Skip to content
The Believer's Library

Biblica® Open Luganda Contemporary Bible 2014

Malachi 2 OLCB

Show OLCB only
Verse × ×
1 Now, priests, this command is for you. “Kale nno, mmwe bakabona, ekiragiro kino kyammwe.
2 If you won't listen, or take it to heart to honor my name, says the Father of heaven's armies, I will send the curse on you and curse your blessings. I have already cursed them, because you don't take it to heart. Bwe mutaakyuse ku mpisa zammwe n’engeri zammwe, bwe mutaafeeyo kuwa linnya lyange kitiibwa,” bw’ayogera Mukama ow’Eggye, “kale ndibasindikira ekikolimo era emikisa gyammwe girifuuka ekikolimo. Ate ddala mmaze okubakolimira kubanga ebikulu gye ndi temubitaddeeko mwoyo.
3 I will rebuke your offspring and smear manure on your faces—the manure of your feasts—and you will be carried off with it. “Kale laba, ndibonereza ezzadde lyammwe, mbasiige n’obusa mu maaso, obusa bwa ssaddaaka zammwe, era mbagobewo mu maaso gange.
4 Then you will know I sent this command to you, so my covenant with Levi stands, says the Father of heaven's armies. Olwo lwe mulimanya nga mbawadde ekiragiro kino, endagaano yange ne Leevi eryoke etuukirire,” bw’ayogera Mukama ow’Eggye.
5 "My covenant with him was life and peace; I gave them to him to be held with reverence, and he revered me and trembled before my name. “Endagaano eri mu mateeka ago yali egenderedde kuleeta bulamu na mirembe era n’embimuwa asobole okuntya, era n’antya n’ayimirira ng’atya erinnya lyange.
6 True instruction was in his mouth, no wrong on his lips. He walked with me in peace and integrity, and turned many from sin. Amateeka ag’amazima gali mu kamwa ke era nga tewali bulimba busangibwa mu kamwa ke. Yatambula nange mu mirembe ne mu butuukirivu era n’aggya bangi mu kibi.
7 A priest's lips guard knowledge, and people seek instruction from his mouth, for he is the messenger of the Father of heaven's armies. “Kubanga emimwa gy’abasumba gisaana okukuuma eby’amagezi ebya Katonda era abantu basaana okunoonya okutegeera okuva mu bo, kubanga be babaka ba Mukama ow’Eggye.
8 But you turned from the way and made many stumble by your instruction; you corrupted the covenant of Levi, says the Father of heaven's armies. Naye mwakyama ne muva mu kkubo; mwesittaza bangi olw’ebyo bye muyigiriza; mwayonoona endagaano ya Leevi,” bw’ayogera Mukama ow’Eggye.
9 So I made you despised and low before all the people, because you haven't kept my ways but shown favoritism in your instruction." “Noolwekyo nabafuula ekinyoomebwa era ekisekererwa mu maaso g’abantu bonna olw’obutagoberera makubo gange era musala emisango nga musaliriza.”
10 Don't we all have one Father? Didn't one Father create us? Why betray each other, desecrating our fathers' covenant? Kale ffenna tetulina kitaffe omu? Si Katonda omu eyatutonda? Lwaki kale tetuli beesigwa eri bantu bannaffe, ne twonoona endagaano ya bakitaffe?
11 Judah is unfaithful; a detestable thing is done in Israel and Jerusalem. Judah has desecrated our Father's holy place, which he loves, and married the daughter of a foreign god. Yuda takuumye bwesigwa n’eby’omuzizo ne bikolebwa mu Isirayiri ne mu Yerusaalemi. Kubanga Yuda yayonoona ekifo kya Mukama ekitukuvu, ky’ayagala ennyo, bwe yawasa omuwala wa lubaale.
12 May our Father cut off from Jacob's tents the man who does this—anyone at all—even one bringing an offering to the Father of heaven's armies. Buli muntu yenna akola kino, oba kabona oba muntu wa bulijjo, Mukama alimuggya mu kika kya Yakobo, newaakubadde ng’aleeta ebiweebwayo eri Mukama ow’Eggye!
13 And a second thing you do: you cover our Father's altar with tears, weeping and groaning, because he no longer regards the offering or accepts it gladly from your hand. Ekirala kye mukola kye kino: Ekyoto kya Mukama mukijjuzza amaziga, nga mukaaba nga mukuba ebiwoobe kubanga ebiweebwayo byammwe takyabifaako.
14 You ask, "Why?" Because our Father witnessed between you and the wife of your youth, whom you betrayed—though your companion, your wife by covenant. Kale mubuuza nti, “Lwaki tabifaako?” Kubanga Mukama yali mujulirwa wakati wo ne mukazi wo ow’omu buvubuka bwo, naye ggwe tewali mwesigwa, ng’olimbalimba newaakubadde nga yali munno era mukazi wo gwe walagaana naye endagaano.
15 Didn't the Father make you one with your wife? Body and spirit, you are his. And what does he want? Godly children from your union. So guard your spirit; let no one betray the wife of his youth. Katonda teyabafuula omu mu mwoyo? Era lwaki yabafuula omu? Kubanga yali anoonya ezzadde eriritya Katonda. Kale mwekuume nnyo waleme kubaawo agoba mukazi we, era alimbalimba mukazi we ow’omu buvubuka bwe.
16 "For I hate divorce," says our Father, the Father of Israel, "and whoever covers his garment with violence," says the Father of heaven's armies. So guard your spirit; do not be unfaithful. “Kubanga nkyawa abafumbo okwawukana,” bw’ayogera Mukama Katonda wa Isirayiri, “n’omusajja ajooga mukazi we,” bw’ayogera Mukama ow’Eggye. Kale mwekuumenga mu mwoyo gwammwe mubeerenga beesigwa.
17 You have worn out our Father with your words. Yet you ask, "How have we worn him out?" By saying, "All who do evil are good in his sight, and he delights in them"—or, "Where is the Father of justice?" Mukama mumukooyezza n’ebigambo byammwe. Naye mubuuza nti, “Tumukooyezza tutya?” Kubanga mwogera nti buli akola ekibi, mulungi mu maaso ga Mukama, era abasanyukira; oba nti, “Ali ludda wa Katonda ow’obwenkanya?”
FHB

Scripture from Father’s Heart Bible™. © 2026 Spirit Media Publishing, the imprint of Spirit Media Inc. All rights reserved. In Divine Voice™ Color, the words spoken by our Father show in blue, the words of the Son in red, and the words of the Spirit in purple.

OLCB

Biblica® Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya ekwatiddwa ku katambi™ Obwannannyini© 1984, 1986, 1993, 2014 bwa Biblica, Inc. Biblica® Open Luganda Contemporary Bible™ Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc. “Biblica” Linnya ery’obwannannyini eryawandiisibwa Biblica mu Amerika era nga balina n’ekkakkalabozo, Inc. Bwaweebwa olukusa okulikozesa. “Biblica” is a trademark registered in the United States Patent and Trademark Office by Biblica, Inc. Used with permission.
Biblica® Open Luganda Contemporary Bible 2014 · Creative Commons - Attribution-ShareAlike [CC BY-SA]