Skip to content
The Believer's Library

Biblica® Open Luganda Contemporary Bible 2014

Nahum 2 OLCB

Side by side with the Father's Heart Bible™

Okugwa kwa Nineeve

1Nineeve, olumbiddwa omulabe;kuuma ekigo,Kuuma ekkubo,weesibire ddala onywere mu kiwato,kuŋŋaanya amaanyi go gonna.

2Kubanga Mukama alizzaawo ekitiibwa kya Yakobo,kibe ng’ekitiibwa kya Isirayiri,newaakubadde ng’abazikiriza baabasaanyawo,ne boonoona emizabbibu gyabwe.

3Engabo z’eggye erikutabadde zonna myufun’engoye ze bambadde nazo bwe zityo.Amagaali g’ebyuuma gamasamasaku lunaku lwe gategekebwa,era n’amafumu gagalulwa mu ngeri ey’entiisa!

4Amagaali g’abalwanyi gatayira mu nguudo,gadda eno n’eri,galabika ng’emimuli egyaka,gamyansa ng’eggulu.

5Omuduumizi bw’ayita abalwanyi bebajja bagwirana.Badduka mbiro ku bbugwe w’ekibugawe beetegekera okwerwanako.

6Enzigi ez’omugga zigguddwawo,amazzi ne gasaanyaawo olubiri.

7Etteeka lyayisibwa ku kibuganti kiriwaŋŋangusibwa,abaddu abakazi bakungubaga ng’amayiba,nga bwe beekuba mu bifuba.

8Ab’omu Nineeve bafaanana ng’ekidibaeky’amazzi agakalira.Wadde nga babakoowoola nti, “Muyimirire, muyimirire!”bo beeyongerayo bweyongezi.

9Ffeeza yaakyo temugirekaawo,ne zaabu nayo mugitwalire ddala,omunyago teguggwaayo,eby’obugagga byakyo ebitabalika ebirungi ddala.

10Ekibuga kisigadde kyangaala!Abantu bonna emitima gibeewanise, emibiri gibakankana,amaviivi gabakubagana, basiiwuuse ne mu maaso.

11Eri ludda wa empuku y’empologoma,ekifo we ziriisiza empologoma zaazo ento,empologoma ensajja, n’enkazi,n’ento we zaatambuliranga nga tewali kizikanga?

12Empologoma ensajja yayigganga ennyama y’abaana ebamala,n’enkazi n’ezittira eyaazo,n’ejjuza empuku n’omuyiggo,ne mu bisulo ne mujjula ennyama.

13“Laba nze Mukama ow’Eggyenkwolekedde,era ndyokya amagaali go gonna ne ganyooka,n’ekitala kirizikiriza empologoma zo ento.Era tolifuna munyago mulala nate ku nsi,n’eddoboozi ly’ababaka boteririddayo kuwulirwa.”

Biblica® Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya ekwatiddwa ku katambi™ Obwannannyini© 1984, 1986, 1993, 2014 bwa Biblica, Inc. Biblica® Open Luganda Contemporary Bible™ Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc. “Biblica” Linnya ery’obwannannyini eryawandiisibwa Biblica mu Amerika era nga balina n’ekkakkalabozo, Inc. Bwaweebwa olukusa okulikozesa. “Biblica” is a trademark registered in the United States Patent and Trademark Office by Biblica, Inc. Used with permission.
Biblica® Open Luganda Contemporary Bible 2014 · Creative Commons - Attribution-ShareAlike [CC BY-SA]