Skip to content
The Believer's Library

Biblica® Open Luganda Contemporary Bible 2014

Numbers 16 OLCB

Show OLCB only
Verse × ×
1 Korah son of Izhar, son of Kohath, son of Levi, gathered men, along with Dathan and Abiram, sons of Eliab, and On son of Peleth, sons of Reuben. Lwali lumu, Koola mutabani wa Izukali, mutabani wa Kokasi, mutabani wa Leevi, ne bano abava mu Lewubeeni, Dasani ne Abiraamu batabani ba Eriyaabu, awamu ne Oni mutabani wa Peresi, bonna ne beewaggula
2 They stood before Moses with 250 Israelite leaders of the community—chosen assembly members, men of renown. ne basituka ne boolekera Musa. Baali ne bannaabwe abasajja Abayisirayiri ebikumi bibiri mu ataano, abaali abamanyifu ennyo mu baana ba Isirayiri era nga bakiise mu Lukiiko Olukulu.
3 They gathered against Moses and Aaron and said, "You have gone too far! The whole congregation is holy, all of them, and our Father is among them. Why do you set yourselves above our Father's assembly?" Ne bajjira wamu nga beekobaanye okwolekera Musa ne Alooni ne babagamba nti, “Mwekulumbaza nnyo! Ekibiina kyonna, buli omu mu kyo mutukuvu, ne Mukama Katonda ali nabo. Kale, lwaki mwekulumbaliza ku kibiina ky’abantu ba Mukama?”
4 When Moses heard this, he fell facedown. Musa bwe yakiwulira n’avuunama wansi.
5 He said to Korah and all his company, "In the morning, our Father will show who is his and who is holy, and will bring that one near to himself. Whoever he chooses, he will bring near to himself. N’alyoka agamba Koola ne bonna abaali naye nti, “Enkya Mukama Katonda anaalondamu ababe, n’oyo omutukuvu, era anaasembeza omuntu oyo gy’ali. Oyo gw’anaalonda gw’anaasembeza gy’ali.
6 Do this: take censers, Korah and all your company. Gwe Koola n’abagoberezi bo bonna mukole bwe muti: Muddire ebyoterezo,
7 Tomorrow put fire in them, lay incense on them before our Father. The man our Father chooses will be the holy one. You've gone too far, sons of Levi!" enkya mubiteekemu omuliro n’obubaane awali Mukama, oyo Mukama Katonda gw’anaalondamu, nga ye mutukuvu. Mmwe batabani ba Leevi mwekulumbazizza nnyo!”
8 Moses also said to Korah, "Listen now, you sons of Levi: Musa n’agamba Koola nti, “Muwulirize, mmwe batabani ba Leevi!
9 Is it not enough for you that the Father of Israel set you apart from the rest of Israel's congregation, to bring you near himself, to do the work of our Father's tabernacle, and stand before the congregation to serve them? Mukiraba nga kitono nnyo tekibamala, Katonda wa Isirayiri okubaawulako n’abaggya ku kibiina ekinene eky’abaana ba Isirayiri n’abasembeza w’abeera okukolanga omulimu gwa Mukama mu Weema ya Mukama, n’okuyimiriranga mu maaso g’ekibiina n’okubaweereza?
10 He brought you near—you and all your brothers, sons of Levi—yet now you seek the priesthood too? Mmwe ne Baleevi bannammwe Mukama Katonda yabasembeza gy’ali, kaakano mwagala n’obwakabona nabwo mubulye?
11 You and your whole group have gathered against our Father. Aaron—what is he, that you grumble against him?" Noolwekyo mmwe n’abagoberezi bammwe, mwesimbye ku Mukama Katonda, era gwe mwolekedde. Kale Alooni naye ye ani, mmwe okumwemulugunyiza?”
12 Moses sent for Dathan and Abiram, sons of Eliab. They said, "We will not come up! Awo Musa n’atumya Dasani ne Abiraamu batabani ba Eriyaabu bayitibwe bajje. Naye ne bagamba nti, “Tetujja kujja!
13 Is it not enough you brought us up from a land flowing with milk and honey to kill us in the wilderness, that you must also rule over us? Eky’okutuggya mu nsi ekulukuta amata n’omubisi gw’enjuki okututtira mu ddungu, kyali kitono nga tekimala? Ne kaakano oyagala okutwefuulirako omulangira otufuge?
14 Also, you haven't brought us to a land flowing with milk and honey, or given us fields and vineyards as an inheritance. Will you gouge out these men's eyes? We won't come up!" Ng’ebyo bikyali awo, totuleese mu nsi ekulukuta amata n’omubisi gw’enjuki, wadde okutusikiza amasamba n’ennimiro z’emizabbibu. Abasajja bano oyagala obasibe kantuntunu ku maaso obalimberimbe? Nedda, tetujja kujja.”
15 Moses was furious and said to our Father, "Disregard their offering. I haven't taken a single donkey from them, nor wronged any of them." Awo Musa n’asunguwala nnyo n’agamba Mukama Katonda nti, “Ekiweebwayo kyabwe tokikkiriza. Tewaliiwo gwe nnali ntutteko wadde akalogoyi akamu, so tewali n’omu ku bo gwe nnali mpisizza obubi.”
