Skip to content
The Believer's Library

Biblica® Open Luganda Contemporary Bible 2014

Malachi 4 OLCB

Show OLCB only
Verse × ×
1 Look—a day is coming, burning like a furnace, when all the arrogant and every wrongdoer will be stubble; that day will set them ablaze, says the Father of heaven's armies, leaving them neither root nor branch. “Kubanga, laba, olunaku lujja, lwokya ng’ekikoomi, n’ab’amalala bonna n’abo bonna abakola ebibi baliba bisasiro: ku lunaku lwennyini balyokerwa ddala,” bw’ayogera Mukama ow’Eggye, “obutabalekerawo mulandira newaakubadde ettabi.
2 But for you who fear my name, the sun of righteousness will rise with healing in its wings, and you'll go out leaping like calves from the stall. Naye mmwe abatya erinnya lyange, enjuba ey’obutuukirivu eribaviirayo ng’erina okuwonya mu biwaawaatiro byayo. Mulifuluma ne muligita ng’ennyana ez’omu kiraalo.
3 You will trample the wicked, for they will be ashes under the soles of your feet on the day I act, says the Father of heaven's armies. Era mulirinnya ku babi, kubanga baliba vvu wansi w’ebigere byammwe, ku lunaku lwe ndibalokolerako,” bw’ayogera Mukama ow’Eggye.
4 "Remember the instruction of my servant Moses, the statutes and judgments I commanded him at Horeb for all Israel. “Mujjukire okugonderanga amateeka ga Musa omuddu wange, ebiragiro n’amateeka bye namukwasa ku Kolebu olwa Isirayiri yenna.
5 See, I will send you Elijah the prophet before the great and awesome day of our Father comes. “Laba, ndibatumira nnabbi Eriya, olunaku lwa Mukama olukulu olw’entiisa nga terunnatuuka,
6 He will turn the hearts of fathers to their children and the hearts of children to their fathers, so I will not come and strike the land with utter destruction." era alikomyawo omutima gwa bazadde eri abaana baabwe, n’omutima gw’abaana eri bazadde baabwe; nneme okukolimira ensi.”
FHB

Scripture from Father’s Heart Bible™. © 2026 Spirit Media Publishing, the imprint of Spirit Media Inc. All rights reserved. In Divine Voice™ Color, the words spoken by our Father show in blue, the words of the Son in red, and the words of the Spirit in purple.

OLCB

Biblica® Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya ekwatiddwa ku katambi™ Obwannannyini© 1984, 1986, 1993, 2014 bwa Biblica, Inc. Biblica® Open Luganda Contemporary Bible™ Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc. “Biblica” Linnya ery’obwannannyini eryawandiisibwa Biblica mu Amerika era nga balina n’ekkakkalabozo, Inc. Bwaweebwa olukusa okulikozesa. “Biblica” is a trademark registered in the United States Patent and Trademark Office by Biblica, Inc. Used with permission.
Biblica® Open Luganda Contemporary Bible 2014 · Creative Commons - Attribution-ShareAlike [CC BY-SA]