Skip to content
The Believer's Library

Biblica® Open Luganda Contemporary Bible 2014

Malachi 3 OLCB

Show OLCB only
Verse × ×
1 Look, I am sending my messenger, and he will prepare the way before me. Then suddenly the Lord whom you are seeking will come to his temple—the messenger of the covenant in whom you delight. Look, he is coming, says the Father of heaven's armies. “Laba, ntuma omubaka wange, alinkulembera era alirongoosa ekkubo nga sinnajja: era Mukama gwe munoonya alijja mu yeekaalu ye nga tebamanyiridde; omubaka w’endagaano gwe musanyukira, laba ajja,” bw’ayogera Mukama ow’Eggye.
2 "But who can endure the day he comes? Who can stand when he appears? He is like a refiner's fire, like a launderer's soap. “Naye ani ayinza okugumiikiriza olunaku olw’okujja kwe, era ani aliyimirira ye bw’alirabika? Kubanga ali ng’omuliro gw’oyo alongoosa effeeza era nga sabbuuni ow’abayoza.
3 He will sit refining and purifying silver; he will purify Levi's sons and refine them like gold and silver, and they will bring offerings to our Father in righteousness. Era alituula n’atunula ng’oyo alongoosa ffeeza n’agimalamu amasengere, era alirongoosa batabani ba Leevi, bakabona ba Katonda, era alibasengejja ng’ezaabu n’effeeza bwe bisengejjebwa; balyoke baweeyo ssaddaaka mu butuukirivu.
4 Then Judah and Jerusalem's offering will please our Father, as in days past, as in former years." Awo ekiweebwayo ekya Yuda ne Yerusaalemi kiryoke kisanyuse Mukama, nga mu nnaku ez’edda era nga mu myaka egyayita.
5 I will come near to judge you, a swift witness against sorcerers, adulterers, those who swear falsely, who cheat the worker of his wages, oppress the widow and orphan, push aside the foreigner, and do not fear me, says the Father of heaven's armies. “Era mu kiseera ekyo awatali kulonzalonza ndibasemberera nsale omusango. Ndiyanguwa okuwa obujulizi ku baloga ne ku benzi ne ku abo abalayira eby’obulimba, ne ku abo abalyazaamaanya omupakasi empeera ye; abanyigiriza nnamwandu ne mulekwa, era abajoogereza munnaggwanga, abatatya Mukama,” bw’ayogera Mukama ow’Eggye.
6 For I, your Father, do not change; therefore you, children of Jacob, have not been destroyed. “Kubanga nze Mukama sijjulukuka: mmwe, batabani ba Yakobo, noolwekyo siribazikiriza.
7 Since your ancestors' days you have turned from my statutes and not kept them. Return to me, and I will return to you, says the Father of heaven's armies. But you ask, 'How are we to return?' Okuva mu nnaku za bajjajjammwe mwakyuka ne mukyama okuva ku biragiro byange ne mutabikwata. Mudde gye ndi, nange nadda gye muli era nnaabasonyiwa,” bw’ayogera Mukama ow’Eggye. “Naye mwebuuza nti, ‘Tunadda tutya?’
8 Will a person rob their Father? Yet you rob me. But you ask, 'How have we robbed you?' In the tenth and the offerings. “Omuntu alinyaga Katonda? “Naye mmwe munnyaga. Kyokka mugamba nti, ‘Tukunyaga tutya?’ “Mu biweebwayo ne mu kimu eky’ekkumi.
9 You are cursed with a curse, for you are robbing me—the whole nation of you. Mukolimiddwa ekikolimo ekyo, kubanga mmwe, eggwanga lyonna munnyaga nze.
10 Bring the full tenth into the storehouse, so there's food in my house. Test me in this, says the Father of heaven's armies, and see if I won't open heaven's windows for you and pour out blessing for you until there's no more need. Muleete ekimu eky’ekkumi ekijjuvu mu nnyumba yange, ennyumba yange ebeeremu emmere, era mungezese,” bw’ayogera Mukama ow’Eggye, “obanga siribaggulirawo ebituli eby’omu ggulu, ne mbawa omukisa ne gutabaako ne we guligya.
11 I will rebuke the devourer for you, so it will not destroy your ground's fruit, and your vine in the field will not fail to bear, says the Father of heaven's armies. Kale ndikuuma ennimiro zammwe ne zitazikirizibwa balabe; so n’omuzabbibu gwammwe ne gutakunkumula bibala byagwo ebitannatuuka kwengera,” bw’ayogera Mukama ow’Eggye.
12 Then all nations will call you blessed, for you will be a land of delight, says the Father of heaven's armies. “Era amawanga gonna galibayita ba mukisa: kubanga muliba nsi esanyusa, kino ky’ekisuubizo,” bw’ayogera Mukama ow’Eggye.
13 Your words were harsh against me, says our Father. But you ask, 'What have we said against you?' “Weewaawo ebigambo byammwe gye ndi bibadde bya bukambwe,” bw’ayogera Mukama. “Ate nga mugamba nti, ‘Twakwogerako tutya obubi?’
14 You said, 'Serving God is useless. What have we gained by keeping his charge and walking as mourners before the Father of heaven's armies?' “Mwayogera nti, ‘Eby’okuweereza Katonda tebigasa, era kigasa ki okukwata ebiragiro bye era n’okutambulira mu maaso ga Mukama ow’Eggye ng’abakungubaga?
15 Now we call the arrogant blessed. Those who do evil prosper; they even test God and escape. Okuva kaakano abeegulumiza tubayita ba mukisa; abakozi b’ebibi bakulaakulana era n’abo abasoomoza Katonda nabo bawona.’ ”
16 Then those who feared our Father spoke to one another, and he listened and heard. A scroll of remembrance was written before him for those who fear him and treasure his name. Abo abatya Mukama bayogeragana bokka ne bokka, Mukama n’abawulira. Ekitabo eky’okujjukira abatya Mukama ne balowooza ku linnya lye, ne kiwandiikibwa ng’alaba.
17 They will be mine, says the Father of heaven's armies, on the day I act, my treasured possession. I will spare them as a father spares his son who serves him. “Kale baliba bange,” bw’ayogera Mukama ow’Eggye, “ku lunaku lwe ndibakyusizaako okuba ekintu kyange eky’omuwendo; era ndibasonyiwa ng’omuzadde bw’asonyiwa mutabani we amuweereza.
18 Once more you will see the difference between the righteous and the wicked, between one who serves our Father and one who does not serve him. Omulundi omulala mulyawula omutuukirivu n’omubi, oyo aweereza Katonda n’oyo atamuweereza.”
FHB

Scripture from Father’s Heart Bible™. © 2026 Spirit Media Publishing, the imprint of Spirit Media Inc. All rights reserved. In Divine Voice™ Color, the words spoken by our Father show in blue, the words of the Son in red, and the words of the Spirit in purple.

OLCB

Biblica® Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya ekwatiddwa ku katambi™ Obwannannyini© 1984, 1986, 1993, 2014 bwa Biblica, Inc. Biblica® Open Luganda Contemporary Bible™ Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc. “Biblica” Linnya ery’obwannannyini eryawandiisibwa Biblica mu Amerika era nga balina n’ekkakkalabozo, Inc. Bwaweebwa olukusa okulikozesa. “Biblica” is a trademark registered in the United States Patent and Trademark Office by Biblica, Inc. Used with permission.
Biblica® Open Luganda Contemporary Bible 2014 · Creative Commons - Attribution-ShareAlike [CC BY-SA]