ku buli mwana gwa ndiga ogw’ekiweebwayo ekyokebwa oba ogwa ssaddaaka, munaateekerateekerangako obutundu mwenda obwa Ini ey’envinnyo nga kye kiweebwayo ekyokunywa.
6 "Or for a ram, you are to prepare a grain offering of about four quarts of fine flour mixed with about one and a third quarts of oil, “Bwe munaabanga muwaayo endiga ennume munaateekateekanga ekiweebwayo eky’emmere y’empeke eweza nga kilo ssatu n’obutundu bubiri n’ekitundu obwa Ini ez’obuwunga obulungi nga mutabuddwamu n’amafuta ag’omuzeeyituuni ag’obutundu mwenda n’obutundu bubiri obwa Ini,
7 and one and a third quarts of wine for the drink offering—offer it as a pleasing aroma to me. era n’obutundu mwenda n’obutundu bubiri obwa Ini obw’envinnyo nga kye kiweebwayo ekyokunywa, eky’akawoowo akasanyusa Mukama Katonda.
8 When you prepare a young bull as a burnt offering or sacrifice, to fulfill a special vow, or as a peace offering to me, “Bwe munaabanga muteekateeka ente ennume ento ey’ekiweebwayo ekyokebwa oba ssaddaaka, okutuukiriza obweyamo, oba ekiweebwayo olw’emirembe eri Mukama Katonda,
9 with the young bull, bring a grain offering of about six quarts of fine flour mixed with about two quarts of oil, ku nte eyo ennume munaaleeterangako ekiweebwayo eky’emmere ey’empeke eweza gulaamu mukaaga n’ekitundu ez’obuwunga obulungi nga mutabuddwamu amafuta ag’omuzeeyituuni agaweza kilo emu n’ekitundu.
10 bring two quarts of wine for the drink offering, a fire offering of pleasing aroma to me. Era munaaleetanga envinnyo eweza lita bbiri nga kye kiweebwayo ekyokunywa. Kinaabanga ekiweebwayo ekyokebwa mu muliro ne kivaamu akawoowo akasanyusa Mukama Katonda.
11 This is to be done for each bull, ram, lamb, or young goat. Buli nte ennume oba endiga ennume, na buli mwana gwa ndiga oba embuzi ento, zonna zinaateekebwateekebwanga mu ngeri eyo.
12 Do the same for each one, however many you prepare. Munaakolanga bwe mutyo ku buli gye munaateekateekanga nga bwe zinenkananga obungi.
13 "Every native-born Israelite must do this when offering a fire offering, a pleasing aroma, to me. “Buli nzaalwa yenna kimusaanira okugobereranga enkola eyo buli lw’anaaleetanga ekiweebwayo ekyokebwa ku muliro, ne kivaamu akawoowo akasanyusa Mukama Katonda.
14 If a foreigner living with you, or anyone among you for generations to come, makes a fire offering of pleasing aroma to me, he must do as you do. Mu mirembe gyammwe gyonna egirijja, omugwira oba omugenyi yenna anaabeeranga mu mmwe bw’anaaleetanga ekiweebwayo ekyokebwa ku muliro ekivaamu akawoowo akasanyusa Mukama Katonda, anaakoleranga ddala nga bwe mukola.
15 One statute for the assembly—you and the foreigner living among you—a lasting statute for all generations: as you are, so is the foreigner before me. Ekibiina kyammwe kyonna kinaabeeranga n’amateeka geegamu, mmwe ge munaakwatanga era n’abagwira abali mu mmwe ge banaakwatanga; eryo linaabanga etteeka ery’enkalakkalira mu mirembe gyammwe gyonna egirijja. Mmwe nga bwe muli n’omugwira bw’atyo bw’anaabanga mu maaso ga Mukama Katonda.
16 One law and one ordinance is to apply to you and to the foreigner who stays with you." Amateeka n’ebiragiro bye munaakwatanga n’omugwira anaabeeranga mu mmwe by’anaakwatanga.”