16 Moses told Korah, "You and your whole company, present yourselves before our Father tomorrow—you, they, and Aaron. Musa n’agamba Koola nti, “Ggwe n’abo bonna abakugoberera, enkya mujje awali Mukama Katonda, ggwe nabo ne Alooni.
17 Each man is to take his censer, put incense on it, and bring it before our Father—250 censers—you and Aaron, each with his own censer." Buli musajja ajje n’ekyoterezo kye akiteekemu obubaane, ebyoterezo bijja kuwera ebikumi bibiri mu ataano, mubireete awali Mukama. Ggwe ne Alooni nammwe mujja kuleeta ebyoterezo byammwe.”
18 Each took his censer, put fire in it and laid incense on it, and stood with Moses and Aaron at the tent of meeting's entrance. Awo buli musajja n’addira ekyoterezo kye n’akissaamu obubaane n’omuliro, bonna ne bayimirira ne Musa ne Alooni ku mulyango gwa Weema ey’Okukuŋŋaanirangamu.
19 Korah gathered the whole congregation against them at the tent of meeting's entrance; the glory of our Father appeared to the whole congregation. Koola bwe yamala okukuŋŋaanya abagoberezi be abavuganya, ku mulyango gwa Weema ey’Okukuŋŋaanirangamu, ekitiibwa kya Mukama Katonda ne kyeraga eri ekibiina kyonna ekyali kikuŋŋaanye.
20 And our Father spoke to Moses and Aaron, saying, Mukama Katonda n’agamba Musa ne Alooni nti,
21 "Separate yourselves from this congregation, so that I may consume them in an instant." “Mweyawuleko muve mu kibiina kino ndyoke nkizikirize embagirawo.”
22 Moses and Aaron fell facedown and cried, "O our Father, the Father of the spirits of all flesh—when one man sins, will you be angry with the whole congregation?" Naye Musa ne Alooni ne bavuunama amaaso gaabwe wansi ne bagamba nti, “Ayi Katonda, Katonda ow’emyoyo egy’abantu bonna, omuntu omu bw’ayonoona, osunguwalira ekibiina kyonna?”
23 Then our Father said to Moses, Mukama Katonda n’agamba Musa nti,
24 "Say to the congregation: Move away from the dwellings of Korah, Dathan, and Abiram." “Muve okumpi n’eweema eza Koola ne Dasani ne Abiraamu.”
25 So Moses got up and went to Dathan and Abiram, and the elders of Israel followed him. Awo Musa n’asituka n’agenda eri Dasani ne Abiraamu, n’abakulembeze ba Isirayiri ne bagenda naye nga bamugoberera.
26 He told the congregation, "Leave the tents of these wicked men. Touch nothing of theirs, or you'll be swept away in all their sins." N’agamba ekibiina kyonna nti, “Musembereeyo muve okumpi n’eweema z’abasajja bano abakozi b’ebibi! Temukwata ku kintu kyabwe n’ekimu, sikulwa nga mwenna muzikirizibwa olw’ebibi byabwe.”
27 So they withdrew from the tents of Korah, Dathan, and Abiram on every side, while Dathan and Abiram came out and stood at their tent entrances with their wives, sons, and little ones. Bwe batyo ne basemberayo ne bava okumpi n’eweema za Koola, ne Dasani, ne Abiraamu. Dasani ne Abiraamu baali nga bafulumye mu weema zaabwe nga bayimiridde mu miryango gyazo, nga bali ne bakazi baabwe, ne batabani baabwe, n’obwana bwabwe obuto.
28 Moses said, "This is how you'll know our Father sent me to do all these things, and that none of it was my own idea: Awo Musa n’agamba nti, “Ku kino kwe munaategeerera nga Mukama Katonda y’antumye okukola ebintu bino byonna so tekubadde kutetenkanya kwange.
29 If these men die a normal death, sharing the fate of everyone, then our Father has not sent me. Singa abasajja bano bafa olumbe olwa bulijjo, oba kugwibwako ebyo ebya bulijjo ebigwa ku bantu bonna, kinaaba kitegeeza nti Mukama si y’antumye.
30 But if our Father creates something new, and the ground opens its mouth and swallows them with all that is theirs, and they go down alive into the grave, then you will know these men have despised our Father." Naye singa Mukama Katonda aleetawo ekintu ekiggya ddala ekitali kya bulijjo, ensi n’eyasamya akamwa kaayo n’ebamira nga balamu n’ebintu byabwe byonna, ne bagwa wansi mu gunnya oguwanvu, kale nno munaategeera ng’abasajja abo banyoomodde Mukama Katonda.”
31 As soon as he finished saying all this, the ground beneath them split open, Awo bwe yali nga yakamala okwogera ebigambo ebyo, ettaka bali kwe baali bayimiridde ne lyabikamu wabiri,
