Skip to content
The Believer's Library

Biblica® Open Luganda Contemporary Bible 2014

Malachi 4 OLCB

Side by side with the Father's Heart Bible™

Olunaku lwa Mukama

1“Kubanga, laba, olunaku lujja, lwokya ng’ekikoomi, n’ab’amalala bonna n’abo bonna abakola ebibi baliba bisasiro: ku lunaku lwennyini balyokerwa ddala,” bw’ayogera Mukama ow’Eggye, “obutabalekerawo mulandira newaakubadde ettabi. 2Naye mmwe abatya erinnya lyange, enjuba ey’obutuukirivu eribaviirayo ng’erina okuwonya mu biwaawaatiro byayo. Mulifuluma ne muligita ng’ennyana ez’omu kiraalo. 3Era mulirinnya ku babi, kubanga baliba vvu wansi w’ebigere byammwe, ku lunaku lwe ndibalokolerako,” bw’ayogera Mukama ow’Eggye.

4“Mujjukire okugonderanga amateeka ga Musa omuddu wange, ebiragiro n’amateeka bye namukwasa ku Kolebu olwa Isirayiri yenna.

5“Laba, ndibatumira nnabbi Eriya, olunaku lwa Mukama olukulu olw’entiisa nga terunnatuuka, 6era alikomyawo omutima gwa bazadde eri abaana baabwe, n’omutima gw’abaana eri bazadde baabwe; nneme okukolimira ensi.”

Biblica® Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya ekwatiddwa ku katambi™ Obwannannyini© 1984, 1986, 1993, 2014 bwa Biblica, Inc. Biblica® Open Luganda Contemporary Bible™ Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc. “Biblica” Linnya ery’obwannannyini eryawandiisibwa Biblica mu Amerika era nga balina n’ekkakkalabozo, Inc. Bwaweebwa olukusa okulikozesa. “Biblica” is a trademark registered in the United States Patent and Trademark Office by Biblica, Inc. Used with permission.
Biblica® Open Luganda Contemporary Bible 2014 · Creative Commons - Attribution-ShareAlike [CC BY-SA]