17 And our Father spoke to Moses, saying: Mukama Katonda n’agamba Musa nti,
18 "Speak to the Israelites and tell them: When you enter the land I am bringing you into, “Tegeeza abaana ba Isirayiri nti, ‘Bwe muyingiranga mu nsi mwe mbatwala,
19 then when you eat the produce of the land, you are to lift up a contribution to me. ne mulya ku mmere y’omu nsi omwo, munaaleetangako ekitundu nga kye kiweebwayo eri Mukama.
20 From the first of your dough, lift up a loaf as a contribution, like the contribution from the threshing floor. Munaggyanga ekitole ku mmere gye munaasookanga okusa mu gguuliro ne mukireeta nga kye kiweebwayo ekivudde mu gguuliro.
21 From the first of your dough you are to give a contribution to me throughout your generations. Ku mmere eyo gye munaasookerangako okusa munaaleetangako ekiweebwayo ekyo eri Mukama Katonda okuyita mu mirembe gyammwe gyonna.’
22 "And when you stray and fail to do all these commandments that I have spoken to Moses, “Naye nno bwe munaalemwanga okukwata amateeka ago gonna Mukama Katonda g’awadde Musa, nga mukikoze mu butagenderera,
23 all I commanded you through Moses, from the day I commanded it, and onward throughout your generations, amateeka ago gonna Mukama Katonda ge yalagira Musa okugabatuusaako okuva ku lunaku Mukama lwe yagamuweerako n’okweyongerayo okuyita mu mirembe gyammwe gyonna egigenda okujja,
24 then if done unintentionally, unknown to the assembly, the whole assembly must offer one young bull as a burnt offering—a pleasing aroma to me—with its grain offering and drink offering as required, plus one male goat as a sin offering. ne mugasobya mu butagenderera n’ekibiina kyonna mu butamanya, kale nno ekibiina kyonna kinaaleetanga ekiweebwayo eky’ente ya sseddume ento emu nga kye kiweebwayo ekyokebwa, omuva akawoowo akalungi eri Mukama Katonda, nga kuliko n’ekiweebwayo ky’emmere y’empeke n’ekyokunywa ng’etteeka bwe liragira, n’ekiweebwayo eky’embuzi ennume emu olw’ekibi.
25 The priest will make atonement for the whole Israelite community, and they will be forgiven, since it was unintentional and they brought their offering—a fire offering to me—and their sin offering before me for their unintentional wrong. Kabona anaatangiririranga ekibiina ky’abaana ba Isirayiri bonna, era bwe batyo banaasonyiyibwanga; kubanga baasobya mu butagenderera, ate banaabanga baleese ekiweebwayo eri Mukama Katonda ekyokebwa ku muliro, era n’ekiweebwayo eri Mukama Katonda olw’ekibi olw’ekisobyo kyabwe ekitaali kigenderere.
26 All the community of Israel will be forgiven, along with the foreigner living among them, since all the people did wrong unintentionally. Ekibiina ky’abaana ba Isirayiri bonna, bwe batyo banaasonyiyibwanga, n’abagwira abanaabeeranga mu bo nabo banaasonyiyibwanga, kubanga abantu bonna banaabanga basoberezza wamu nga tebagenderedde.
27 "And if one person sins unintentionally, he is to offer a year-old female goat as a sin offering. “Naye omuntu bw’anaasobyanga ng’ali bw’omu mu butagenderera, anaaleetanga embuzi enduusi ey’omwaka gumu ogw’obukulu nga kye kiweebwayo olw’ekibi.
28 The priest will atone before me for the person who errs by sinning unintentionally, atoning for him, and he will be forgiven. Kabona anaatangiririranga, eri Mukama, omuntu oyo asobezza mu butagenderera; bw’anaamalanga okutangiririrwa, anaasonyiyibwanga.
29 For the native-born among the children of Israel and the foreigner staying among them, there is one law for the one who acts unintentionally. Munaabeeranga n’etteeka lye limu erinaakozesebwanga ku muntu yenna anaasobyanga nga tagenderedde, bw’anaabanga enzaalwa oba ne bw’anaabanga omugwira bulijjo abeera mu mmwe.