32 the earth opened its mouth, swallowing them, their households, all Korah's people, and all their possessions. ensi n’eyasamya akamwa kaayo n’ebamira n’ebintu byabwe byonna eby’omu maka gaabwe, ne basajja ba Koola bonna n’ebintu byabwe byonna.
33 They and all who were theirs went down alive into the grave; the earth closed over them, and they were destroyed from the assembly. Baagwayo wansi mu gunnya nga balamu, n’ebintu byabwe byonna bye baalina; ensi n’ebabuutikira, ne basaanirawo ddala okuva mu bannaabwe.
34 All Israel around them fled at their cry, for they said, "The earth may swallow us too!" Abayisirayiri bonna abaaliwo bwe baabawulira nga bakaaba ne badduka nga bwe bagamba nti, “Si kulwa nga naffe ensi etumira!”
35 Fire came out from our Father and consumed the 250 men offering the incense. Olwo omuliro ne gujja nga guva eri Mukama ne gwokera ddala abasajja ebikumi ebibiri mu ataano abaali bawaayo ekiweebwayo eky’obubaane.
36 Not in this edition Awo Mukama Katonda n’agamba Musa nti,
37 Not in this edition “Gamba Eriyazaali mutabani wa Alooni kabona aggye ebyoterezo mu muliro, kubanga bitukuvu, amanda ag’omuliro agasaasaanyize wala.
38 Not in this edition Ebyoterezo ebyo bya basajja abaayonoona era n’okufa ne bafa; noolwekyo biweesebwemu amasowaane gakozesebwenga ng’ebibikka ku kyoto kubanga baabiwaayo eri Mukama Katonda; noolwekyo bitukuvu. Kale binaabanga kabonero ka kijjukizo eri abaana ba Isirayiri.”
39 Not in this edition Bw’atyo Eriyazaali kabona n’addira ebyoterezo eby’ekikomo, ebyali biweereddwayo bali abaayokebwa, ne biweesebwamu ebibikka ku kyoto,
40 Not in this edition kiyambe abaana ba Isirayiri okujjukiranga nti omuntu atali kabona, atava mu lulyo lwa Alooni, taasemberenga kumpi na kyoto okunyookeza obubaane eri Mukama, si kulwa ng’afuuka nga Koola n’ekibiina kye. Eriyazaali bw’atyo bwe yabikola byonna ng’ekiragiro kya Mukama Katonda bwe kyali kye yayisa mu Musa.
41 Not in this edition Naye enkeera ekibiina kyonna eby’abaana ba Isirayiri ne beemulugunyiza Musa ne Alooni, nga bagamba nti, “Musse abantu ba Mukama Katonda.”
42 Not in this edition Kyokka ekibiina ky’abantu bwe baakuŋŋaana okusoomooza Musa ne Alooni ne bakyuka okwolekera Eweema ey’Okukuŋŋaanirangamu, amangwago ekire ne kigibikka n’ekitiibwa kya Mukama Katonda ne kyeyoleka.
43 Not in this edition Musa ne Alooni ne balaga ku mulyango gwa Weema ey’Okukuŋŋaanirangamu,
44 Not in this edition Mukama n’agamba Musa nti,
45 Not in this edition “Muve mu bantu bano ndyoke mbazikirize embagirawo.” Ne bavuunama wansi.
46 Not in this edition Awo Musa n’agamba Alooni nti, “Ddira ekyoterezo kyo okisseemu obubaane, n’omuliro ng’oguggya mu kyoto kya Mukama, oyanguwe ogende mu kibiina obatangiririre. Kubanga obusungu bubuubuuse okuva eri Mukama Katonda era kawumpuli atandise.”
47 Not in this edition Alooni n’akola nga Musa bwe yamulagira, n’adduka n’agenda wakati mu kibiina. Yasanga kawumpuli yatandise dda mu bantu, naye Alooni n’awaayo eri Mukama Katonda obubaane okubatangiririra;
48 Not in this edition n’ayimirira wakati w’abafu n’abalamu, kawumpuli n’aziyizibwa.
49 Not in this edition Bwe kityo abantu abaafa kawumpuli baawera omutwalo gumu mu enkumi nnya mu lusanvu, nga bali abaafa olw’emitawaana gya Koola tobataddeeko.
50 Not in this edition Alooni n’akomawo eri Musa mu mulyango gwa Weema ey’Okukuŋŋaanirangamu, nga kawumpuli amaze okuziyizibwa.
FHB

Scripture from Father’s Heart Bible™. © 2026 Spirit Media Publishing, the imprint of Spirit Media Inc. All rights reserved. In Divine Voice™ Color, the words spoken by our Father show in blue, the words of the Son in red, and the words of the Spirit in purple.

OLCB

Biblica® Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya ekwatiddwa ku katambi™ Obwannannyini© 1984, 1986, 1993, 2014 bwa Biblica, Inc. Biblica® Open Luganda Contemporary Bible™ Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc. “Biblica” Linnya ery’obwannannyini eryawandiisibwa Biblica mu Amerika era nga balina n’ekkakkalabozo, Inc. Bwaweebwa olukusa okulikozesa. “Biblica” is a trademark registered in the United States Patent and Trademark Office by Biblica, Inc. Used with permission.
Biblica® Open Luganda Contemporary Bible 2014 · Creative Commons - Attribution-ShareAlike [CC BY-SA]