30 "But the one who acts with a high hand, native or foreigner, reviles me—that person is cut off from among his people. “Naye buli muntu anaakolanga ekibi mu bugenderevu, bw’anaabanga enzaalwa ne bw’anaabeeranga omugwira abeera mu mmwe, omuntu oyo anaabanga avvodde Mukama Katonda, noolwekyo anaagobwanga mu bantu be, ne bamwesalirako ddala.
31 Since he scorned my word and broke my command, that person will surely be cut off; his guilt remains on him." Olwokubanga anaabanga anyoomye ekigambo kya Mukama Katonda, n’amenya etteeka lye, omuntu oyo anaagoberwanga ddala okuva mu bantu be, ne bamwesalirako ddala, era ekibi kye ekyo kinaasigalanga ku mutwe gwe.”
32 While the Israelites were in the wilderness, they found a man gathering wood on the Sabbath day. Abaana ba Isirayiri bwe baali nga bakyali mu ddungu, ne basisinkana omusajja omu ku b’omu kibiina ky’Abayisirayiri eyali atyaba enku ku lunaku lwa Ssabbiiti.
33 Those who found him gathering wood brought him to Moses, Aaron, and the whole congregation. Abo abaamusanga ng’atyaba enku ne bamuleeta eri Musa ne Alooni n’ekibiina kyonna,
34 They held him in custody because it wasn't clear what should be done to him. ne bamuggalira mu kkomera, kubanga baali tebamanyi bulungi kya kumukolera.
35 So our Father told Moses, "The man must be put to death; the whole community must stone him outside the camp." Awo Mukama Katonda n’agamba Musa nti, “Omusajja oyo ateekwa kuttibwa. Ekibiina kyonna kimukubire amayinja ebweru w’olusiisira.”
36 The whole congregation brought him outside the camp and stoned him with stones; he died, as our Father commanded Moses. Ekibiina kyonna ne kimufulumya wabweru w’olusiisira ne kimukuba amayinja n’afa, nga Mukama Katonda bwe yalagira Musa.
37 And our Father said to Moses, saying: Awo Mukama Katonda n’agamba Musa nti,
38 "Speak to the Israelites: have them make tassels on the corners of their garments for all generations, with a blue cord on each corner's tassel. “Yogera eri abaana ba Isirayiri obalagire beekolere amatanvuuwa bagatungenga ku nkugiro z’ebyambalo byabwe mu mirembe gyabwe gyonna, era ku buli ttanvuuwa batungengako akaguwa aka bbululu.
39 It will be a tassel to look at, so you remember all my commandments and do them, not chasing after your heart and after your eyes, which lead you to be unfaithful. Amatanvuuwa ago munaagatunulangako, ekyo ne kibajjukiza amateeka ga Mukama Katonda gonna ge musaanira okugonderanga, mulyoke mugagobererenga mulemenga okweyonoonyesa nga mukola ebyo ebitaliimu nsa byokka nga bye bisanyusa amaaso gammwe n’emitima gyammwe.
40 This way you will remember and do all my commandments, and you will be holy to me. Bwe mutyo munajjukiranga amateeka gange ne mubeera batukuvu eri Katonda wammwe.
41 I am your Father, who brought you out of Egypt's land to be your Father. I am your Father." Nze Mukama Katonda wammwe, eyabaggya mu nsi y’e Misiri, okubeeranga Katonda wammwe; Nze Mukama Katonda wammwe.”
FHB

Scripture from Father’s Heart Bible™. © 2026 Spirit Media Publishing, the imprint of Spirit Media Inc. All rights reserved. In Divine Voice™ Color, the words spoken by our Father show in blue, the words of the Son in red, and the words of the Spirit in purple.

OLCB

Biblica® Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya ekwatiddwa ku katambi™ Obwannannyini© 1984, 1986, 1993, 2014 bwa Biblica, Inc. Biblica® Open Luganda Contemporary Bible™ Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc. “Biblica” Linnya ery’obwannannyini eryawandiisibwa Biblica mu Amerika era nga balina n’ekkakkalabozo, Inc. Bwaweebwa olukusa okulikozesa. “Biblica” is a trademark registered in the United States Patent and Trademark Office by Biblica, Inc. Used with permission.
Biblica® Open Luganda Contemporary Bible 2014 · Creative Commons - Attribution-ShareAlike [CC BY-SA]